رفتن به محتوا

MIKKA 2

2
Ababonyaabonya abaavu
1Ziribasanga abo
abagalamira ku bitanda byabwe,
ne bakeesa obudde nga bateesa
okukola ebibi,
era ne babikola
ng'obudde bukedde,
kubanga basobola okubikola.
2Bwe beegomba ennimiro,
ezo nga bazinyaga;
ka zibeere nnyumba
nazo nga batwala.
Tebatya na nnyinimu,
wadde bye yasikira.
3Mukama kyava agamba nti:
“Ntegeka okubakolako mmwe akabi
ke mutaliyinza kwewonya.
Muliba temukyatambula nga mweyagala,
kubanga ebiseera ebyo biriba bibi.
4Ekiseera ekyo bwe kirituuka,
balibafuula mmwe olugero olw'abo
abatuukibwako akabi,
era balibayeeya mu luyimba
olw'okukungubaga nti:
‘Tunyagiddwako buli kintu,
Mukama atuggyeeko ensi yaffe
n'agigabira abajeemu.’ ”
5Kale ekiseera bwe kirituuka
ensi eddizibwe abantu ba Mukama,
mmwe tewaliba abapimira mugabo.
6Waliwo abalangirira
nga bagamba nti:
“Totulagula!
Omuntu tasaana
kulanga ebyo!
Tetugenda kuswazibwa.
7Aba Yakobo bayinza okukolimirwa?
Mukama takyagumiikiriza?
Ayinza okukola ebiri ng'ebyo?
Ebigambo bye tebisanyusa abo
abakolera ku mazima?”
8Mukama n'addamu nti:
“Naye abantu bange,
mufuuse ng'abalabe.
Abo abatayagala kulwana,
mubanyagako ebyambalo byabwe
nga babayitako
awatali kye beeraliikirira.
9Abakazi b'abantu bange
mubagoba mu maka gaabwe
agabasanyusa.
Abaana baabwe abato
ekitiibwa kye nabawa,
mukibaggyako ennaku zonna.
10Musituke mugende,
kubanga wano
tewakyaliwo kiwummulo.
Ebibi byammwe
bizikirizza ekifo kino.
11Abantu bano gwe baagala,
ye mulanzi abalimba
ng'agamba nti:
‘Nnanga nti mulifuna omwenge
n'ebyokunywa ebirala ebitamiiza.’
12Naye ndibakuŋŋaanya mmwe
mwenna Abayisirayeli abalisigalawo,
ne mbaleeta wamu ng'endiga
ezikomyewo mu kisibo.
Ensi yammwe erijjula abantu
ng'eddundiro erijjudde endiga.
Balireekaana olw'obungi bwabwe”
13Abatemera ekkubo
alibakulemberamu.
Balimenya oluggi olwa wankaaki
ne bayitawo.
Kabaka waabwe, Mukama yennyini,
alibakulemberamu.