YISAAYA 10
10
1Zibasanze mmwe abateeka amateeka agatali ga bwenkanya, ne muwandiika ebinyigiriza abantu, 2ne mulemesa abanaku okusalirwa amazima, era abaavu ababeera mu bantu bange ne mu banyagako ebyabwe, ebya bannamwandu n'ebya bamulekwa ne mu bifuula omunyago gwammwe. 3Mulikola mutya ku lunaku Mukama lw'aliweerako ekibonerezo? Mulikola mutya lw'alibatuusaako akabi akaliva mu nsi ey'ewala? Muliddukira w'ani okufuna obuyambi? Era mulikweka wa obugagga bwammwe? 4Temuliba na kirala kya kukola wabula okubeera awamu n'abasibe, oba okuttirwa mu lutalo ng'abalala. Ebyo byonna nga bimaze okubaawo, Mukama era aliba akyabasunguwalidde, era aliba akyagolodde omukono okubonereza.
Assiriya okukozesebwa Mukama
5“Ggwe Assiriya, oli luga lwe nkwata nga nsuguwadde. Omuggo oguli mu ngalo zo, gwe mbonerezesa be nninako ekiruyi.#Laba ne Yis 14:24-27; Nah 1:1–3:19; Zef 2:13-15 6Ndituma Assiriya okulumba eggwanga eritanzisaamu kitiibwa, alumbe abantu be nsunguwalidde. Ndimutuma okunyaga ebintu by'abantu abo, okubatulugunya, n'okubalinnyirira ng'ebitoomi eby'omu nguudo.”
7“Kyokka Assiriya tagenderera kukola Nze kye njagala, era ye takirowoozanako, wabula ekiri mu mutima gwe, kwe kuzikiriza n'okusaanyaawo amawanga amangi. 8Yeewaana nti: ‘Abakulu b'amagye gange bonna, bakabaka. 9Nawangula Ekibuga Kalino, nga bwe nawangula Karukemisi, n'Ekibuga Hamati, nga bwe nawangula Arupaadi. Nawangula ne Samariya nga bwe nawangula Damasiko, 10era nagolola omukono gwange ne nfufuggaza ensi za bakabaka ezisinza ebifaananyi ebibajje, ebisinga n'ebyo ebiri mu Yerusaalemu ne mu Samariya. 11Nga bwe nazikiriza Samariya n'ebifaananyi byamu bye basinza, era bwe ntyo bwe ndizikiriza Yerusaalemu n'ebifaananyi byamu bye basinza.’ ”
12Afugabyonna agamba nti: “Bwe ndimaliriza kye nkola ku Lusozi Siyooni ne ku Yerusaalemu, ne ndyoka mbonereza kabaka w'Assiriya olw'okwewaana n'okwekuza kwe. 13Kubanga agamba nti: ‘Ekyo nze nakikola. Ndi wa maanyi, ndi mugezi, era ndi mukalabakalaba. Naggyawo ensalo z'amawanga, ne nnyaga ebyobugagga byago, era ng'omusajja kirimaanyi, ne nninnyirira abatuuze baayo. 14Amawanga mu nsi yonna nasanga gali ng'ekisu ky'ekinyonyi, ne nkuŋŋaanya obugagga bwago ng'akuŋŋaanya amagi agalekeddwa awo, awatali kinyonyi kipapaza kiwaawaatiro, wadde ekyasamya kamwa okukaaba okukanga!’ 15Embazzi eyinza okwewaana nti ye esinga oyo agitemesa? Omusumeeno guyinza okwegulumiza ku muntu agusazisa? N'oluga si lwe luwuuba oyo alukwata, wadde omuggo okusitula omuntu.”
