رفتن به محتوا

YOSWA 17

17
Ekitundu kya Manasse
1Mu kalulu, ab'Ekika kya Manasse omwana wa Yosefu omuggulanda, ne baweebwa ekitundu kibe ekyabwe. Makiri, kitaawe wa Gileyaadi, era omwana wa Manasse omuggulanda, yali muzira mu ntalo kyeyava aweebwa Gileyaadi ne Basani. 2Era mu kalulu, ekitundu eky'ebugwanjuba bwa Yorudaani ne kiweebwa ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Manasse abalala: Abiyezeeri, ne Heleki, ne Asuriyeeli, ne Sekemu, ne Heferi, ne Semida. Abo be bazzukulu ab'obulenzi aba Manasse mutabani wa Yosefu, abakulu b'ennyumba. 3Zelofehaadi mutabani wa Heferi, azaalibwa Gileyaadi, omwana wa Makiri, mutabani wa Manasse, teyazaala baana ba bulenzi, wabula ab'obuwala bokka. Amannya gaabwe ge gano: Maala, ne Noowa, ne Hogula, ne Milika, ne Tiruza. 4Abo ne bagenda eri Eliyazaari kabona n'eri Yoswa mutabani wa Nuuni n'eri abakulembeze, ne bagamba nti: “Mukama yalagira Musa okutuwa mu bannyinaffe ettaka okuba eryaffe.” Kyebaava baweebwa ettaka mu bannyinaabwe nga Mukama bwe yalagira.#Laba ne Kubal 27:1-7 5Bw'atyo Manasse n'afuna ebitundu kkumi ebyeyongera ku Gileyaadi ne Basani ebiri ku ludda lwa Yorudaani olw'ebuvanjuba. Yafuna ebyo byonna 6kubanga ne bazzukulu be abawala nabo baaweebwa ettaka. Ensi ey'e Gileyaadi yali yaweebwa dda bazzukulu ba Manasse abalala.
7Ekitundu kya Manasse kyava ku Aseri okutuuka ku Mikumetati ebuvanjuba bwa Sekemu. Ensalo n'egenda mu bukiikaddyo, okuzingiramu abantu b'e Entappuwa. 8Ekitundu ekyetoolodde Tappuwa kyaba kya Manasse, naye ekibuga Tappuwa ku nsalo, ne kiba kya Efurayimu. 9Kale ensalo n'ekka okutuuka ku Mugga Kaana. Ebibuga eby'omu bukiikakkono obw'omugga, byali bya Efurayimu, newaakubadde nga byali mu kitundu kya Manasse. Ensalo ya Manasse yayita ku ludda olwa kkono olw'omugga, n'ekoma ku Nnyanja Eyaawakati. 10Efurayimu yali ku ludda olw'ebukiikaddyo, Manasse n'aba ku ludda olw'ebukiikakkono, ng'Ennyanja Eyaawakati ye nsalo yaabwe mu bugwanjuba. Ne batuuka ku Aseri ku ludda olw'ebukiikakkono ku ludda olw'ebuvanjuba. 11Mu kitundu kya Yissakaari n'ekya Aseri, Manasse n'afunayo Beti Saani ne Yibuleyaamu, n'ebyalo ebibyetoolodde, ne Doori, ne Endori, ne Taanaki, ne Megiddo n'ebyalo ebibyetoolodde. 12Naye bazzukulu ba Manasse ne batasobola kugobamu bantu abaali mu bibuga ebyo. Kale Abakanaani ne bongera okubeera mu nsi eyo.#Laba ne Balam 1:27-28 13Abayisirayeli ne bwe beeyongera amaanyi, ne batagobaamu Bakanaani bonna, wabula ne babawalirizanga okubakolera emirimu.
Efurayimu ne Manasse basaba okubongera ettaka
14Bazzukulu ba Yosefu ne bagamba Yoswa nti: “Lwaki otuwadde omugabo gumu gwokka ogw'ettaka okuba ogwaffe, ate nga Mukama yatuwa omukisa ne tuba bangi nnyo?”
15Yoswa n'addamu nti: “Oba nga muli bangi nnyo, ng'ensi ya Efurayimu ey'ensozi tebamala, mugende mu bibira mwesaayire omwo, mu nsi y'Abaperezi n'Abareefa.”
16Bazzukulu ba Yosefu ne baddamu nti: “Ne bwe tunaakola bwe tutyo, era ensi ey'ensozi tetumala. Ate tetusobola kusenga mu nsenyi kubanga Abakanaani abali mu Beti Saani n'ebyalo ebikyetoolodde, n'abo abali mu Kiwonvu ky'e Yezireeli, balina amagaali ag'ebyuma.”
17Yoswa n'agamba ab'ennyumba ya Yosefu, bye bika ekya Efurayimu n'ekya Manasse nti: “Nga bwe muli abangi ennyo era ab'amaanyi, temujja kufuna mugabo gumu. 18Ensi yonna ey'ensozi eneeba yammwe. Newaakubadde nga ya kibira, mujja kukisaawa, kibe kyammwe okuva ku nsonda emu okutuuka ku ndala, era Abakanaani mulisobola okugibagobamu newaakubadde nga balina amagaali ag'ebyuma era nga ba maanyi.”