رفتن به محتوا

YOSWA 24

24
Yoswa ayogera n'abantu e Sekemu
1Awo Yoswa n'akuŋŋaanya ebika ebya Yisirayeli mu Sekemu. N'ayita abantu abakulu, n'abakulembeze, n'abalanzi, era n'abakungu ba Yisirayeli. Ne bajja mu maaso ga Mukama. 2Yoswa n'agamba abantu bonna nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Edda bajjajjammwe baabeeranga emitala w'Omugga Ewufuraate, ne basinzanga balubaale. Omu ku bajjajjammwe abo, ye Teera, kitaawe wa Aburahamu ne Nahori.#Laba ne Nta 11:27 3Aburahamu jjajjammwe ne mmuggya emitala w'Omugga ogwo Ewufuraate, ne mmuyisa mu nsi yonna ey'e Kanaani, ne njaza ezzadde lye, ne mmuwa Yisaaka.#Laba ne Nta 12:1-9; 21:1-3 4Yisaaka ne mmuwa Yakobo ne Esawu. Ne mpa Esawu ensi Seyiri ey'ensozi okuba eyiye. Naye Yakobo n'abaana be, ne baserengeta e Misiri.#Laba ne Nta 25:24-26; 36:8; 46:1-7; Ma 2:5 5Oluvannyuma ne ntuma Musa, ne mbonyaabonya Misiri mu ebyo bye nakolerayo, ne ndyoka mbaggyayo mmwe.#Laba ne Kuv 3:1–12:42 6Naggya bajjajjammwe e Misiri, Abamisiri ne babawondera n'amagaali n'abeebagadde embalaasi. Naye bajjajjammwe bwe baatuuka ku Nnyanja Emmyufu,#Laba ne Kuv 14:1-31 7ne bankoowoola, Nze Mukama, mbayambe. Ne nteekawo ekizikiza wakati waabwe n'Abamisiri. Abamisiri ne mbayiwako ennyanja ne mbasaanyaawo. Mumanyi bye nakola ku Misiri.
“ ‘Mwamala ekiseera kiwanvu mu ddungu. 8Awo ne mbaleeta mu nsi y'Abaamori, abaali ku ludda olw'ebuvanjuba olw'Omugga Yorudaani. Ne babalwanyisa mmwe. Naye mmwe ne mbawa okubawangula, ne mwefuga ensi yaabwe, bo ne mbazikiriza nga mmwe mulaba.#Laba ne Kubal 21:21-35 9Awo kabaka w'e Mowaabu, Balaki mutabani wa Zippori, n'abalwanyisa mmwe Abayisirayeli. N'atumya Balamu mutabani wa Bewori, n'amusaba okubakolimira.#Laba ne Kubal 22:1–24:25 10Naye ne ŋŋaana okuwuliriza ebya Balamu, kyeyava abasabira omukisa. Bwe ntyo ne mbawonya Balaki. 11Ne musomoka Omugga Yorudaani, ne mutuuka e Yeriko. Abantu b'e Yeriko ne babalwanyisa, ng'Abaamori, n'Abaperizi, n'Abakanaani, n'Abahiiti, n'Abagirugaasi, n'Abahiivi, n'Abayebusi bwe baakola. Naye ne mbawa mmwe okubawangula abo bonna.#Laba ne Yos 4:14-17; 6:1-21 12Bwe mwali nga mutuuka, ne ndeeta mu bantu abo entiisa n'egoba bakabaka bombi ab'Abaamori. Tebyali bitala byammwe, wadde emitego gyammwe.#Laba ne Kuv 23:28; Ma 7:20 13Nabawa ensi gye mwali mutalimanga, n'ebibuga bye mwali mutazimbanga, ne mubibeeramu. Ne mulya ku mizabbibu ne ku mizayiti gye mutasimbanga.’ ”#Laba ne Ma 6:10-11
14“Kale kaakano musseemu Mukama ekitiibwa, mumuweerezenga mu mazima awatali bukuusa. Era muggyeewo balubaale, bajjajjammwe be baasinzanga mu Mesopotaamiya ne mu Misiri, muweerezenga Mukama yekka. 15Era oba nga temwagala kumuweerezanga, mulondeewo olwaleero gwe munaaweerezanga: oba balubaale, bajjajjammwe be baaweerezanga mu Mesopotaamiya, oba balubaale b'Abaamori, ab'omu nsi gye mulimu kaakati. Naye nze n'ab'omu nnyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama.”
