YOSWA 22
22
Yoswa asindika ab'ebika eby'ebuvanjuba ewaabwe
1Awo Yoswa n'ayita ab'Ekika kya Rewubeeni n'ab'Ekika kya Gaadi n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse, 2n'abagamba nti: “Mukoze byonna Musa omuweereza wa Mukama bye yabalagira okukola, era muwulidde ebiragiro byange byonna.#Laba ne Kubal 32:20-32; Yos 1:12-15 3Ebbanga lino lyonna temulekererangako Bayisirayeli bannammwe, naye mutuukirizza bulungi ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe. 4Kaakano Mukama Katonda wammwe awadde Bayisirayeli bannammwe emirembe nga bwe yabasuubiza. N'olwekyo muddeeyo ewammwe mu kitundu Musa omuweereza wa Mukama kye yabawa okuba ekyammwe mu buvanjuba bwa Yorudaani. 5Mutuukirizenga bulungi amateeka n'ebiragiro, Musa omuweereza wa Mukama bye yabalagira: okwagalanga Mukama Katonda wammwe, n'okukolanga byonna by'ayagala, n'okukwatanga amateeka ge, n'okubeeranga abeesigwa gy'ali, n'okumuweerezanga n'omutima gwammwe gwonna.” 6Awo Yoswa n'abasabira omukisa, n'abasiibula ne baddayo ewaabwe. 7Ekitundu ekimu eky'Ekika kya Manasse, Musa yali akiwadde ettaka mu Basani ku ludda lw'ebuvanjuba bwa Yorudaani, ate ekitundu ekirala Yoswa ng'akiwadde ku ludda Olw'ebugwanjuba bwa Yorudaani, wamu n'ebika ebirala. 8Yoswa n'asiibula ebika ebyo ng'abagamba nti: “Muddayo ewammwe nga muli bagagga nnyo: nga mulina amagana g'ente ne ffeeza, ne zaabu, n'ebikomo n'ebyuma n'engoye nnyingi. Mugabane ne baganda bammwe, ebyo bye mwanyaga ku balabe bammwe.” Awo ne baddayo ewaabwe.
9Awo ab'Ekika kya Rewubeeni n'ab'Ekika kya Gaadi, n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse ne baddayo ewaabwe, ne baleka Abayisirayeli abalala mu Siilo, mu nsi y'e Kanaani, ne bagenda mu nsi yaabwe, ey'e Gileyaadi, gye baaweebwa okuba eyaabwe, nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa.
Alutaari ku Yorudaani
10Awo ab'Ekika kya Rewubeeni n'ab'Ekika kya Gaadi, n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse, bwe baatuuka e Gelilooti, ekiriraanye Omugga Yorudaani mu nsi y'e Kanaani, ne bazimba awo alutaari ennene, esikiriza okulaba. 11Awo Abayisirayeli abalala ne bawulira abantu nga bagamba nti: “Laba, ab'Ekika kya Rewubeeni, n'ab'Ekika kya Gaadi, n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse bazimbye alutaari e Gelilooti, ku ludda lwaffe olwa Yorudaani.” 12Abayisirayeli bwe baakiwulira, bonna ne bakuŋŋaanira e Siilo, bagende babalwanyise.
