YISAAYA 6
6
Mukama ayita Yisaaya okuba omulanzi
1Mu mwaka Kabaka Wuzziya mwe yakisiza omukono, nalaba Mukama ng'atudde ku ntebe empanvu era engulumivu, ng'ekirenge ky'ekyambalo kye kijjuzizza Essinzizo.#Laba ne 2 Bassek 15:7; 2 Byom 26:23 2Waggulu w'entebe eyo, waali wayimiriddewo baserafi, buli omu ng'alina ebiwaawaatiro mukaaga, ebibiri nga bibisse ku maaso ge, ebibiri nga bibisse ku bigere bye, ebibiri nga bye yeeyambisa okubuuka. 3Baali bagambagana nti:
“Mutuukirivu, Mutuukirivu, Mutuukirivu
Mukama Nnannyinimagye.
Ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”#Laba ne Kub 4:8
4Eddoboozi lyabwe ekkangufu ne likankanya emisingi gy'emiryango gy'Essinzizo. Essinzizo ne lijjula omukka.#Laba ne Kub 15:8
5Ne ŋŋamba nti: “Zinsanze, nfudde nze, kubanga buli kigambo kye njogera, si kirongoofu, era ndi mu bantu aboogera ebitali birongoofu. Naye ate nzuuno ndabye Kabaka, Mukama Nnannyinimagye.”
6Awo omu ku baserafi, n'abuuka, n'ajja gye ndi, ng'alina eryanda eryaka, lye yali aggye ku alutaari, ng'alitoozaamu nnamagalo. 7N'alikoonya ku mimwa gyange, n'agamba nti: “Eryanda lino nga bwe likoonye ku mimwa gyo, obutali bulongoofu bwo buggyiddwawo, n'ekibi kyo kisonyiyiddwa.”
8Ne mpulira eddoboozi lya Afugabyonna ng'agamba nti: “Nnaatuma ani? Ani anaaba omubaka waffe?”
Nze ne ŋŋamba nti: “Nze, nzuuno, tuma nze.”
9N'aŋŋamba nti: “Genda ogambe abantu abo nti:
‘Weewaawo mujja kuwulira,
naye temujja kutegeera.
Weewaawo mujja kulaba,
naye temujja kwetegereza.’ ”#Laba ne Mat 13:14-15; Mak 4:12; Luk 8:10; Yow 12:40; Bik 28:26-27
10Era n'aŋŋamba nti:
“Gubya omutima gw'abantu abo,
oggale amatu gaabwe,
era ozibe amaaso gaabwe,
sikulwa nga balaba n'amaaso gaabwe,
nga bawulira n'amatu gaabwe,
era nga bategeera n'omutima gwabwe
ne bakyuka, ne bawonyezebwa.”
11Nze ne mbuuza nti: “Mukama wange, ekyo kirituusa ddi okuba bwe kityo?”
N'addamu nti: “Okutuusa ng'ebibuga bifuuse amatongo, nga tewali babibeeramu, n'amayumba nga tegakyalimu bantu, n'ensi ng'ezikidde ddala. 12Nze Mukama ndisengula abantu ne mbatwala wala, ebifulukwa ne biba bingi mu nsi eyo. 13Naye ekimu eky'ekkumi eky'abantu abo kiriba nga kikyasigaddewo. Newaakubadde nga kiryokebwa, era ne kyokebwa, naye kiriba ng'omunyinya oba omuvule ogutemebwa, ne gusigazaawo ekikolo, ekikolo ekyo ne kiba ensigo kwe gusibukira.”
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.