رفتن به محتوا

YOSWA 21

21
Ebibuga by'Abaleevi
1Awo abakulu b'ennyumba ez'ab'omu Kika kya Leevi, ne bagenda eri Eleyazaari kabona, n'eri Yoswa mutabani wa Nuuni, n'eri abakulu b'ennyumba z'ab'omu bika byonna ebya Yisirayeli. 2Ne babagambira mu Siilo mu nsi y'e Kanaani nti: “Mukama yalagira ng'ayita mu Musa okutuwa ebibuga eby'okubeerangamu, n'ettale lyakwo ery'okulundirangamu ensolo zaffe.”#Laba ne Kubal 35:1-8 3Awo Abayisirayeli ne bawa Abaleevi ebibuga ebimu n'ettale lyakwo, mu bitundu byabwe, nga Mukama bwe yalagira.
4Abaleevi ab'ennyumba ya Kohati be baasooka okuweebwa ebibuga mu kalulu. Abasibuka mu Arooni kabona, baaweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva mu bitundu eby'ab'Ebika: ekya Yuda n'ekya Simyoni n'ekya Benyamiini. 5Abakohati abalala ne baweebwa ebibuga kkumi okuva mu bitundu eby'ab'Ebika: ekya Efurayimu n'ekya Daani n'ekya Manasse.
6Ab'ennyumba ya Gerusooni ne baweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva mu bitundu eby'ab'Ebika: ekya Yissakaari n'ekya Aseri n'ekya Nafutaali n'ekya Manasse mu Basani.
7Ab'ennyumba ya Merari ne baweebwa ebibuga kkumi na bibiri okuva mu bitundu eby'Ebika: ekya Rewubeeni n'ekya Gaadi n'ekya Zebbulooni.
8Abayisirayeli baakuba bululu okuwa Abaleevi ebibuga ebyo n'ettale lyakwo, nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa.
9Gano ge mannya g'ebibuga ebyaggyibwa mu bitundu bya Yuda ne Simyoni ne biweebwa 10bazzukulu ba Arooni, ab'ennyumba ya Kohati ow'omu Kika kya Leevi. Be baasooka okukubirwa akalulu. 11Ne babawa Kiriyati Aruba (Aruba ye yali kitaawe wa Anaki), kati ekiyitibwa Heburooni, mu nsi ey'ensozi eya Yuda, awamu n'ettale lyakwo. 12Naye ennimiro z'ekibuga ekyo n'ebyalo byakyo byali byaweebwa dda Kalebu, mutabani wa Yefunne okuba ebibye.
13Okwongereza ku Heburooni, ekimu ku bibuga eby'okuddukirangamu, bino bye bibuga ebyaweebwa bazzukulu ba Arooni kabona: Libuna, 14ne Yattiri, ne Esutemowa, 15ne Holoni, ne Debiri, 16ne Ayini, ne Yutta, ne Beti Semesi, wamu n'ettale lyabyo. Ebyo bye bibuga omwenda, ebyaggyibwa ku Bika, ekya Yuda n'ekya Simyoni. 17Okuva mu kitundu kya Benyamiini, baaweebwa ebibuga bina: Gibiyoni ne Geeba 18ne Anatooti ne Alumoni n'ettale lyakwo. 19Ebibuga kkumi na bisatu byonna awamu bye byaweebwa bakabona, bazzukulu ba Arooni.
20Abaleevi abalala ab'ennyumba ya Kohati ne baweebwa mu kalulu ebibuga, mu kitundu kya Efurayimu. 21Baaweebwa ebibuga bina: Sekemu n'ettale lyakwo, ekimu ku bibuga eby'okuddukiramu mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi, ne Gezeri 22ne Kibuzayimu, ne Betooroni n'ettale lyabyo. 23Ne baweebwa ebibuga bina mu kitundu kya Daani: Eluteke, ne Gibbetooni 24ne Ayalooni, ne Gaturimmoni n'ettale lyabyo. 25Ne baweebwa ebibuga bibiri mu kitundu kya Manasse: Taanaki ne Gaturimmoni n'ettale lyabyo. 26Ebibuga byonna ab'ennyumba ya Kohati abalala bye baafuna byali kkumi, wamu n'ettale lyabyo.
27Abaleevi abalala ab'ennyumba ya Gerusooni ne baweebwa mu kitundu kya Manasse ebibuga bibiri: Goloni ekimu ku bibuga eby'okuddukirangamu eky'omu Basani, ne Beesutera, wamu n'ettale lyabyo. 28Ne baweebwa mu kitundu kya Yissakaari ebibuga bina: Kisiyooni ne Daberaati 29ne Yarumuti ne Engannimu, wamu n'ettale lyabyo. 30Ne baweebwa ebibuga bina mu kitundu kya Aseri: Misali ne Abudooni, 31ne Elukati ne Rehobu, wamu n'ettale lyabyo. 32Ne baweebwa ebibuga bisatu mu kitundu kya Nafutaali: Kedesi, ekimu ku bibuga eby'okuddukirangamu eky'omu Galilaaya, ne Hammoti Doori, ne Karutaani, wamu n'ettale lyabyo. 33Ab'ennyumba ya Gerusooni bonna awamu, baafuna ebibuga kkumi na bisatu wamu n'ettale lyabyo.
34Abaleevi abalala ab'ennyumba ya Merari, ne baweebwa mu kitundu kya Zebbulooni ebibuga bina: Yokuneyaamu ne Karuta, 35ne Dimuna, ne Nahalali, wamu n'ettale lyabyo. 36Ne baweebwa mu kitundu kya Rewubeeni ebibuga bina: Bezeri ne Yahazi, 37ne Kedemooti ne Mefaati, wamu n'ettale lyabyo. 38Ne baweebwa ebibuga bina mu kitundu kya Gaadi: Ramoti, ekimu ku bibuga eby'okuddukirangamu eky'omu Gileyaadi, ne Mahanayimu, 39ne Hesubooni, ne Yazeri, wamu n'ettale lyabyo. 40Bwe batyo ab'ennyumba ya Merari bonna awamu, baaweebwa ebibuga kkumi na bibiri.
41Mu bitundu byonna Abayisirayeli bye baafuna okuba ebyabwe, Abaleevi baaweebwamu ebibuga amakumi ana mu munaana, wamu n'ettale lyabyo eribyetoolodde. 42Ebibuga ebyo byonna bwe byali bwe bityo nga birina ettale eribyetoolodde.
Abayisirayeli beefuga ensi
43Bw'atyo Mukama bwe yawa Abayisirayeli ensi yonna, gye yalayirira okuwa bajjajjaabwe. Ne bagyefuga, ne bagibeeramu. 44Mukama n'abawa emirembe ku nsalo zaabwe zonna, nga bwe yasuubiza bajjajjaabwe. Tewali n'omu ku balabe baabwe bonna eyasobola okuyimirira mu maaso gaabwe, kubanga Mukama yawa Abayisirayeli okuwangula abalabe baabwe bonna. 45Tewali kirungi na kimu Mukama kye yasuubiza Yisirayeli ekyabulako: byonna byatuukirira.