YOSWA 19
19
Ekitundu ekyaweebwa Simyoni
1Akalulu akookubiri kaagabira ba nnyumba z'ab'omu Kika kya Simyoni ekitundu ekyabwe. Ekitundu kye baafuna kyali wakati w'ekyo ab'Ekika kya Yuda kye baafuna. 2Kyalimu Beruseba, ne Seba, ne Molada,#Laba ne 1 Byom 4:28-33 3ne Azari Suwali, ne Bala, ne Ezemu, 4ne Elutoladi, ne Betuli, ne Oruma, 5ne Zikulagi, ne Beti Marikabooti, ne Azari Susa, 6ne Beti Lebawooti ne Sarukeni: ebibuga kkumi na bisatu n'ebyalo.
7Waaliwo Ayini ne Rimmoni, ne Eteri ne Asani: ebibuga bina n'ebyalo byabyo, 8wamu n'ebyalo byonna ebibyetoolodde okutuuka ku Baalati Beera oba Raama, mu bukiikaddyo. Kino kye kitundu ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Simyoni kye baafuna okuba ekyabwe. 9Ekitundu ekyaweebwa ab'omu Kika kya Yuda nga bwe kyali kibayitiriddeko obunene, n'ab'omu kika kya Simyoni kwe baafuna omugabo ogwabwe.
Ekitundu ekyaweebwa Zebbulooni
10Akalulu akookusatu ne kagabira ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Zebbulooni ekitundu ekyabwe. Ekitundu kye baafuna kyatuuka ku Saridi. 11Okuva awo ensalo yaabwe yalaga bugwanjuba e Mareyali, n'ekoma ku Dabbeseti, ne ku mugga oguli ebuvanjuba bwa Yokuneyaamu. 12Ku ludda olulala olwa Saridi, ensalo yalaga mu buvanjuba okutuuka ku nsalo y'e Kisulooti Tabori, ne ku Daberaati, n'eyambuka e Yafiya, 13ne yeeyongerayo mu buvanjuba, n'etuuka ku Gaati Heferi, ne ku Etukazini, n'ekoma ku Rimmoni okutuuka ku Neya. 14Ne yeetooloola ku luuyi olw'ebukiikakkono n'ekyuka okwolekera Hamatoni, n'ekoma ku Kiwonvu Yifutaheli. 15N'ezingiramu Kattati, ne Nakalali, ne Simurooni, ne Yidala, ne Betilehemu: ebibuga kkumi na bibiri n'ebyalo ebibyetoolodde. 16Ebibuga bino n'ebyalo byabyo byali mu kitundu ab'ennyumba ez'ab'omu Kika kya Zebbulooni kye baafuna okuba ekyabwe.
Ekitundu ekyaweebwa Yissakaari
17Akalulu akookuna ne kagabira ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Yissakaari ekitundu ekyabwe. 18Ekitundu kye baafuna kyalimu Yezireeli, ne Kesulooti, ne Sunemu, 19ne Hafarayimu ne Siyooni, ne Anakarati, 20ne Rabbiti, ne Kisiyooni ne Ebezi, 21ne Remeti ne Engannimu, ne Enuhadda, ne Betupazzezi. 22Ensalo era n'ekoona ku Tabori ne Sahazuma, ne Betisemesi, n'ekoma ku Yorudaani, bye bibuga kkumi na mukaaga n'ebyalo byabyo ebibyetoolodde. 23Ebibuga bino n'ebyalo byabyo, byali mu kitundu ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Yissakaari kye baafuna okuba ekyabwe.
