YOSWA 14
14
Okugabanyaamu ekitundu eky'ebugwanjuba bwa Yorudaani
1Bino bye bitundu Abayisirayeli bye baagabana mu nsi y'e Kanaani, Eleyazaari kabona, ne Yoswa mutabani wa Nuuni n'abakulu b'Ebika by'Abayisirayeli bye baabagabira. 2Ebitundu ebyaweebwa ebika omwenda n'ekitundu, byagabibwa nga bakuba kalulu, nga Mukama bwe yalagira Musa.#Laba ne Kubal 26:52-56; 34:13 3Ekitundu eky'ebuvanjuba bwa Yorudaani, Musa yali amaze okukiwa ebika ebibiri n'ekitundu. Naye Abaleevi tebaaweebwa ttaka libe lyabwe.#Laba ne Kubal 32:33; 34:14-15; Ma 3:12-17 4Bazzukulu ba Yosefu baavaamu ebika bibiri: Manasse ne Efurayimu. Bo Abaleevi tebaaweebwa mugabo gwa ttaka, wabula ebibuga eby'okubeerangamu. Baaweebwa n'ebyalo ebyetoolodde ebibuga ebyo, bakuumirengamu amagana gaabwe n'ebintu byabwe ebirala. 5Abayisirayeli baagabana ensi eyo nga Mukama bwe yalagira Musa.
Heburooni kiweebwa Kalebu
6Awo abamu ku b'omu Kika kya Yuda ne bajja eri Yoswa mu Gilugaali. Kalebu, mutabani wa Yefunne, Omukenizi n'agamba Yoswa nti: “Omanyi Mukama kye yagamba Musa omuntu wa Katonda mu Kadesibaruneya, ekikwata ku nze naawe.#Laba ne Kubal 14:30 7Musa omuweereza wa Mukama bwe yantuma okuva e Kadesibaruneya okuketta ensi eno, nali mpeza emyaka amakumi ana egy'obukulu. Namuleetera amawulire ag'ebintu nga bwe nabiraba.#Laba ne Kubal 13:1-30 8Naye bannange be nagenda nabo, ne baleetera abantu baffe okutya. Naye nze nakolera ddala ekyo Mukama Katonda wange ky'ayagala. 9Musa n'andayirira ku lunaku olwo nti: ‘Nga bw'okoledde ddala ekyo Mukama Katonda wange ky'ayagala, ekitundu ky'ensi ky'olinnyeemu ekigere kyo, kiriba kikyo ggwe n'abaana bo ennaku zonna.’#Laba ne Kubal 14:24 10Era kaakano, laba emyaka giweze amakumi ana mu etaano, Mukama bukya agamba Musa ebigambo ebyo. Olwo Yisirayeli yali ekyatambula mu ddungu. Era Mukama ankuumye nga ndi mulamu nga bwe yasuubiza. Laba, ndi wa myaka kinaana mu etaano, 11era kaakano nkyali wa maanyi nga ku lunaku luli Musa lwe yantumirako. Nkyalina amaanyi okulwana mu lutalo oba okukola ekirala kyonna. 12Kale kaakano mpa ekitundu kino eky'ensozi, Mukama kye yayogerako ku lunaku luli, kubanga ku lunaku olwo wawulira nga Abaanaki be baaliyo mu bibuga ebinene ebyaliko ebigo. Osanga Mukama anaabeera nange ne mbagobamu, nga Mukama bwe yagamba.”
13Yoswa n'asabira omukisa Kalebu mutabani wa Yefunne, n'amuwa ekibuga Heburooni okuba ekikye. 14Okuva olwo Heburooni ne kibeera ekya Kalebu mutabani wa Yefunne Omukenizi n'okutuusa kati, kubanga Kalebu yakolera ddala, Mukama, Katonda wa Yisirayeli ky'ayagala. 15Edda Heburooni kyayitibwanga Kibuga kya Aruba. Aruba oyo ye yali asinga obukulu mu Baanaki.
Awo ensi n'ewummula entalo.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.