ENGERO 14
14
1Amaka gatereezebwa
magezi ga bakazi,
naye obusiru bugazikiriza.
2Omwesimbu mu mpisa ze,
ye alaga bw'atya Mukama;
naye atali mwesimbu,
alaga bw'atassaamu
Mukama kitiibwa.
3Omusiru by'ayogera,
bye biba omuggo ogukuba
okwekuza kwe;
naye ebigambo by'ow'amagezi,
bimukuuma.
4Awatali nte zirima
amaterekero g'emmere
gaba makalu;
naye alina ente
ezirima ez'amaanyi,
amawanika ge gajjula eŋŋaano.
5Omujulizi omwesigwa, talimba;
naye omujulizi ow'obulimba,
ayogera byabulimba byereere
6Omuntu omunyoomi,
anoonya amagezi,
kyokka tagafuna
naye omutegeevu,
ayiga mangu.
7Vva awali omusiru,
talina kirungi ky'akuyigiriza.
8Amagezi g'omutegeevu,
gamumanyisa eky'okukola;
naye obubuyabuya bw'abasiru,
bubalimbalimba.
9Abasiru tebafaayo
bwe bazza omusango;
naye abantu abalungi,
basaba okusonyiyibwa.
10Ennaku gw'eruma,
ye agimanya;
era n'essanyu ly'omu,
teritegeerebwa mulala.
11Ennyumba y'omubi ng'egudde,
ey'omulungi erisigala eyimiridde.
12Oluusi ekkubo omuntu
ly'ayita ettuufu
lye limutwala mu kufa.#Laba ne Nge 16:25
13Enseko zandikweka obuyinike,
n'essanyu ne livaamu okunakuwala.
14Omuntu omubi
alifuna ekimugwanira;
n'omuntu omulungi,
aliweebwa empeera
egwanira ebikolwa bye.
15Omuntu omusiru amala gakkiriza buli kintu;
naye omutegeevu,
amala kwetegereza.
16Ab'amagezi beegendereza
ne beewala okukola ebitasaana;
naye abasiru tebassaayo mwoyo,
era bafubutukira bye bakola.
17Oyo ayanguwa okusunguwala,
akola ebitajja nsa;
n'omuntu asalira banne enkwe,
akyayibwa.
18Abasiru baba babuyabuya;
naye ab'amagezi bamanya bingi.
19Ababi balifukaamirira abalungi;
n'aboonoonyi balyeguya
abo abatya Mukama.
20Omuntu omwavu,
ne mikwano gye gimukyawa;
naye omugagga,
aba n'emikwano mingi.
21Kiba kibi omuntu
okunyooma munne;
naye asaasira abaavu,
aba n'omukisa.
22Abateesa okukola ebibi bawaba;
naye abateesa okukola ebirungi,
balyesigibwa
ne baagalibwa bannaabwe.
23Okubaako omulimu gw'okola, kigasa;
naye okwogera obwogezi, kwavuwaza.
24Ab'amagezi bagaggawala;
naye ababuyabuya, basiruwala.
25Omujulizi ayogera amazima,
awonya obulamu bw'omuntu;
naye aleeta eby'obulimba,
abulyamu olukwe.
26Okutya Mukama,
kugumya nnyo omuntu;
era kumukuuma n'ab'omu maka ge.
27Okutya Mukama,
nsulo ya bulamu
era kuwonya omuntu okufa.
28Abantu abafugibwa
gye bakoma okuba abangi,
n'ekitiibwa kya kabaka waabwe
gye kikoma okuba ekinene.
Eky'atalina b'afuga,
tekibaawo.
29Atasunguwala mangu,
yeetegereza bulungi ebintu;
naye alina akasunguyira,
akola n'ebitajja nsa.
30Alina emirembe mu mutima,
n'omubiri gwe guba mulamu;
naye obuggya,
bugulya nga kookolo.
31Omuntu ajooga abaavu,
aba anyooma Oyo eyabatonda;
naye omuntu amussaamu ekitiibwa,
asaasira abali mu bwetaavu.
32Abakola ebibi bibazikiriza;
naye omuntu omulungi,
afa alina essuubi.
33Abategeevu baba n'amagezi;
naye ekiri mu mitima gy'abasiru,
kimanyiddwa.
34Empisa ennungi ziweesa
eggwanga ekitiibwa;
naye okwonoona,
kulivumaganya.
35Bakabaka basanyukira
abaweereza abalungi;
naye basunguwalira ababaswaza.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.