Ekitundu ekyaweebwa Aseri
24Akalulu akookutaano ne kagabira ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Aseri ekitundu ekyabwe. 25Ekitundu kye baafuna kyalimu Helukati ne Ali, ne Beteni, ne Akusafu, 26ne Alamu Meleki, ne Amadi, ne Misali, n'ekituuka ku Karumeeli ne Sihori Libunati, ku ludda olw'ebugwanjuba. 27Ensalo yaabwe n'ewetera ku ludda olw'ebuvanjuba, n'etuuka ku Betudagoni, n'ekoona ku Zebbulooni, ne ku Kiwonvu Yifutaheli, n'eyolekera Betemeki ne Neyeli mu bukiikakkono. Ne yeeyongerayo e Kabuli mu bukiikakkono, 28ne Heburooni, ne Rehobu, ne Ammoni, ne Kaana, okutuukira ddala e Sidoni. 29Ensalo n'eweta okwolekera Raama, n'etuuka ku kibuga Tiiro ekiriko ekigo, n'eweta okwolekera Osa, n'ekoma ku Nnyanja Eyaawakati. Yazingiramu Makalabu ne Akuzibu 30ne Wumma ne Afeki ne Rehobu: bye bibuga amakumi abiri mu bibiri n'ebyalo byabyo. 31Ebibuga bino n'ebyalo byabyo byali mu kitundu ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Aseri kye baafuna okuba ekyabwe.
Ekitundu ekyaweebwa Nafutaali
32Akalulu ak'omukaaga ne kagabira ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Nafutaali ekitundu ekyabwe. 33Ensalo yaabwe yava ku Helefu, n'etuuka ku muvule ogw'e Zaanannimu, ne yeeyongerayo mu Adaminekebu ne Yabuneeli, okutuuka ku Lakkumu, n'ekoma ku Yorudaani. 34Awo ensalo n'eweta okwolekera oludda olw'ebugwanjuba, n'etuuka ku Azunooti Tabori, n'eva eyo n'etuuka e Hukoki, n'ekoona ku Zebbulooni ku ludda olw'ebukiikaddyo, ne ku Aseri ku ludda olw'ebugwanjuba, ne ku Yorudaani ku ludda olw'ebuvanjuba. 35Ebibuga ebiriko ebigo byali Ziddiimu ne Zeri, ne Hammati, ne Rakkati, ne Kinnereti, 36ne Adaama, ne Raama, ne Hazori, 37ne Kedesi, ne Edereyi, ne Enuhaazori, 38ne Yirooni, ne Migudaleli, ne Horemu, ne Betanaati, ne Betisemesi: bye bibuga kkumi na mwenda n'ebyalo ebibyetoolodde. 39Ebibuga ebyo n'ebyalo byabyo byali mu kitundu, ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Nafutaali kye baafuna okuba ekyabwe.
Ekitundu ekyaweebwa Daani
40Akalulu ak'omusanvu ne kagabira ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Daani ekitundu ekyabwe. 41Ekitundu kye baafuna kyalimu Zora, ne Esutawoli, ne Yirusemesi, 42ne Saalabbini, ne Ayalooni, ne Yetula, 43ne Eloni, ne Timuna, ne Ekurooni, 44ne Eluteke, ne Gibbetooni, ne Baalati, 45ne Yekudi, ne Beneberaki, ne Gaturimmoni, 46ne Meyarukooni ne Rakkooni, wamu n'ekitundu ekyetoolodde Yaafo.
47Awo ab'omu Kika kya Daani bwe baafiirwa ekitundu kyabwe, ne bagenda e Layisi, ne bakirumba ne bakirwanyisa, ne bakiwamba, ne batta abantu baamu bonna, ne bakituuma erinnya Daani, erya jjajjaabwe.#Laba ne Balam 18:27-29 48Ebibuga bino n'ebyalo byabyo byali mu kitundu ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Daani kye baafuna.
Okugabanya mu nsi okwasembayo
49Abayisirayeli bwe baamala okugabanyaamu ensi ebitundu, buli bamu ne bafuna ebyabwe, awo ne balyoka bawa Yoswa mutabani wa Nuuni ekitundu okuba ekikye. 50Nga Mukama bwe yalagira, ne bamuwa ekibuga kye yasaba, eky'e Timunati Seera, mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi. N'akizimba buggya, n'abeera omwo.
51Eleyazaari kabona, ne Yoswa mutabani wa Nuuni, n'abakulu b'ennyumba z'ab'omu bika bya Yisirayeli, baagabanya ebitundu bino eby'ensi, nga bakuba obululu mu maaso ga Mukama e Siilo, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Bwe batyo bwe baamaliriza okugabanyaamu ensi.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.