رفتن به محتوا

MIKKA 6

6
Mukama alumiriza Yisirayeli
1Kale muwulire ebyo
Mukama by'agamba nti:
“Situka oyombe mu maaso g'ensozi,
n'obusozi buwulire ky'ogamba.”
2“Mmwe emisingi gy'ensi egy'olubeerera,
muwulire okwemulugunya kwa Mukama,
kubanga Mukama
yeemulugunyiza abantu be.
Ajja kulumiriza Yisirayeli.”
3Mukama agamba nti:
“Mmwe abantu bange,
kiki kye mbakoze?
Kiki kye mbakaluubiriddemu?
Munziremu.
4Nabaggya mu nsi y'e Misiri,
ne mbanunula mu buddu.
Natuma Musa ne Arooni
ne Miriyamu okubakulembera.#Laba ne Kuv 4:10-16; 12:50-51; 15:20
5Naye bantu bange,
mujjukire ebyo Balaki,
kabaka wa Mowaabu
bye yateesa okubakolako,
n'ebyo Balamu
mutabani wa Bewori
bye yamuddamu.
Mujjukire ebyabaawo
nga muva e Sittimu
okutuuka e Gilugaali,
mulyoke mumanye
bye nkola okubalokola.”#Laba ne Kubal 22:2–24:25; Yos 3:1–4:19
Mukama bye yalagira
6Kiki kye nnaaleetera Mukama,
Katonda ow'omu ggulu
nga nzija okuvuunama mu maaso ge?
Nnaamuleetera nnyana
ezaakamala omwaka ogumu,
nziweeyo zibe ekitambiro ekyokebwa?
7Mukama anaasiima
endiga za sseddume enkumi n'enkumi,
oba omuzigo ogukulukuta ng'emigga?
Omwana wange omuggulanda
gwe mba mpaayo olw'ebibi byange?
8Mukama atubuulidde
ekirungi ky'ayagala.
Mukama tatwagaza kirala
wabula okukolanga ebituufu,
n'okubanga ab'ekisa
era n'okumusinzanga Katonda waffe
nga tuli beetoowaze.
9Kya magezi okutya Mukama.
Mukama akoowoola ekibuga nti:
“Muwulire mmwe
abakuŋŋaanira mu kibuga!
10Mu mayumba g'ababi
mulimu ebyobugagga
bye baafuna mu bukumpanya.
Bakozesa ebipimo ebitali bituufu
bye nvumirira.
11Nnyinza ntya okusonyiwa abantu
abakozesa minzaani
n'ebipimo ebirala
ebitali bituufu?
12Kubanga abagagga mu mmwe
banyigiriza abaavu,
era mwenna muli balimba.
13N'olwekyo ntandise
okubabonereza n'okubazikiriza
olw'ebibi byammwe.
14Mulirya, naye temulikkuta.
Mulisigala nga mukyalumwa enjala.
Mulifiirwa bye mwatereka,
ne bye muliwonyaawo
ndibizikiririza mu lutalo.
15Mulisiga, naye temulikungula.
Mulisogola emizayiti
ne muggyamu omuzigo,
naye temuligukozesa.
Mulisogola omwenge,
naye temuligunywako.
16Kubanga mugoberedde
empisa embi eza Omuri
n'ebikolwa eby'ab'ennyumba ya Ahabu,
era mukoledde ku magezi gaabwe.
Kale mmwe abantu bange
ndibazikiriza.
Mulinyoomebwa abantu bonna,
era mulivumibwa buli wantu.”#Laba ne 1 Bassek 16:23-34; 21:25-26