13Awo Abayisirayeli ne batuma Finehaasi, mutabani wa Eleyazaari kabona, eri ab'Ekika kya Rewubeeni n'ab'Ekika kya Gaadi n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse mu nsi y'e Gileyaadi. 14N'agenda n'abakulembeze kkumi, abaava mu buli kika kya Yisirayeli, era nga be bakulu b'ennyumba zaabwe. 15Ne bajja eri ab'Ekika kya Rewubeeni n'ab'Ekika kya Gaadi, n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse mu nsi y'e Gileyaadi, 16ne boogerera ekibiina kya Mukama kyonna, ne babagamba nti: “Lwaki mukoze ekintu kino ekibi mu maaso ga Mukama Katonda wa Yisirayeli? Mujeemedde Mukama nga mwezimbira alutaari eno! Mumuvuddeko, temukyamugoberera!#Laba ne Ma 12:13-14 17Era twongere ku kibi kye twakolera e Peyori, kye tutannaba na kwenaazaako n'okutuusa kaakano, newaakubadde nga Mukama yasindika kawumpuli mu bantu be?#Laba ne Kubal 25:1-9 18Mwagala kumuvaako leero? Singa mumujeemera olwa leero, enkya ajja kusunguwalira ekibiina kya Yisirayeli kyonna. 19Naye kaakano oba ng'ensi yammwe tegwanira kusinzizaamu, mujje mu nsi ya Mukama omuli eweema ye, mwefunire ettaka mu ffe. Naye temujeemera Mukama, oba okutufuula abajeemu nga muzimba alutaari endala, ng'ate alutaari ya Mukama Katonda waffe weeri. 20Akani mutabani wa Zeera, bwe yagaana okuwulira ekiragiro ekifa ku bintu ebyali eby'okuzikiriza, ekibiina kyonna ekya Yisirayeli tekyabonerezebwa? Akani si ye yekka eyafa olw'ekibi kye.”#Laba ne Yos 7:1-26
21Ab'Ekika ekya Rewubeeni n'ekya Gaadi n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse ne baddamu abakulu b'ennyumba z'Abayisirayeli abalala nti: 22“Mukama, ye Katonda Nnannyinibuyinza! Mukama, ye Katonda Nnannyinibuyinza! Ye amanyi, era nammwe twagala mumanye kye twakola. Ddala oba nga twakikola lwa bujeemu, na lwa kweggya ku Mukama, ku luno temutusaasira. 23Oba nga twazimba alutaari lwa kujeemera Mukama, tuleme kumugoberera, oba tulyoke tuweereko gy'ali ebitambiro ebyokebwa oba ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, oba ebiweebwayo olw'okutabagana, Mukama yennyini atubonereze. 24Nedda! Twakikola kubanga twatya nti gye bujja, bazzukulu bammwe bandigamba abaffe nti: ‘Mulina nkolagana ki ne Mukama, Katonda wa Yisirayeli? 25Mukama yafuula Yorudaani ensalo wakati waffe nammwe Abarewubeeni n'Abagaadi. Temulina kye mugabana wa Mukama.’ Bwe batyo bazzukulu bammwe bandiresezzaayo bazzukulu baffe okusinza Mukama. 26Kale kyetwava tuzimba alutaari, si lwa kwokerako bitambiro, oba okuweerako ebiweebwayo, 27naye twagizimba, ebe obujulizi obulaga abantu baffe n'abammwe, era n'ab'omu mirembe egirituddirira nti ddala tusinza Mukama, era tuwaayo mu maaso ge ebiweebwayo olw'okutabagana, bazzukulu bammwe baleme kugamba bazzukulu baffe gye bujja nti: ‘Temulina kye mugabana wa Mukama.’ 28Twalowooza nti bwe balitugamba bwe batyo, oba bwe baligamba bwe batyo bazzukulu baffe gye bujja, tuligamba nti: ‘Mulabe alutaari bajjajjaffe gye baakola ng'efaananira ddala alutaari ya Mukama. Baagikola, si lwa biweebwayo ebyokebwa, oba lwa bitambiro, naye ebe obujulizi wakati waffe nammwe.’ 29Kikafuuwe ffe okujeemera Mukama, oba okulekera awo okumugoberera, ne tuzimba alutaari okuweerako ebiweebwayo ebyokebwa, oba ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, oba ebitambiro. Ekyo tetuyinza kukikola nga waliwo alutaari ya Mukama Katonda waffe mu maaso g'Eweema ye.”
30Awo Finehaasi kabona, n'abakulembeze b'ekibiina, abakulu b'ennyumba za Yisirayeli abaali naye, bwe baawulira ebigambo ab'omu Bika ekya Rewubeeni n'ekya Gaadi n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse bye bagambye, ne basanyuka nnyo. 31Finehaasi mutabani wa Eleyazaari kabona n'abagamba nti: “Kaakano tutegedde nga Mukama ali wakati mu ffe, kubanga temwamujeemera. Muwonyezza Abayisirayeli okubonerezebwa Mukama.”
32Finehaasi mutabani wa Eleyazaari kabona n'abakulembeze, ne bava mu nsi y'e Gileyaadi gye baasisinkanira Abarewubeeni n'Abagaadi, ne baddayo mu nsi y'e Kanaani eri Abayisirayeli, ne babategeeza ebibaddewo. 33Abayisirayeli ne basanyuka, ne batendereza Katonda, ne bataddayo kwogera ku bya kugenda kulwanyisa Barewubeeni na Bagaadi, n'okuzikiriza ensi mwe babeera.
34Abarewubeeni n'Abagaadi ne batuuma alutaari eyo erinnya “Obujulizi”, nga bagamba nti: “Eno bwe bujulizi obutulaga nti Mukama ye Katonda.”
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.