NAHUMU 2
2
Ekibuga Nineeve kiwangulwa
1Nineeve, olumbiddwa,
anaakumulungula atuuse!
Kuuma ekigo kyo,
labirira oluguudo!
Weesibe wenyweze,
funvubira n'amaanyi go gonna!
2Mukama anaatera okuzzaawo
ekitiibwa kya Yakobo:
kye kitiibwa ky'Abayisirayeli.
Abanyazi bajja ne baaya
emizabbibu gyabwe,
ne bamenya amatabi gaagyo.
3Abasajja be abazira
bakutte engabo emmyufu:
Abalwanyi be bambadde
ebyambalo ebitwakaavu.
Amagaali gaabwe
gaakaayakana ng'omuliro.
Embalaasi z'olutalo
ziri bulindaala.
4Amagaali gabunye ekibuga
geetawulira mu nguudo.
Gaakaayakana ng'emimuli,
gatemagana ng'ebimyanso.
5Abakungu bayitibwa,
ne batambula nga bagwa.
Abalumbi banguwako
okutuuka ku kigo,
bategeka okukiggunda.
6Enzigi ez'oku ludda lw'omugga
ziggulibwawo,
olubiri ne lujjula entiisa!
7Nnaabakyala n'anyagibwa,
n'atwalibwa nga musibe.
Abazaana be bakaaba ng'amayiba,
nga bwe beekuba mu bifuba,
olw'okunakuwala.
8Abantu badduka okuva mu Nineeve
ng'amazzi agava mu kidiba ekyabise.
Bwe babakoowoola nti:
“Muyimirire, muyimirire!”
Tewali atunula mabega.
9Munyage ffeeza, munyage zaabu!
Ebyobugagga tebiriiko kkomo!
Ekibuga kijjudde ebintu:
buli kirungi kiri omwo!
10Nineeve kyabuliddwa,
ebyamu binyagiddwa,
kisigalidde awo!
Tewali alaga buzira,
amaviivi gabakubagana;
n'ebiwato bibakankana
era abantu bonna
amaaso gabapeeruuse olw'entiisa!
11Ekibuga kiri ludda wa
ekyali kitiibwa
ng'empuku y'empologoma,
empologoma ento mwe zaaliiranga,
era mwe zaasigalanga
awatali azitiisa,
ng'empologoma enkulu
ensajja n'enkazi zitambudde?
12Empologoma ensajja
buli kye yattanga
n'ekitaagula obulere,
n'ekireetera ento ezo,
era n'enkazi zaayo.
N'ejjuza empuku yaayo,
ensolo ezitaaguddwa!
13Mukama Nnannyinimagye
agamba nti:
“Ndikubonereza ggwe!
Ndyokya amagaali go
ne ganyooka omukka,
era abaserikale bo
balittirwa mu lutalo.
Nditwala byonna bye wanyaga.
Eddoboozi ly'ababaka bo
teriiwulirwenga nate.”
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.