رفتن به محتوا

YISAAYA 9

9
1Naye ekizikiza tekiribeerera eyo awali okubonyaabonyezebwa. Ensi ya Zebbulooni n'ensi ya Nafutaali edda zaali zinyoomebwa, naye gye bujja ekitundu ekyo kiriba kyakitiibwa, okuva ku Nnyanja Eyaawakati, okudda ebuvanjuba emitala wa Yorudaani, n'okutuuka e Galilaaya ey'ab'amawanga amalala.#Laba ne Mat 4:15
2Abantu abaabeeranga mu kizikiza,
balabye ekitangaala ekingi.
N'abaabeeranga mu nsi
ekutte kazigizigi ng'ow'emagombe,
ekitangaala kibaakidde.#Laba ne Mat 4:16; Luk 1:79
3Oyongedde ab'omu ggwanga okwala,
n'obongera okusanyuka.
Basanyukira mu maaso go
nga bwe basanyuka nga bakungula,
oba ng'abasajja bwe basanyuka
nga bagabana omunyago.
4Kubanga ekikoligo ekyali kibazitoowerera,
n'omuggo ogwabakubanga ku bibegabega,
n'oluga lw'abo ababatulugunya,
obimenyeemenye ng'edda bwe wamenyaamenya
eggye ly'Abamidiyaani.
5Ebigatto by'abaserikale
abasaatuuka okulumba,
era n'ebyambalo ebikulunguddwa mu musaayi,
birifuulibwa enku
ne byokebwa omuliro.
6Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe,
omwana ow'obulenzi atuweereddwa
anaabanga omufuzi waffe.
Aliyitibwa wa kitalo,
Muwi wa magezi
Katonda ow'obuyinza,
Kitaffe ow'olubeerera,
Omulangira ow'Emirembe.
7Okweyongera kw'obufuzi bwe
n'okw'emirembe gy'alireeta,
tekulibaako kkomo.
Alifuga nga ye musika wa Dawudi,
era ng'obuyinza bwe abwesigamya
ku mazima na bwenkanya,
okuva lw'alitandika okufuga
n'okutuusa emirembe n'emirembe.
Ekyo Mukama Nnannyinimagye
alikituukiriza.#Laba ne Luk 1:32-33
Mukama alibonereza Yisirayeli
8Mukama bye yalabulamu bazzukulu ba Yakobo, bituukiridde ku Ggwanga lya Yisirayeli. 9Abantu bonna ab'omu Yisirayeli n'abatuuze b'omu Samariya balimanya. Kati boogera n'okwekuza era n'obukakanyavu bw'omutima, nga bagamba nti: 10“Ebizimbe by'amatoffaali bigudde, naye tujja kuzimbisa mayinja amaase. Enkoma zitemeddwa, naye mu kifo kyazo, tunazzaawo ensambya.” 11Mukama kyaliva akunga abalabe ba Rezini, n'abakubiriza okulumba Yisirayeli. 12Abasiriya ebuvanjuba, n'Abafilistiya ebugwanjuba, balyasamya akamwa kaabwe okumira Yisirayeli. Ebyo nga bimaze okuba bwe bityo, Mukama era aliba akyabasunguwalidde. Aliba akyagolodde omukono gwe okubonereza.
13Naye Abayisirayeli tebeenenya newaakubadde nga Mukama Nnannyinimagye yababonereza, era tebaakyuka kudda gy'ali. 14Mukama kyaliva asala ku Yisirayeli omutwe n'omukira, amatabi n'ebikoola mu lunaku lumu. 15Abasajja abakadde era abeekitiibwa gwe mutwe, n'abalanzi abayigiriza eby'obulimba gwe mukira. 16Abo abakulembera abantu bano babakyamya, abo abakulemberwa ne babuzibwabuzibwa. 17N'olwekyo Mukama talireka na bavubuka baabwe kubaako buwonero, era talisaasira bannamwandu baabwe, wadde abaana abafiiriddwako bakitaabwe, kubanga abantu bonna bavvoola era bakola ebibi, era bonna boogera eby'obusiru. Ebyo nga bimaze okubaawo, era Mukama aliba akyabasunguwalidde, era ng'akyagolodde omukono gwe okubonereza.
18Ebyonoono by'abantu, byokya ng'omuliro ogusaanyaawo emyeramannyo n'amaggwa. Gukoleera ne gwokya ebibira, ebire eby'omukka ebikutte ne binyooka, ne birinnya waggulu. 19Olw'obusungu bwa Mukama Nnannyinimagye, ensi ekoledde omuliro, abantu ne baba ng'enku ze gwokya. Tewali n'omu asonyiwa muganda we. 20Buli wantu mu nsi eyo, abantu balinyaga buli kamere ke basanga ne bakalya, era ne batakkuta. Balituuka n'okulya abaana baabwe bennyini. 21Abamanasse n'Abeefurayimu balirumbagana, era balyegatta wamu ne balumba ab'omu Kika kya Yuda. Ebyo byonna nga bimaze okubaawo, era Mukama aliba akyabasunguwalidde, era ng'akyagolodde omukono gwe okubonereza.