رفتن به محتوا

YOSWA 16

16
Ekitundu ekyaweebwa Efurayimu ne Manasse ebugwanjuba
1Ensalo ey'omu bukiikaddyo ey'ekitundu ekyaweebwa bazzukulu ba Yosefu mu kalulu, yatandikira ku Mugga Yorudaani okumpi ne Yeriko ebuvanjuba w'ensulo z'amazzi ez'e Yeriko, n'eraga mu ddungu. N'egenda okuva e Yeriko okwambuka mu nsi ey'ensozi, okutuuka e Beteli. 2Okuva e Beteli n'eraga e Luuzi, ng'eyitira ku Atarooti Addari, ensi y'Abaruki. 3Awo ensalo n'ekka ku ludda olw'ebugwanjuba, okutuuka ku nsalo n'Abayafuleeti, okutuukira ddala ku kitundu ky'e Betooroni ekya wansi. Okuva awo ne yeeyongerayo okutuuka e Gezeri, n'ekoma ku Nnyanja Eyaawakati.
4Bazzukulu ba Yosefu, abasibuka mu Efurayimu ne Manasse, ne bafuna ekitundu ekyo kibeerenga kyabwe.
Efurayimu
5Kino kye kitundu ab'ennyumba z'abazzukulu ba Efurayimu kye baafuna: ensalo yaabwe yava ku Atarooti Addari ku ludda olw'ebuvanjuba, okutuuka ku Betooroni eky'engulu. 6Okuva awo n'ekoma ku Nnyanja Eyaawakati. Mikumetati kyabali mu bukiikakkono. Ku ludda olw'ebuvanjuba, ensalo n'ekyuka okwolekera Taanati Siilo, n'ekiyitako ku ludda olw'ebuvanjuba, n'eraga e Yanowa. 7N'eva ku Yanowa, n'ekiika ku Atarooti ne Naara, n'etuuka ku Yeriko, n'ekoma ku Yorudaani. 8Ensalo n'egenda ebugwanjuba okuva ku Tappuwa, okutuuka ku Mugga Kaana, n'ekoma ku Nnyanja Eyaawakati. Ekyo kye kitundu ekyaweebwa ab'ennyumba ez'ab'omu Kika kya Efurayimu ebeerenga eyaabwe, 9wamu n'ebibuga n'ebyalo ebimu, ebyali mu kitundu kya bazzukulu ba Manasse, naye ekyaweebwa Abeefurayimu. 10Kyokka tebaagobamu Bakanaani abaali mu Gezeri. Awo Abakanaani ne babeera wamu n'Abeefurayimu n'okutuusa kati, era ne bafuuka abaddu okukolanga emirimu egibalagirwa.#Laba ne Balam 1:29