MIKKA 3
3
Mikka avumirira abafuzi ba Yisirayeli
1Awo ne ŋŋamba nti:
“Muwulire mmwe abafuzi ba Yisirayeli!
Si mmwe mwandibadde mumanya obwenkanya?
2Naye mukyawa ebirungi,
ne mwagala ebibi.
Mubaagako abantu bange eddiba,
ne mubaggyako ennyama ku magumba!
3Mulya abantu bange!
Mubabaagako eddiba,
ne mumenyaamenya amagumba gaabwe,
ne mubasalaasala ng'ennyama
ey'okufumba mu ntamu!
4Ekiseera kirituuka
ne mukaabirira Mukama,
kyokka talibaddamu.
Taliwuliriza kusaba kwammwe,
kubanga mwakola ebikolwa bibi.”
5Abalanzi bawubisa abantu bange
nga basuubiza emirembe
eri buli abawa ekyokulya,
ne balangirira olutalo
ku abo abatabawadde mmere.
Abalanzi abo Mukama abagamba nti:
6“Olw'ekyo balanzi mmwe,
enjuba eneetera okugwa nga mutunula,
obudde obw'emisana bubaddugalire,
mulyoke mubeere mu kiro
nga temukyalabikirwa;
mube mu kizikiza
nga temukyalanga.”
7Abalanzi balikwatibwa ensonyi,
n'abalaguzi baliswala.
Bonna balibikka ku mimwa gyabwe,
kubanga Katonda talibaanukula.
8Naye nze, Mukama anzijuza
omwoyo gwe era n'amaanyi,
n'amazima era n'obuvumu,
okutegeeza Abayisirayeli
ebibi byabwe nga bwe biri.
9Muntegere amatu mmwe
abakulira ennyumba ya Yakobo,
abafuzi ba Yisirayeli,
mmwe abakyawa amazima,
ekirungi ne mukifuula ekibi!
10Mmwe abazimba Siyooni
ku musingi ogw'obutemu,
Yerusaalemu ku bwonoonyi.
11Abakulu baakyo
balamula lwa nguzi.
Bakabona bayigiriza,
n'abalanzi mu kyo
balanga bafune ensimbi.
Ng'olwo beeyinula Mukama
nga bagamba nti:
“Mukama tali wakati mu ffe?
Tetulituukibwako kabi!”
12Kale olw'okubeera mmwe
Olusozi Siyooni
lulirimibwa ng'ennimiro.
Ekibuga Yerusaalemu
kirifuuka ntuumu ya bisasiro.
Akasozi okuli Essinzizo
kalimerako ekibira.#Laba ne Yer 26:18
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.