رفتن به محتوا

MIKKA 4

4
Obufuzi bwa Mukama obw'emirembe
(Laba ne Yis 2:2-4)
1Mu biseera ebirijja
olusozi okuli Essinzizo
lwe luliba lusinga zonna obugulumivu.
Lulitumbiira okuyisa obusozi bwonna.
Ab'omu mawanga mangi balijja
nga bakuluggukira ku lwo.
2Era baligamba nti:
“Mujje twambuke
ku lusozi lwa Mukama,
ku Ssinzizo lya Katonda wa Yisirayeli.
Alituyigiriza by'ayagala tukole,
tulitambulira mu makubo g'atulaga.
Kubanga mu Siyooni
mwe muva ebyo
Mukama by'alagira.
Asinziira mu Yerusaalemu
okwogera n'abantu be.”
3Aliramula amawanga ag'amaanyi,
agali okumpi n'agali ewala.
Ebitala byabwe
balibiweesaamu enkumbi,
n'amafumu gaabwe
baligaweesaamu ebiwabyo.
Amawanga tegaalwanaganenga,
era tewaabenga nate
kutendekebwa mu bya ntalo.#Laba ne Yol 3:10
4Buli muntu anaabeeranga
mu mizabbibu gye
ne mu mitiini gye,
nga tewali amutiisa.
Mukama ow'obuyinza ye ayogedde.#Laba ne Zek 3:10
5Abantu aba buli ggwanga
bakolera ku biragiro
bya balubaale baabwe.
Naye ffe tunaakoleranga
ku biragiro bya Mukama, Katonda waffe
ennaku zonna.
Abayisirayeli baliva mu buwaŋŋanguse
6Mukama agamba nti:
“Ekiseera kirituuka,
ne nkuŋŋaanya wamu abawenyera,
ne nkomyawo abo abaagobwa
n'abo be nabonereza.
7Abawenyera ndibafuula bakaawonawo,
n'abaali bagobeddwa
ne babeera ewala n'ewaabwe,
ndibafuula eggwanga ery'amaanyi.
Okuva olwo nnaabafugiranga
ku Lusozi Siyooni emirembe gyonna.”
8Naawe Yerusaalemu,
omunaala okusinziirwa
okulabirira eggwanga,
ng'omusumba bw'alabirira eggana lye,
oliddamu okuba ekibuga ekikulu
eky'obwakabaka nga bwe wali edda.
9Kale okaabira ki ennyo
n'obalagalwa bw'otyo
ng'omukazi alumwa okuzaala?
Lwa kuba nti tolina kabaka,
wadde omuntu akuwa amagezi?
10Mulumwe nnyo musinde
ng'omukazi alumwa okuzaala,
mmwe abantu b'omu Siyooni,
kubanga kaakano
mujja kuva mu kibuga,
musiisire ku ttale.
Era muligenda e Babilooni.
Naye eyo Mukama
gy'alibanunulira
mu balabe bammwe.
11Kaakano ab'omu mawanga mangi
bakuŋŋaanye okubalwanyisa mmwe,
nga bagamba nti:
“Yerusaalemu kyonoonebwe!
Twagala tulabe nga kizikiridde!”
12Naye ab'omu mawanga ago
tebamanyi Mukama by'alowooza.
Tebamanyi ng'abakuŋŋaanyizza
ng'ebinywa by'eŋŋaano,
abakubire mu gguuliro.
13Mukama agamba nti:
“Mmwe ab'omu Yerusaalemu,
mugende mubonereze
abalabe bammwe.
Ndibafuula ba maanyi mmwe,
ng'ente eya sseddume
erina amayembe ag'ekyuma,
n'ebinuulo eby'ekikomo.
Mulibetenta amawanga mangi,
ebyobugagga byabwe
ne mubiwongera Nze Mukama,
Mukama w'ensi zonna.”