ENGERO 13
13
Obwavu n'obugagga
1Omwana ow'amagezi
assaayo omwoyo ku ebyo,
kitaawe by'amubuulirira;
naye omunyoomi,
tawuliriza kunenyezebwa.
2Omuntu omulungi afuna ebirungi
olw'ebigambo by'ayogera;
naye ab'enkwe beegomba
kukola bya bukambwe.
3Eyeegendereza by'ayogera,
akuuma obulamu bwe;
naye enjogeziyogezi,
yeereetera okuzikirira.
4Omuntu omugayaavu,
tafuna bye yeegomba;
naye omunyiikivu,
agaggawala.
5Omuntu omulungi,
akyawa obulimba;
naye omubi mugwagwa,
era akola ebiswaza.
6Obwegendereza,
bukuuma omulongoofu;
naye obubambaavu,
busuula omwonoonyi.
7Waliwo abeeyisa ekigagga,
naye nga tebalina kantu.
Waliwo abeeyisa ng'abaavu,
naye nga bagagga babifeekeera.
8Omugagga by'alina
bye bimununula;
naye omwavu,
tawuliriza kunenyezebwa.
9Abantu abalungi,
bali ng'ettaala
ekoleezeddwa n'eyaka;
naye bo ababi,
bali ng'ettaala ezikidde.
10Okwekuza kuleeta kuwakana,
naye eky'amagezi,
kwe kukkiriza okubuulirirwa
11Obugagga obujja amangu,
era buggwaawo mangu;
naye obwo bw'okuŋŋaanya
empolampola
ng'okola emirimu,
bulyeyongera okwala.
12Okulwawo okufuna ky'osuubira,
kirwaza ebirowoozo;
naye afuna kye yeegomba,
oyo addamu obulamu.
13Anyooma okubuulirirwa,
yeereetera okuzikirira;
naye agondera ekiragiro,
aliweebwa empeera.
14Enjigiriza y'ab'amagezi,
eba nsulo ya bulamu,
eggya abantu mu kufa.
15Okutetenkanya okulungi,
kwagazisa omuntu;
naye okuba ow'enkwe, kibi.
16Abantu abategeevu,
bamala kulowooza
ne balyoka bakola;
naye omusiru,
ayolesa obutamanya bwe.
17Omubaka ateesigwa,
aleeta emitawaana;
naye omutume omwesigwa,
aleetawo emirembe.
18Atayagala kubuulirirwa,
ayavuwala era aswala;
naye akkiriza okunenyezebwa,
assibwamu ekitiibwa.
19Omuntu asanyuka
okufuna kye yeegomba;
naye ababi tebaagalira ddala
kulekayo kwonoona.
20Otambulanga n'ab'amagezi,
naawe obe wa magezi;
naye bw'olikwana abasiru,
oli wa kulaba nnaku.
21Emitawaana gyesiba ku boonoonyi;
naye abantu abalongoofu,
baliweerwa ebirungi.
22Omuntu omulungi afuna obugagga
bw'alirekera n'abazzukulu;
naye obugagga bw'aboonoonyi,
bulitwalibwa abo abalungi.
23Ennimiro z'abaavu,
zibala emmere nnyingi;
naye abatali benkanya
tebabaganya kugirya.
24Atabonereza mwana we,
aba amukyaye;
naye amwagala, assaayo omwoyo
okumukangavvula.
25Omuntu omulungi,
afuna by'alya n'akkuta;
naye omuntu omubi
alumwa enjala bulijjo.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.