YOSWA 20
20
Ebibuga eby'obuddukiro
(Laba ne Kubal 35:9-34; Ma 19:1-13)
1Mukama n'agamba Yoswa#Laba ne Kubal 35:6-32; Ma 4:41-43; 19:1-13 2okutegeeza Abayisirayeli nti: “Mulonde ebibuga eby'okuddukirangamu bye nalagira Musa okubategeezaako. 3Oyo anaabanga asse omuntu nga tagenderedde, anaddukiranga eyo okuwona oyo amunoonya okuwoolera eggwanga. 4Anaayinzanga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo, n'agenda mu kifo awasalirwa emisango, ku mulyango gw'ekibuga, n'annyonnyola abakulembeze ebibaddewo. Awo banaamukkirizanga okuyingira mu kibuga, ne bamuwa ekifo aw'okubeera, n'abeera omwo. 5Oyo anoonya okuwoolera eggwanga bw'anaamugobererangayo, ab'omu kibuga ekyo, tebaamuwengayo mu mikono gye. Banaakuumanga eyatta, kubanga omuntu yamutta nga tagenderedde, naye nga si lwa kumukyawa. 6Eyatta omuntu anaasigalanga mu kibuga omwo okutuusa ng'amaze okuwozesebwa mu maaso g'ekibiina ky'abantu, era okutuusa nga Ssaabakabona abeerawo mu nnaku ezo amaze okufa. Olwo omuntu oyo n'addayo eka mu kibuga ky'ewaabwe gye yadduka.”
7Ku ludda olw'ebugwanjuba olw'Omugga Yorudaani, ne balonda Kedesi eky'omu Galilaaya mu nsi ey'ensozi eya Nafutaali, ne Sekemu mu nsi ey'ensozi eya Efurayimu, ne Heburooni mu nsi ey'ensozi eya Yuda. 8Ku ludda olw'ebuvanjuba olw'Omugga Yorudaani, ne balonda Bezeri eky'ab'Ekika kya Rewubeeni, ekiri mu lusenyi olw'eddungu mu buvanjuba bwa Yeriko, ne Ramoti eky'ab'Ekika kya Gaadi mu Gileyaadi, ne Golani eky'ab'Ekika kya Manasse mu Basani. 9Bino bye byali ebibuga eby'okuddukirangamu, ebyalondebwa Abayisirayeli bonna na buli mugwira abeera mu bo, buli attanga omuntu nga tagenderedde, addukirenga omwo, aleme okuttibwa oyo amunoonya okuwoolera eggwanga, okutuusa ng'amaze okuwoleza mu maaso g'ekibiina ky'abantu.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.