16N'olwekyo Mukama Afugabyonna Nnannyinimagye alisindika obulwadde obukozza mu basajja abagevvu aba kabaka w'Assiriya. Era mu kifo ky'ekitiibwa ky'abadde yeemanyi, Mukama alikoleezaawo omuliro ogulimwokya. 17Mukama oyo ekitangaala kya Yisirayeli, aliba omuliro. Katonda Omutuukirivu wa Yisirayeli aliba ennimi z'omuliro, ogulyokya ne gumalawo mu lunaku lumu abo abali ng'amaggwa n'emyeramannyo. 18Alizikiriza eggye eriri ng'ekibira n'ennimiro eŋŋimu, ebiweesa Assiriya ekitiibwa, n'asaanyaawo obulamu n'omubiri, ng'ekirwadde kattira bwe kizikiriza omuntu. 19Emiti egirisigalawo mu kibira ekyo ekya Assiriya, giriba gyamunaganwa, n'omwana omuto ng'ayinza okugibala.
Abatonotono abaliwonawo ku Bayisirayeli
20Ekiseera kirituuka, abo abaliba basigaddewo ku Bayisirayeli, abawonyeewo ku bazzukulu ba Yakobo, ng'obwesige bwabwe tebakyabuteeka mu ggwanga eryo eryabawangula, wabula nga mu mazima babuteeka mu Mukama, Omutuukirivu wa Yisirayeli. 21Abatonotono abaliwonawo ku bazzukulu ba Yakobo, balidda eri Katonda ow'amaanyi. 22Newaakubadde nga kaakano Abayisirayeli bangi ng'omusenyu ogw'oku lubalama lw'ennyanja, naye kitundu butundu ekiriwonawo ku bo kye kirikomawo. Katonda yakisalawo bazikirizibwe nga kibasaanidde.#Laba ne Bar 9:27 23Ddala Mukama Afugabyonna Nnannyinimagye ajja kuleeta okuzikirira mu ggwanga lyonna, nga bwe yategeka okukikola.
Mukama alibonereza Assiriya
24N'olwekyo Mukama Afugabyonna Nnannyinimagye agamba nti: “Mmwe abantu bange, ababeera mu Siyooni, temutya Bassiriya, newaakubadde nga babanyigiriza ne babatulugunya, ng'Abamisiri bwe baakolanga. 25Kubanga akaseera kasigadde katono nnyo, ndekere awo okubasunguwalira mmwe, olwo bo obusungu bwange bulyoke bubazikirize. 26Nze Mukama Nnannyinimagye ndibakuba bo ne mbabonereza, nga bwe nattira Abamidiyaani ku Lwazi lw'e Orebu. Ndibatta nga bwe nattira Abamisiri mu nnyanja. 27Ekiseera ekyo bwe kirituuka, ndibatikkula mmwe omugugu, Abassiriya gwe baabatikka ku kibegabega, n'ekikoligo kye baabambika mu bulago. Ekikoligo kirizikirizibwa olw'obugevvu bwammwe.”
Omulumbaganyi alumba
28Omulabe atuuse e Ayi, ayise mu Migironi, ebintu bye abiterese e Mikumasi. 29Bayisizza awavvuunukirwa, ne basula e Geba. Ab'omu Kibuga Raama bakankana olw'okutya, ab'omu Kibuga kya Kabaka Sawulo eky'e Gibeya badduse. 30Muleekaane mmwe ab'e Gallimu! Mutege amatu mmwe ab'e Layisa! Nga zibasanze mmwe ab'e Anatooti! 31Ab'e Madumenna badduse, n'ab'omu Gebimu banoonya gye banaddukira. 32Olwaleero omulabe anaasula Noobu. Yeewerera Olusozi Siyooni, aluubirira Ekibuga Yerusaalemu.
33Laba, Mukama Afugabyonna Nnannyinimagye alibawanulayo ng'ettabi eritemwa ku muti ne ligwa. Abawanvu abawagguufu, balitemebwa ne bagwa, n'abagulumivu balitoowazibwa. 34Mukama alibatema n'embazzi, ng'atema emiti mu kibira wakati, Lebanooni ne kisuulibwa ow'amaanyi.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.