رفتن به محتوا

YOSWA 13

13
Ensi eyali tennawangulwa
1Yoswa yali akaddiye nnyo. Mukama n'amugamba nti: “Okaddiye nnyo, naye wakyaliwo ebitundu by'ensi bingi ebitannawangulwa, 2bye bino: ekitundu kyonna eky'Abafilistiya n'eky'Abagesuri: 3okuva ku Mugga Sihori, ku nsalo ne Misiri, okutuuka ku nsalo ne Sihori mu bukiikakkono, ekibalibwa okuba eky'Abakanaani era ekifugibwa abakungu abataano Abafilistiya, ababeera e Gaaza, ne Asudoodi ne Asukelooni, ne Gaati ne Ekurooni, n'ekitundu kyonna eky'Abavvimu, 4mu bukiikaddyo. Wakyaliwo n'ensi yonna ey'Abakanaani, ne Meyara eky'Abasidoni, okutuuka ku Afeki ku nsalo n'Abaamori; 5n'ensi y'Abagebali, ne Lebanooni yonna ebuvanjuba, okuva e Baalugaadi, wansi w'Olusozi Herumooni, okutuuka ku Muwaatwa gw'e Hamati. 6Abantu bonna ab'omu nsi ey'ensozi, okuva ku Lebanooni okutuuka ku Misurefaati Mayimu, n'Abasidoni bonna, nja kubagoba mu nsi eyo ng'Abayisirayeli balaba, naye ggwe ogiwe Abayisirayeli ebe yaabwe, nga bwe nakulagira.#Laba ne Kubal 33:54 7Kale kaakano ensi eno gigabanyizeemu ebika omwenda, n'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'ekika kya Manasse, ebe yaabyo.”
Okugabanyaamu ekitundu eky'ebuvanjuba bwa Yorudaani
8Ekika kya Rewubeeni n'ekya Gaadi, n'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse, byali bimaze okufuna ebitundu ebyabyo, Musa omuweereza wa Mukama bye yabawa ebuvanjuba bw'Omugga Yorudaani.#Laba ne Kubal 32:33; Ma 3:12 9Ekitundu kyabwe kyali kiva ku Aroweri ekiri ku mabbali g'Ekiwonvu ekya Arunoni, n'ekibuga ekiri mu makkati g'ekiwonvu ekyo, ne kizingiramu n'omuseetwe ogw'e Medeba, okutuuka ku nsalo ne Ammoni, 10ne kitwaliramu n'ebibuga byonna ebyali ebya Sihoni, kabaka w'Abaamori, eyafugiranga mu Hesubooni. 11Era kyazingirangamu ne Gileyaadi, n'ebitundu by'e Gesuri ne Maaka, n'olusozi lwonna Herumooni, ne Basani yonna, okutuuka ku Saleka. 12Kyalimu obwakabaka bwonna obwa Ogi eyasembayo mu Bareefa, eyafugiranga mu Asitarooti, ne mu Edereyi eby'omu Besani. Abo Musa yabawangula n'abasaanyaawo. 13Naye Abayisirayeli tebaagobamu Bagesuri, wadde Abamaakiti. Bakyabeera mu Yisirayeli n'okutuusa kati.
14Ekika kya Leevi kye kyokka Musa ky'ataawa ttaka libe eryakyo. Omugabo ogwabwe baali ba kugufunanga ku bitambiro ebyokebwa ku alutaari ya Mukama, Katonda wa Yisirayeli, nga Mukama bwe yagamba Musa.#Laba ne Ma 18:1
Ekitundu ekyaweebwa Rewubeeni
15Lino lye ttaka Musa lye yawa ab'ennyumba ez'omu Kika kya Rewubeeni libe eryabwe. 16Ekitundu kyabwe kyava ku Aroweri ekiri ku mabbali g'Ekiwonvu ekya Arunoni, n'ekibuga ekiri mu makkati g'ekiwonvu ekyo, ne kizingiramu n'omuseetwe ogw'e Medeba. 17Era kyatwaliramu Hesubooni, n'ebibuga byonna eby'omu museetwe: Diboni, Bamooti Baali, Beti Baalimooni, 18Yakazi, Kedemooti, Mefaati, 19Kiriyatayiimu, Sibuma, Zeretisakari, ku lusozi olw'omu kiwonvu, 20Betipeyori, obuserengeto bw'Olusozi Pisuga, era ne Beti Yesimooti. 21Kyalimu n'ebibuga byonna eby'omu museetwe, n'obwakabaka bwonna obwa Sihoni, kabaka w'Abaamori, eyafugiranga mu Hesubooni. Musa yamuwangula awamu n'abafuzi ba Midiyaani: Evi, ne Rekemu, ne Zuuri, ne Huuri, ne Reba, abaali abakungu ba Kabaka Sihoni mu nsi eyo. 22Mu abo Abayisirayeli be batta, mwe mwali n'omulaguzi Balamu, mutabani wa Bewori. 23Omugga Yorudaani ye yali ensalo y'Ekika kya Rewubeeni ebugwanjuba. Ebyo bye bibuga n'ebyalo ebibyetoolodde, ebyaweebwa ab'ennyumba z'Ekika kya Rewubeeni okuba ebyabwe.
Ekitundu ekyaweebwa Gaadi
24Lino lye ttaka Musa lye yawa ab'ennyumba ez'omu Kika kya Gaadi libe eryabwe. 25Ekitundu kyabwe kyatwaliramu Yazeri n'ebibuga byonna ebya Gileyaadi, n'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'ensi y'Abammoni, okutuuka ku Aroweri, ebugwanjuba bwa Rabba. 26Ekitundu kyabwe ne kiva ku Hesubooni okutuuka ku Lamati Mizupa ne Betonimu, n'okuva ku Mahanayimu okutuuka ku nsalo ne Lodebari.#13:26 Lodebari: Oba “Ledebiri” 27Mu Kiwonvu kya Yorudaani, Abagaadi baatwala Beti Aramu, ne Betunimura, ne Sukkoti ne Safoni, n'ekitundu ekisigaddewo eky'obwakabaka bwa Sihoni ow'e Hesubooni. Ensalo yaabwe mu bugwanjuba gwe Mugga Yorudaani, okwambukira ddala okutuuka ku lubalama lw'Ennyanja y'e Galilaaya. 28Ebyo bye bibuga n'ebyalo ebibyetoolodde, ebyaweebwa ab'ennyumba z'omu Kika kya Gaadi okuba ebyabwe.
29Lino lye ttaka Musa lye yawa ab'ennyumba ez'omu kimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse. 30Ekitundu kyabwe kyali kiva ku Mahanayimu ne kitwaliramu Basani yonna, eyali obwakabaka bwa Ogi kabaka wa Basani, n'ebyalo byonna enkaaga ebya Yayiri ebiri mu Basani. 31Kyazingiramu ekitundu ekimu ekyokubiri ekya Gileyaadi awamu ne Asitarooti ne Edereyi, ebibuga ebikulu eby'obwakabaka bwa Ogi mu Basani. Ebyo byonna byaweebwa ekimu ekyokubiri eky'ab'ennyumba z'abasibuka mu Makiri, omwana wa Manasse.
32Bw'atyo Musa bwe yagabanyaamu ekitundu ekiri ebuvanjuba bwa Yeriko ne Yorudaani, mu nsenyi za Mowaabu. 33Naye ab'Ekika kya Leevi, Musa teyabawa ttaka libe lyabwe. Yabagamba nti omugabo ogwabwe banaagufunanga ku biweebwayo eri Mukama, Katonda wa Yisirayeli.#Laba ne Kubal 18:20; Ma 18:2