YISAAYA 8
8
Mutabani wa Yisaaya ng'akabonero eri abantu
1Mukama n'aŋŋamba nti: “Kwata ekipande ekinene, okiwandiikeko mu ganyukuta aganene, nti: KUNYAGA MU BWANGU, KUTWALA MU BWANGU#8:1 Kunyaga mu bwangu, kutwala mu bwangu: Mu Lwebureeyi: “Lemaheri saalaal has baaz,”. 2Nze nja kuleeta Wuriya kabona, ne Zekariya mutabani wa Yeberekiya, babe abajulizi bange abeesigwa, okukikakasa.”
3Awo ne neegatta ne mukyala wange, n'aba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi. Mukama n'aŋŋamba nti: “Mutuume erinnya Kunyagamubwangukutwalamangu, 4kubanga omwana oyo aliba tannamanya kuyita nti ‘Taata’ oba nti ‘Maama’, obugagga bw'e Damasiko, n'ebyo byonna Samariya bye yanyaga, biriba bitwaliddwa kabaka wa Assiriya.”
5Mukama era n'ayogera nange omulundi omulala, n'aŋŋamba nti: 6“Abantu bano nga bwe bagaanye amazzi g'akagga Silowa agakulukuta empola, ne basanyukira Rezini ne Peka mutabani wa Remaaliya bajje babayambe, 7kale Nze Afugabyonna nja kuleeta ku bo amazzi amangi era ag'amaanyi ag'Omugga Ewufuraate, ye kabaka wa Assiriya n'ekitiibwa kye kyonna. Amazzi ago galijja ne gajjuza emikutu gya Buyudaaya gyonna, ne gaalaala ku mbalama zaayo zonna. 8Galyeyongera ne gakulukuta okutuuka mu Buyudaaya. Galyalaala ne gasituka ne gakoma mu bulago, ne gatuuka eyo n'eyo, ne gajjuza ensi yo yonna gy'ekoma obugazi, ggwe Emmanweli.”
9Mwekuŋŋaanye mmwe amawanga, naye mulimenyekamenyeka. Mutege amatu mmwe mwenna ab'omu nsi ez'ewala, mwetegeke okulwana, naye mulimenyekamenyeka. Mwetegeke okulwana, naye mulimenyekamenyeka. 10Mukolere wamu olukwe, naye lujja kugwa butaka; mukkaanye ku kye munaakola, naye tekijja kutuukirira, kubanga Mukama ali wamu naffe.
Mukama alabula Yisaaya
11Mukama yayogera nange n'obuyinza bwe obw'amaanyi, n'andabula nneme kugoberera mpisa za bantu bano. Yagamba nti: 12“Ekyo abantu bano kye bayita okwekobaana, ggwe tokiyita kwekobaana, era totya bye batya, era totekemuka.#Laba ne 1 Peet 3:14-15 13Mumanye nga Nze Mukama Nnannyinimagye, ndi mutuukirivu. Nze mubanga mutya, era munzisengamu ekitiibwa. 14Nze kifo ekitukuvu mwe muliwonera. Naye ab'omu bwakabaka bwombi: obwa Yisirayeli n'obwa Buyudaaya, era n'abatuuze b'omu Yerusaalemu nga bwe batakkirizza Nze kubalabirira, ndibafuukira ejjinja kwe beesittala, n'olwazi kwe beekoona ne bagwa, era ndibafuukira omutego n'ekyambika ebibakwasa.#Laba ne 1 Peet 2:8 15Ddala bangi abalinneesittalako ne bagwa, ne bamenyeka. Balitegebwa, ne bakwasibwa.”
Okulabula abeebuuza ku mizimu
16Mmwe abayigirizwa bange, mukuumire ddala bye mbategeezezza, era munyweze bye mbayigirizza. 17Nja kulindirira Mukama atuyambe, newaakubadde kaakano akyekwese ab'ennyumba ya Yakobo, kyokka era mu ye mwe nnassa essuubi lyange.#Laba ne Beb 2:13 18Tuutuno, nze n'abaana bange Mukama be yampa. Mukama Nnannyinimagye atuula ku ntebe ye ku Lusozi Siyooni, yatuteekawo tube obubonero n'ebyamagero mu Yisirayeli.#Laba ne Beb 2:13
19Kale bwe babagambanga nti: “Mwebuuze ku basamize n'abalaguzi, abakaaba ng'ebinyonyi era aboogera obwama,” temumanyi ng'abantu basaana kwebuuza ku Katonda waabwe? Ebifa ku bulamu ate byebuuzibwa ku bafu?
20Mubaddangamu nti: “Tunywerere ku Mateeka n'ebyokulabirako Katonda bye yatuwa.” Abo aboogera ne batajuliza ebyo nga bwe biri, mazima balifiira mu kizikiza nga tebunnakya. 21Era banaabungeeteranga mu nsi nga beeraliikirira nnyo, era nga balumwa enjala. Nga bali mu kulumwa enjala, banaanyiiganga ne bakolimira kabaka waabwe ne Katonda waabwe. Wadde balitunula waggulu, 22oba ne batunula wansi ku ttaka, naye tebalibaako kirala kye balaba wabula ennaku n'ekizikiza, kazigizigi ow'okubonyaabonyezebwa, era baligoberwa mu kizikiza ekikutte.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.