رفتن به محتوا

MIKKA 7

7
Empisa z'Abayisirayeli zoonooneka
1Nga zinsanze nze!
Ndi ng'omuyala
atasanga kibala
kisigadde ku muti,
wadde ekirimba
kisigadde ku muzabbibu.
Ebirimba by'emizabbibu byonna
n'emitiini gye njagala
egisooka okwengera, binogeddwa,
tekukyali kya kulya.
2Tewakyali mwesigwa mu nsi,
tewakyali muntu mwesimbu.
Buli muntu ateesa atemule,
buli omu atega munne ekitimba.
3Bonna bamanyirivu
mu kukola ebibi.
Abafuzi n'abalamuzi
baagala kulya nguzi.
Omukungu bw'ababuulira
ku kibi ky'ateesa okukola,
nga nabo bateesa wamu naye.
4N'abo abasinga obulungi bo
bali nga katazzamiti;
abo abasingamu obwesimbu
bali ng'olukomera lw'amaggwa.
Kaakano ekiseera kituuse babonerezebwe
nga bwe baalabulibwa
abalanzi baabwe.
Kaakano basobeddwa.
5Temwesiga muliraanwa wammwe,
wadde ow'omukwano.
Mwegendereze bye mwogera
ne bwe muba nga mwogera
ne bakazi bammwe.
6Kubanga omwana ow'obulenzi
anyooma kitaawe,
ow'obuwala akikinala ku nnyina.
Muka mwana ayombesa nnyazaala we.
Abalabe b'omuntu
baba ba mu nnyumba ye.#Laba ne Mat 10:35-36; Luk 12:53
7Naye nze nnaatunuuliranga Mukama,
nnaalindiriranga Katonda andokole.
Katonda wange anampuliranga.
Mukama ye Mulokozi
8Ggwe omulabe wange
osanyukira bwereere
nga nfunye ebizibu.
Ne bwe ngwa, nnaayimuka.
Ne bwe tuba mu kizikiza,
Mukama anampa ekitangaala.
9Nnaagumikiriza obusungu bwa Mukama
kubanga mmujeemedde.
Oluvannyuma alinnwanirira,
n'asalawo nti nze mutuufu.
Alindeeta mu kitangaala,
ne ndaba nga bw'ali omwenkanya.
10Olwo nno omulabe wange
eyaŋŋambanga nti:
“Mukama Katonda wo
ali ludda wa?”
Aliraba ekyo n'aswala.
Ndisanyuka okulaba bw'alinnyirirwa
ng'ebitoomi eby'omu nguudo.
11Ggwe Yerusaalemu,
ekiseera eky'okuzimba
ebisenge byo, kijja.
Mu kiseera ekyo,
ensalo zo zirigayizibwa.
12Abantu bo balidda gy'oli,
nga bava mu Assiriya
ne mu bibuga bya Misiri,
mu bitundu by'Omugga Ewufuraate,
ne ku nnyanja,
ne ku nsozi ez'ewala.
13Naye ensi erifuuka ddungu
olw'ebikolwa ebibi
eby'abo abagibeeramu.
Mukama akwatirwa Yisirayeli ekisa
14Mukama, abantu bo be weeroboza,
balabirire ng'omusumba
bw'alabirira endiga ze.
Bali bokka mu kibira,
nga beetooloddwa ensi engimu.
Baleke baliirenga
mu Basani ne mu Gileyaadi
nga mu biseera eby'edda.
15Mukama agamba nti:
“Ndiraga abantu ebyamagero,
nga bwe nakola nga muva
mu nsi ey'e Misiri.”
16Ab'omu mawanga baliraba bino,
ne batekemuka,
newaakubadde nga ba maanyi.
Balikwata ku mimwa,
era baliziba amatu gaabwe
nga beewuunya.
17Balyewalula mu nfuufu ng'emisota,
ne bava gye beekwese,
ne bajja eri Mukama, Katonda waffe,
nga batidde nga bakankana.
18Teri Katonda mulala ali nga ggwe,
ayi Mukama asonyiwa ebibi
by'abantu bo abawonyeewo.
Tolemera mu busungu bwo ennaku zonna,
naye osanyuka okukwatirwa ekisa.
19Oliddamu okutusaasira.
Olirinnyirira ebibi byaffe,
n'obisuula mu buziba bw'ennyanja.
20Oliraga obwesigwa
n'ekisa abantu bo,
bazzukulu ba Aburahamu ne Yakobo
nga bwe walayirira bajjajjaffe
okuva edda n'edda.