MIKKA 5
5
1Abantu b'omu Yerusaalemu,
mukuŋŋaanye eggye lyammwe.
Batuzingizizza ffe!
Balumbye omufuzi wa Yisirayeli!
Omufuzi alisibuka mu Betilehemu
2Mukama agamba nti:
“Ggwe Betilehemu Efurata,
akamu ku bubuga
obusingayo obutono mu Buyudaaya,
mu ggwe mwe ndiggya
omufuzi wa Yisirayeli,
asibuka mu lunyiriri
olw'emirembe egy'edda ennyo.”#Laba ne Mat 2:6; Yow 7:42
3Mukama kyaliva abawaayo
okutuusa oyo alumwa okuzaala
lw'alizaala.
Olwo abantu b'ensi ye
abaliba basigaddewo ne bakomawo
eri Bayisirayeli bannaabwe.
4Oyo bw'alijja,
alifuga abantu be
mu buyinza bwa Mukama
n'obukulu bw'erinnya
lya Mukama, Katonda we.
Abantu be balibeera mu ddembe,
kubanga aliba mukulu mu nsi yonna,
5era alireeta emirembe.
Abassiriya bwe balizinda ensi yaffe,
ne basaatuukira mu nnyumba zaffe,
tulisindika abakulembeze baffe musanvu
n'abakungu baffe munaana#5:5 abakulembeze baffe musanvu…munaana: Oba “Abakulembeze baffe abasinga obuzira”,
ne babalwanyisa.
6Balirwana olutalo
ne bawangula Assiriya,
ensi ya Nimuroodi.
Alituwonya#5:6 Alituwonya: Kye kiri mu Lwebureeyi, awalala “Balituwonya” Abassiriya,
abaliba babuuse ensalo zaffe,
ne bayingira ensi yaffe.#Laba ne Nta 10:8-11
Okuwonya n'okubonereza
7Abayisirayeli abaliwonawo,
baliba wakati mu mawanga amangi
ng'omusulo oguva eri Mukama,
era ng'enkuba etonnya ku bimera
ebirabirirwa Mukama,
ebitalabirirwa bantu.
8Abayisirayeli abaliwonawo
baliba wakati mu mawanga amangi
ng'empologoma eri wakati
mu nsolo ez'omu ttale,
oba mu magana g'endiga:
z'egwamu n'ezitaagulataagula,
ne wataba ayinza kuziwonya.
9Muliwangula abalabe bammwe
era mulibazikiriza bonna.
10Mukama agamba nti:
“Mu kiseera ekyo,
ndibaggyako embalaasi zammwe,
era ndisanyaawo amagaali gammwe.
11Ndizikiriza ebibuga
ebiri mu nsi yammwe,
era ndimenya ebigo byammwe byonna.
12Ndizikiriza eby'obulogo byammwe,
temuliddayo kuba na balaguzi.
13Ndiggyawo ebifaananyi byammwe,
n'empagi zammwe,
ebyo mmwe mmwennyini bye mwekolera,
temuliddayo kubisinza.
14Era ndisimbula mu nsi yammwe
ebifaananyi bya lubaale Asera,
era ndizikiriza ebibuga byammwe.
15Mu busungu n'ekiruyi
ndiwoolera eggwanga
ku mawanga agatampulira.”
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.