رفتن به محتوا

ENGERO 15

15
1Okuddamu n'eggonjebwa
kukkakkanya ekiruyi;
naye ebigambo eby'ekkabyo,
bisaanuula obusungu.
2Ab'amagezi boogera ebisaanidde;
naye abasiru bamokkola
buli kye basanga.
3Mukama alaba buli wantu,
ng'alabirira abalungi n'ababi.
4Okwogera eby'ekisa,
kiwa obulamu;
naye ebigambo eby'obukambwe,
bikosa omutima.
5Omusiru anyooma ebyo
kitaawe by'amubuulirira;
naye omutegeevu,
akkiriza okunenyezebwa.
6Amaka g'abantu abalungi,
gabaamu ebyobugagga bingi;
naye amagoba g'omubi,
tagafunamu mirembe.
7Ab'amagezi bye boogera,
bibunyisa okumanya;
naye ebirowoozo by'abasiru,
si bwe bikola.
8Mukama yeenyinyala
ebitambiro by'aboonoonyi;
wabula asanyukira
okwegayirira kw'abantu abalungi.
9Mukama akyawa enneeyisa
y'abantu ababi;
naye ayagala abafuba
okukola ebituufu.
10Ava mu kkubo ettuufu,
wa kukangavvulwa nnyo.
Akyawa okunenyezebwa, afa.
11Oba ng'ebiri emagombe
awali okuzikirira,
Mukama nabyo abimanya,
kale kiki ekimwekweka
mu mitima gy'abantu?
12Omunyoomi tayagala kunenyezebwa,
era tayagala kwebuuza
ku bamusingako okuba abagezi.
13Asanyuka mu mutima,
ne ku maaso amwenya;
naye ali mu buyinike,
atunuza bwennyamivu.
14Ab'amagezi baagala okuyiga;
naye abo abasiru,
basanyukira mu butamanya.
15Ennaku zonna ez'ababonyaabonyezebwa,
ziba mbi;
naye omusanyufu,
aba ng'ali ku mbaga ey'olubeerera.
16Okuba omwavu
naye ng'otya Mukama,
kisinga okuba omugagga
naye nga tolina mirembe.
17Waakiri okulya amaluma,
ne mulya nga mwagalana;
okusinga okulya ebisava,
awali okukyawagana.
18Omuntu w'akasunguyira,
asaanuula ennyombo;
naye omukwatampola,
akkakkanya empaka.
19Ekkubo ly'omugayaavu,
lukomera lwa maggwa;
naye oluwenda lw'abagolokofu,
lwe luguudo oluyooyoote.
20Omwana omugezi,
ssanyu lya kitaawe;
naye omuntu omusiru,
ye anyooma nnyina.
21Atalina magezi,
asanyukira obubuyabuya;
naye omuntu omutegeevu,
ayagala okukola ekituufu.
22Awatali muwi wa magezi,
bye muteesa tebirama;
naye bitereera,
awali abawabuzi abangi.
23Okuddamu ekituufu
mu kaseera akatuufu,
kisanyusa omuntu.
24Abantu ab'amagezi
bakwata ekkubo
eryambuka awali obulamu,
ne beewala eriserengeta mu kufa.
25Mukama azikiriza
amaka g'abeekulumbaza;
naye akuuma n'anyweza
ebintu bya bannamwandu.
26Mukama yeenyinyala
buli kirowoozo ekibi;
naye ebigambo ebirungi,
ebyo abisanyukira.
27Alulunkanira amagoba
g'afuna mu bukumpanya,
amaka ge agaleetera mitawaana;
naye atalya nguzi,
ye aliba omuwangaazi.
28Abantu abalungi
bamala kulowooza
nga tebannaba kwanukula;
naye abo ababi
boogera ebitasaana.
29Abantu abalungi bwe basaba,
Mukama abawuliriza;
naye ababi, abeesamba.
30Atunuza essanyu, asanyusa;
n'amawulire amalungi,
tegalema kweyagaza.
31Omuntu akkiriza
okubuulirirwa ebimuzimba,
abalirwa mu b'amagezi.
32Agaana okubuulirirwa,
yeefiiriza yekka.
Akkiriza okunenyezebwa,
yeeyongera okugeziwala.
33Okutya Mukama,
kwe kuyigiriza omuntu amagezi;
n'okwetoowaza,
kwe kukulembera okukuzibwa.