رفتن به محتوا

YISAAYA 7

7
Mukama aweereza Ahazi obubaka
1Awo olwatuuka, Ahazi mutabani wa Yotamu era muzzukulu wa Wuzziya, bwe yali nga ye afuga Buyudaaya, Rezini kabaka wa Siriya, ne Peka mutabani wa Remaaliya era kabaka wa Yisirayeli, ne balumba Yerusaalemu, naye ne kibalema okuwangula.#Laba ne 2 Bassek 16:5; 2 Byom 28:5-6 2Ab'ennyumba ya Dawudi bwe baawulira nga Siriya yeekobaanye n'Abeefurayimu, kabaka n'abantu be emitima ne gibeewuuba ng'emiti egy'omu kibira bwe ginyeenyezebwa embuyaga.
3Mukama n'agamba Yisaaya nti: “Genda ne mutabani wo Seyariyasubu#7:3 Seyariyasubu: Erinnya eryo mu Lwebureeyi “Shear-jashub” litegeeza “Abatono balikomawo.”, osisinkane Ahazi, mu kifo omukutu gw'ekidiba ky'amazzi eky'engulu we gukoma, mu luguudo olugenda ku kibanja ky'omwozi w'engoye. 4Omugambe nti: ‘Weekuume, kkakkana, totya, era toggwaamu maanyi. Obusungu obukambwe obwa Rezini n'Abassiriya, n'obwa Peka mutabani wa Remaaliya, buli ng'omukka ogw'emimuli ebiri egiggweeredde, ogunyooka. 5Siriya ne Yisirayeli ne kabaka waayo bakukoledde olukwe nga bagamba nti 6mugende mulumbe Buyudaaya mugitiise, mugyewangulire, muteekewo mutabani wa Tabeeli abe kabaka waayo.’
7“Naye Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti ekyo tekijja kubaawo, tekijja kutuukirira, 8kubanga Rezini afuga Siriya yokka n'ekibuga kyayo ekikulu Damasiko. Ate mu myaka nkaaga mu etaano, Yisirayeli eriba yeekutuddekutuddemu, nga terikyali ggwanga limu. 9Ekibuga ekikulu ekya Yisirayeli ye Samariya, ne kabaka wa Yisirayeli ye Peka mutabani wa Remaaliya.
“Bwe muligaana okukkiriza, mazima temulinywera.”
Akabonero ka Emmanweli
10Awo Mukama n'atumira Ahazi obubaka obulala ng'amugamba nti: 11“Saba Mukama Katonda wo akuwe akabonero, kave oba ewala ekuzimu, oba waggulu mu bbanga.”
12Ahazi n'addamu nti: “Sijja kusaba kabonero, era sijja kukema Mukama.”
13Yisaaya n'amuddamu nti: “Muwulire mmwe, ab'ennyumba ya Dawudi. Tekibamala okukooya abantu ababagumiikiriza mmwe, ne mwagala n'okukooya era ne Katonda wange? 14Kale Mukama ye ku bubwe alibawa akabonero: omuwala embeerera aliba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi, era n'amutuuma erinnya Emmanweli.#7:14 Emmanweli: Mu Lwebureeyi “Emmanuel” litegeeza nti: “Katonda ali naffe.”#Laba ne Mat 1:23 15W'alituukira okwawula ekirungi n'ekibi, amata n'omubisi gw'enjuki, ye eriba emmere y'abantu, 16era olwo ensi z'okyawamu bakabaka baamu bombi, ziriba zaabuliddwa. 17Ku ggwe, ne ku bantu bo, ne ku b'ennyumba ya kitaawo, Mukama alireeta ennaku ez'ebizibu ebisinga ku byali bizze, okuva obwakabaka bwa Yisirayeli bweyawula ku bwa Buyudaaya. Ajja kubaleetera kabaka wa Assiriya.
18“Ekiseera ekyo bwe kirituuka, Mukama alikoowoola Abamisiri okujja ng'ensowera, nga bava mu bifo eby'ewala, eby'oku mugga gw'e Misiri, n'Abasiriya okujja ng'enjuki, nga bava mu nsi yaabwe. 19Balijja ne beeyiwa bonna mu biwonvu ebyazika, ne mu mpuku ez'omu njazi, ne mu bisaka byonna eby'amaggwa, ne mu malundiro gonna.
20“Ekiseera ekyo bwe kirituuka, Mukama alimwesa akamwano k'aligula mu bifo eby'emitala w'Omugga Ewufuraate, ako ye Kabaka wa Assiriya, n'alyoka abamwako enviiri ku mutwe, n'ebirevu, n'obwoya obw'oku mibiri gyammwe.
21“Ekiseera ekyo bwe kirituuka, omuntu ne bw'aliba asigazizzaawo ente eyonsa ento, n'endiga bbiri, 22amata ge zirigabiza galimumala, n'agasundamu n'omuzigo. Ddala buli aliba asigadde mu nsi eyo, anaalyanga omuzigo, n'omubisi gw'enjuki.
23“Ekiseera ekyo bwe kirituuka, buli kifo awaabanga emizabbibu olukumi, buli gumu nga gwa sekeli lukumi, kirizika, nga kimezeemu emyeramannyo n'amaggwa. 24Abantu banaayiggiranga omwo n'emitego n'obusaale, kubanga ensi eyo yonna eriba ejjudde myeramannyo n'amaggwa. 25Obusozi bwonna okwalimwanga, buliba buzise emyeramannyo n'amaggwa, ng'omuntu tasobola kugendayo. Waliba wa kusindikayo nte na kulinnyirirwa ndiga.”