16Abantu ne baddamu nti: “Kikafuuwe ffe okuva ku Mukama ne tuweereza balubaale! 17Mukama Katonda waffe ye yatuggya ffe ne bajjajjaffe mu buddu mu nsi y'e Misiri, ne tulaba ebyewuunyo bye yakola. Yatukuuma wonna gye twagendanga mu mawanga gonna ge twayitangamu. 18Bwe twali nga tujja mu nsi eno, Mukama n'agobamu Abaamori bonna abaagirimu. N'olwekyo tunaaweerezanga Mukama, kubanga ye Katonda waffe.”
19Yoswa n'agamba abantu nti: “Naye muyinza okulemwa okuweereza Mukama. Ye ye Katonda, era mutuukirivu. Kale taasonyiwenga bibi byammwe. Tagenda kukkiriza kuvuganyizibwa. 20Bwe munaamuvangako ne muweereza balubaale, anaabakyukiranga mmwe, n'ababonereza. Alibazikiriza, newaakubadde nga yasooka kubakolera birungi.”
21Abantu ne bagamba Yoswa nti: “Nedda, tunaaweerezanga Mukama.” 22Yoswa n'abagamba nti: “Muli bajulirwa bammwe mwennyini nga mulonzeewo kuweerezanga Mukama.” Ne bagamba nti: “Tuli bajulirwa.”
23N'agamba nti: “Kale kaakano muggyeewo balubaale abagwira be mulina. Mukyusize ddala emitima gyammwe eri Mukama, Katonda wa Yisirayeli.”
24Abantu ne bagamba Yoswa nti: “Mukama Katonda waffe tunaamuweerezanga. Ne by'alagira, tunaabituukirizanga.”
25Bw'atyo Yoswa n'akola endagaano n'abantu ku lunaku olwo, n'abateekera amateeka n'ebiragiro e Sekemu.
26Yoswa n'awandiika ebigambo ebyo mu Kitabo eky'Amateeka ga Katonda. N'atwala ejjinja eddene, n'alisimba awo wansi w'omuvule mu kifo ekitukuvu ekya Mukama. 27N'agamba abantu bonna nti: “Ejjinja lino linaabanga mujulirwa waffe, kubanga liwulidde ebigambo byonna Mukama by'atugambye; kyerinaavanga liba omujulirwa abalumiriza mmwe, mulemenga okwegaana Katonda wammwe.”
28Awo Yoswa n'asiibula abantu, buli omu n'adda mu kitundu kye yagabana okuba ekikye.
29Ebyo bwe byaggwa, omuweereza wa Mukama, Yoswa mutabani wa Nuuni, n'afa ng'awangadde emyaka kikumi mu kkumi. 30Ne bamuziika mu ttaka lye, lye yagabana e Timunati Seera, mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi, ku ludda olw'ebukiikakkono obw'Olusozi Gaasi.#Laba ne Yos 19:49-50
31Ebbanga lyonna Yoswa lye yamala nga mulamu, Abayisirayeli baaweereza Mukama. Era ne bongera okumuweereza ebbanga lyonna, ery'obulamu bw'abakulembeze abeerabirako n'agaabwe byonna Mukama bye yakolera Yisirayeli, era abaasigalawo nga Yoswa amaze okufa.
32Amagumba ga Yosefu, Abayisirayeli ge baaleeta nga bava e Misiri, ne bagaziika e Sekemu, mu ttaka Yakobo lye yagula ebitundu bya ffeeza ekikumi ku batabani ba Hamori, kitaawe wa Sekemu. Ettaka eryo ne liba obusika bwa bazzukulu ba Yosefu.#Laba ne Nta 33:19; 50:24-25; Kuv 13:19; Yow 4:5; Bik 7:16
33Eleyazaari mutabani wa Arooni n'afa, ne bamuziika e Gibeya, ekibuga kya mutabani we Finehaasi, ekyamuweebwa mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi.