NAHUMU 3
3
1Zikisanze ekibuga ekitemu,
ekijjudde obulimba,
era ekikubyeko ebinyage!
Obunyazi bwakyo tebukoma!
2Wulira enkoba ezivuga,
ezikuba embalaasi ze bagoba,
nga zigenda ziguluba!
Wulira nnamuziga ezeewagala,
n'amagaali agakubagana!
3Abeebagadde embalaasi
bataze okulwana
ng'ebitala bimasamasa,
nga n'amafumu gamyansa!
Abafudde be bangi,
emirambo butabala,
giri mu ntuumu na ntuumu,
abadduka kwe beekoona!
4Ebyo byonna byasibuka
ku bwenzi bwa Nineeve
malaaya asikiriza ennyo,
eyaloga emitima gy'abantu,
n'afuga amawanga olw'obwenzi bwe.
5Mukama Nnannyinimagye
agamba nti:
“Ndikubonereza ggwe Nineeve,
ndikwambula osigale bwereere
amawanga gakulabe gakusunge.
6Ndikusuulako ebyenyinyalwa
era ne nkunyoomoola.
Ndikufuula kyerolerwa
eri buli akutunulako.
7Abakutunulako bonna
balikudduka nga bagamba nti:
‘Mazima Nineeve kifuuse matongo!
Anaakikaabira anaava wa?
Tunaazuula wa akikubagiza?’ ”
8Nineeve ggwe mulungi
okusinga Nowamoni
ekibuga ky'e Misiri?
Kyali kumpi n'Omugga Kiyira,
nga kyetooloddwa amazzi
ku njuyi zonna.
Kyali kikomeddwa na nnyanja,
ng'amazzi kye kigo kyakyo!
9Amaanyi gaakyo
gaakiri mu Etiyopiya ne Misiri.
Ab'e Puuti n'ab'e Libiya
nabo baakiyambanga.
10Wabula era kyanyagibwa:
abantu baamu ne bawaŋŋangusibwa.
Abaana baamu abato
ne batirimbulwa
mu buli masaŋŋanzira gaakyo.
Abeekitiibwa mu kyo
n'abakulembeze baakyo
baasibibwa ku njegere,
ne bagabanibwa abalabe
nga bakubirwa akalulu!
11Naawe Nineeve
olitaga ng'omutamiivu,
oliggwaamu amaanyi.
Naawe olinoonya
we weewogoma abalabe.
12Ebigo byo byonna
biriba ng'emiti emitiini
okuli ebibala
ebisooka okwengera.
Emiti egyo bwe ginyeenyezebwa,
ebibala bikunkumuka,
ababyagala ne balya.
13Laba abaserikale bo
bali ng'abakazi:
tewali bataasa nsi yo,
kugigobako balabe!
Omuliro gusaanyaawo
emikiikiro gy'enzigi zo.
14Weekimire amazzi,
weetegekere okuzingizibwa.
Nyweza ebigo byo.
Samba ebbumba
obumbe amatoffaali,
ogapange mu kyokero.
15Wabula ne bw'onookola ki,
tewali kinaakugasa!
Ojja kwokebwa omuliro,
bakuttire mu lutalo
wenna bakusaanyeewo,
ng'ebirime mu nnimiro
enzige bye zisaanyaawo.
Wazaala nnyo ng'enzige!
16Wayaza abasuubuzi bo
okusinga emmunyeenye mu bungi.
Naye kati babuuse ng'enzige
ne bagenda.
17Abakulembeze mu ggwe
bali ng'enseenene,
n'abaduumira eggye lyo
bali ng'ebibinja by'enzige
ezeekukuma mu nkomera
ng'obudde bunnyogovu.
Naye enjuba bw'evaayo
zibuuka ne zigenda,
tewali amanya lye zikutte.
18Ggwe Kabaka w'Assiriya,
abasumba bo nno bafudde!
Abakungu bo bagaŋŋalamye.
Abantu bo basaasaanidde
mu nsozi,
tewaliiwo abakuŋŋaanya!
19Tewali kinaaweeza
ku bulumi bw'owulira,
ekiwundu kyo si kya kuwona.
Bonna abawulira bw'owanguddwa,
bakuba mu ngalo nga basanyuka,
kubanga obukambwe bwo
obutaaliko kkomo
tewali gwe bwataliza.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.