رفتن به محتوا

YOSWA 12

12
Bakabaka Musa be yawangula
1Bano be bakabaka b'ensi, Abayisirayeli be baawangula ne beefuga ensi yaabwe emitala wa Yorudaani ku ludda olw'ebuvanjuba ne beefuga ensi yaabwe okuva ku Kiwonvu ekya Arunoni okwambuka n'Ekiwonvu ekya Yorudaani, okutuuka ku Lusozi Herumooni mu bukiikakkono: baawangula#Laba ne Kubal 21:21-35; Ma 2:26–3:11 2Sihoni, kabaka w'Abaamori, eyafugiranga mu Hesubooni. Obwakabaka bwe bwazingirangamu ekitundu ekimu ekyokubiri ekya Gileyaadi, okuva ku Aroweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu ekya Arunoni, n'ekibuga ekiri mu kiwonvu wakati, okutuuka ku Mugga Yabboki, ensalo y'Abammoni. 3Era bwatwalirangamu Ekiwonvu ekya Yorudaani, okuva ku Nnyanja y'e Galilaaya, mu bukiikaddyo, okutuuka e Betiyesimooti ebuvanjuba bw'Ennyanja y'Omunnyo n'okweyongerayo, okutuuka wansi w'Olusozi Pisuga.
4Era baawangula ne Ogi, kabaka w'e Basani, eyali omu ku Bareefa abaasembayo, eyafugiranga mu Asitarooti ne mu Edureyi. 5Obwakabaka bwe bwazingirangamu Olusozi Herumooni, ne Saleka, ne Basani yonna, okutuuka ku nsalo ya Gesuri ne Maaka, awamu n'ekitundu ekimu ekyokubiri ekya Gileyaadi, okutuuka ku nsalo y'obwakabaka bwa Sihoni ow'e Hesubooni.
6Musa n'Abayisirayeli baawangula bakabaka abo, ensi yaabwe Musa omuweereza wa Mukama n'agiwa Abarewubeeni, n'Abagaadi, n'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse, ebe yaabwe.#Laba ne Kubal 32:33; Ma 3:12
Bakabaka Yoswa be yawangula
7Yoswa n'Abayisirayeli baawangula bakabaka bonna mu kitundu eky'ebugwanjuba bwa Yorudaani, okuva e Baalugaadi mu Kiwonvu kya Lebanooni, okutuuka ku Lusozi Halaki, okwambuka e Seyiri. Yoswa n'awa Abayisirayeli ensi eno, ebe yaabwe, buli kika ng'akiwa ekitundu ekyakyo. 8Ekitundu ekyo kyazingirangamu ensi ey'ensozi n'ensi ey'ensenyi, n'Ekiwonvu kya Yorudaani, n'obusozi obw'ebuvanjuba, n'eddungu, n'ensi ey'omu bukiikaddyo. Ekitundu ekyo mwe mwabeeranga Abahiiti, Abaamori, Abakanaani, Abaperizi, Abahiivi n'Abayebusi. 9Abayisirayeli baawangula bakabaka b'ebibuga bino: Yeriko, Ayi ekiriraanye Beteli, 10Yerusaalemu, Heburooni, 11Yalamuti, Lakisi, 12Egulooni, Gezeri, 13Debiri, Gederi, 14Horuma, Aradi, 15Libuna, Adullamu, 16Makkeda, Beteli, 17Tappuwa, Eferi, 18Afeki, Lasarooni, 19Madoni, Hazori, 20Simurooni, Merooni, Akusafu, 21Taanaki, Megiddo, 22Kedesi, Yokuneyaamu ku Karumeeli, 23Doori ku lubalama, Goyiimu mu Gilugaali, ne 24Tiruza, bonna wamu bakabaka amakumi asatu mu omu.