رفتن به محتوا

ENGERO 11

11
Obwenkanya n'obulyazaamaanyi
1Mukama akyawa abakozesa
ebipimo ebikyamu;
naye abakozesa
ebipimo ebituufu,
b'asiima.
2Kasita weepanka,
tolema kuswala;
naye omwetoowaze, ye w'amagezi.
3Okuba omwesimbu,
kuluŋŋamya omuntu;
naye obukumpanya,
buzikiriza ab'enkwe.
4Mukama Katonda bw'asunguwala,
obugagga tebukuyamba;
naye okuba omwesimbu,
kutaasa obulamu bwo.
5Obwesimbu bw'omuntu omulungi,
buluŋŋamya obulamu bwe;
naye omuntu omubi,
yeezikiriza yekka.
6Abataliiko kamogo,
obwesimbu bwabwe bulibawonya;
naye ab'enkwe, balikwatirwa
mu bye beegomba.
7Omuntu omubi bw'afa,
bye yali asuubira bizikirira.
Ateesiga Mukama,
taliiko ky'aganyulwa.
8Omuntu omulungi,
awonyezebwa ennaku ye,
n'eddira omubi.
9Atatya Katonda ayogera
ebizikiriza abalala;
naye abantu abalungi,
okumanya kubawonya.
10Abantu abeesigwa
bwe bafuna ebirungi,
ekibuga kisanyuka.
Era omubi bw'afa,
wabaawo okuleekaana olw'essanyu.
11Abantu abalungi,
baleetera ekibuga omukisa;
naye ebigambo by'ababi,
bikireetera okuzikirira.
12Kya busiru okunyooma abalala;
naye omuntu omugezi, asirika.
13Omubungeesa w'eŋŋambo,
abotola ebyama;
naye omwesigwa,
asirikira ekigambo.
14Abantu bazikirira
awatali wa magezi abaluŋŋamya;
naye awali abawi b'amagezi abangi,
we waba emirembe.
15Eyeeyimirira gw'atamanyi,
talirema kwejjusa,
akyawa okweyingiza mu by'abalala,
ye aliba emirembe.
16Omukazi ow'ekisa,
assibwamu ekitiibwa;
n'abasajja abakakaalukanyi,
bafuna obugagga.
17Mu kubeera n'ekisa, oganyulwa;
naye omukambwe, yeerumya yekka.
18Akola ebibi yeerimba
nti alibiggyamu omugaso.
Akola ebirungi, ye aweebwa
empeera yennyini emugasa.
19Anywerera mu mpisa ennungi,
aliba mulamu;
naye ow'empisa embi,
yetta yekka.
20Mukama akyawa ab'emitima
egitali mirongoofu;
naye asanyukira abo,
abakola ebituufu.
21Awatali kubuusabuusa,
ababi balibonerezebwa;
naye abantu abalungi,
tebalituukibwako kabi.
22Obulungi bw'omukazi
atalina mpisa,
buli ng'empeta ya zaabu,
eri mu nnyindo y'embizzi.
23Abantu abalungi beegomba
birungi byereere;
naye ababi kye basuubirayo,
kusunguwalirwa Mukama.
24Waliwo abasaasaanya ensimbi,
ne beeyongera kugaggawala;
era waliwo abazikodowalira
okusinga bwe kisaanidde,
naye ne beeyongera kwavuwala.
25Omugabi aligaggawala;
n'oyo awa abalala obuyambi,
talibulako bamuyamba.
26Amma banne emmere ye
akolimirwa abantu;
naye oyo aguzaako abalala,
bamusabira omukisa.
27Bw'oba nga ky'ogoba kirungi,
olisiimibwa abalala;
naye ky'ogoba bwe kiba nga kibi,
era kibi ky'olifuna.
28Eyeesiga obugagga, alikunkumuka
ng'amakoola g'omuti oguwaatula;
naye omuntu omulungi, alinyirira
ng'omuti ogutojjedde.
29Atawaanya ab'omu maka ge,
alisikira bbanga;
era omusiru, anaafugibwanga oyo
ow'amagezi.
30Omuntu omulungi,
aleetera banne obulamu;
n'oyo alina amagezi,
asika emitima gy'abantu.
31Oba nga abantu abalungi mu nsi
baweebwa empeera ebasaanira,
kale omubi n'omwonoonyi
balirema batya
okufuna ekibasaanira!#Laba ne 1 Peet 4:18