رفتن به محتوا

YOSWA 23

23
Yoswa ayogera ebisiibula
1Bwe waayitawo ekiseera kiwanvu, Mukama n'awonya Abayisirayeli abalabe baabwe bonna ababeetoolodde. Mu kiseera ekyo, Yoswa yali akaddiye nnyo. 2Kyeyava ayita Abayisirayeli bonna, abakulu n'abakulembeze, n'abalamuzi, n'abakungu baabwe, n'abagamba nti: “Nze nkaddiye. Mpise mu myaka mingi. 3Mulabye byonna Mukama Katonda wammwe by'akoze ku mawanga gonna gonna ku lwammwe. Mukama Katonda wammwe abadde abalwanirira mmwe. 4Ensi y'amawanga agakyasigaddewo, n'ey'amawanga gonna ge namala edda okuwangula, okuva ku Mugga Yorudaani mu buvanjuba, okutuuka ku Nnyanja Eyaawakati mu bugwanjuba, ngiwadde ebika byammwe okuba eyaabyo. 5Mukama Katonda wammwe alisindiikiriza ab'amawanga ago, n'abazza emabega ku lwammwe, era alibagoba nga mmwe mulaba. Mulyefuga ensi yaabwe, nga Mukama Katonda wammwe bwe yabasuubiza mmwe. 6Kale munyiikire nnyo okukwatanga n'okukolanga byonna ebyawandiikibwa mu Kitabo ky'Amateeka ga Musa, mulemenga kubivaako n'akatono, 7era mulemenga kwetaba na ba mawanga gano abasigadde mu mmwe, oba okukoowoolanga amannya ga balubaale baabwe, oba okugakozesanga nga mulayira, oba okusinza balubaale abo, wadde okubafukaamirira. 8Naye munywerere ku Mukama nga bwe mubadde mukola okutuusa kaakano. 9Mukama yagoba amawanga amanene era ag'amaanyi nga mulaba, era tewali muntu yayimirira mu maaso gammwe okutuusa kati. 10Omu mu mmwe anaagobanga lukumi, kubanga Mukama Katonda wammwe ye abalwanirira, nga bwe yabasuubiza.#Laba ne Ma 3:22; 32:30 11Kale, musseeyo nnyo omwoyo okwagalanga Mukama Katonda wammwe, 12kubanga bwe mulidda emabega, ne mwegatta n'ab'amawanga ago abaasigala mu mmwe, ne mufumbiriganwa nabo, 13mutegeerere ddala nga Mukama Katonda wammwe taagobenga ba mawanga ago nga mulaba, naye banaabanga mutego n'ekyambika gye muli, n'obuswanyu mu mbiriizi zammwe, oba amaggwa mu maaso gammwe, okutuusa lwe muliggweerawo ddala mu nsi eno ennungi, Mukama Katonda wammwe gy'abawadde.
14“Mulabe, nze nnaatera okufa. Mwenna mumanyi bulungi mu mitima gyammwe ne mu myoyo gyammwe, nga Mukama abawadde ebirungi byonna bye yasuubiza. Buli kirungi kye yasuubiza akituukirizza. Tewali na kimu kibuzeeko. 15Naye nga bw'atuukirizza buli kirungi kye yabasuubiza, bw'atyo Mukama bw'alibatuusaako buli kabi konna, okutuusa lw'alibamalirawo ddala mu nsi eno ennungi gye yabawa. 16Bwe mutalikuuma ndagaano Mukama Katonda wammwe gye yabalagira okukuuma, ne mugenda ne muweereza balubaale, era ne mubafukaamirira, alibabonereza mu busungu bwe, ne muggwaawo mangu mu nsi eno ennungi gy'abawadde.”