رفتن به محتوا

NAHUMU 1

1
1Buno bwe bubaka
obufa ku Nineeve,
kye kitabo omuli okulabikirwa
kwa Nahumu ow'e Elukoosi.#Laba ne Yis 10:5-34; 14:24-27; Zef 2:13-15
Katonda asunguwalira Nineeve
2Mukama Katonda
takkiriza kuvuganyizibwa.
Mukama awoolera eggwanga,
era wa busungu nnyo.
Abonereza abo abamukyawa,
era asibira abalabe be ekiruyi.
3Mukama alwawo okusunguwala,
era alina obuyinza bungi.
Buli azzizza omusango
tamuleka: amubonereza.
Ekkubo mw'atambulira,
liri mu kikuŋŋunta
ne mu kibuyaga,
era ebire ye nfuufu
ebigere bye gye bisitula.
4Alagira ennyanja n'ekalira,
era emigga gyonna agikaza.
Ettale ly'e Basani
n'ery'oku Lusozi Karumeeli libabuse.
Ebimuli by'oku Lebanooni biwotose.
5Ensozi zikankanira w'ali,
obusozi ne busaanuuka.
Ettaka likka bw'alabika.
Ensi yonna yeekaaka,
n'abagiriko ne batekemuka.
6Bw'asunguwala,
ani ayinza okubeerawo?
Ani ayinza okugumira
obusungu bwe obuswakidde?
Bwe bubuubuuka ng'omuliro,
enjazi zaatikira w'ali.
7Mukama mulungi:
akuuma abantu be
mu biseera ebizibu.
Alabirira abamwesiga.
8Abamukyawa
alibasaanyizaawo ddala
n'omujjuzo gw'amazzi,
era abalabe be
alibasindika emagombe.
9Kiki kye muteesa
okukola ku Mukama?
Ajja kubasaanyaawo!
Tewali amwesimbamu
mulundi mulala!
10Wadde bali ng'amaggwa
agakwataganye,
era ng'abanywi b'omwenge
abatamidde,
alibookya n'abasaanyaawo
ng'ebisambu ebikaze.
11Mu ggwe Nineeve, mwavaamu
alina endowooza embi,
ateesa okukola akabi ku Mukama.
12Kino Mukama ky'agamba
abantu be Abayisirayeli nti:
“Wadde Abassiriya bangi
era nga ba maanyi,
banaazikirira baggweewo.
Newaakubadde nababonyaabonya mmwe,
naye sikyababonyaabonya nate.
13Kaakano nja kumenya
ekikoligo kya Assiriya
ekibanyigiriza,
era nkutule enjegere ze
ezibasibye.”
14Kino Mukama ky'alagidde
ekifa ku mmwe Abassiriya:
“Temulifuna bazzukulu
balituumibwa mannya gammwe.
Ndizikiriza ebifaananyi ebyole
era n'ebisaanuuse
ebiri mu masabo
ga balubaale bammwe.
Ndibasimira entaana
kuba temusaanira kuba balamu.”
15Mulabe omubaka ali ku nsozi ajja,
aleeta amawulire amalungi,
era alangirira emirembe!
Mmwe abantu b'omu Buyudaaya,
mukuume ennaku zammwe enkulu.
Bye mweyama mubituukirize,
kubanga ababi tebakyaddamu
kubalumba mmwe.
Bazikiririziddwa ddala.#Laba ne Yis 52:7