YISAAYA 65
65
Mukama abonereza abajeemu
1Mukama agamba nti:
“Nakkiriza okunoonyezebwa abo
abatambuulirizangako.
Nakkiriza okuzuulibwa abo
abatannoonyanga.
Eggwanga eritankoowoola
naligamba nti: ‘Nzuuno, ndi wano.’#Laba ne Bar 10:20
2Nagololera emikono gyange
olunaku lwonna
abantu abajeemu,
abagoberera empisa
ezitali nnungi.
Bo bye balowooza
bye bagenderako.#Laba ne Bar 10:21
3Bansunguwaza olutata
nga baweerayo ebitambiro
mu nnimiro,
era nga bootereza obubaane
ku matoffaali.
4Ekiro bagenda mu limbo
ne ku malaalo,
ne basula mu bifo ebikisiddwa.
Balya ennyama y'embizzi,
ne bawuutira mu bibya byabwe
omucuuzi gw'ennyama ey'omuzizo.
5Bagamba bannaabwe nti:
‘Muyimirire eri wala
temutusemberera.
Ffe tuli batukuvu okusinga mmwe
tetusaana kubeeriraanya!’
Abantu abali ng'abo
siyinza kubagumiikiriza.
Mbawanda lulusu
era mbasibira obusungu
obwokya ng'ettuntu!
6“Laba, nakisalawo dda
era ne kiwandiikibwa
nga bwe ndibabonereza.
Sigenda kubaleka,
wabula ndibaweera
nga bwe basaanira
7olw'ebibi byabwe,
wamu n'ebya bajjajjaabwe,
abaayoterezanga obubaane ku nsozi,
ne banzivoolera ku busozi.
N'olwekyo ndibabonereza
nga nsinziira ku bye baakola.
Nze Mukama, njogedde.”
8Mukama agamba nti:
“Nga mu mizabbibu
bwe balondamu emirungi
ne basogolamu omwenge,
nga bagamba nti:
‘Temugizikiriza egyo
kubanga girimu omugaso,’
bwe ntyo nange bwe ndikola
ku lw'abaweereza bange,
nneme kubazikiriza bonna.
9Mu bazzukulu ba Yakobo
ne mu ba Yuda ndyerobozaamu
abalifuna ensi eyo
omuli ensozi zange.
Abalondemu bange
era abaweereza bange
eriba yaabwe ku bwabwe,
era babeerenga omwo.
10Olw'abantu bange abansinza,
Olusenyi lw'e Saroni
lulifuuka ddundiro lya ndiga,
n'Ekiwonvu kya Akori
kirifuuka kifo, ente mwe zigalamira.#Laba ne Yos 7:24-26
11“Naye mmwe abanvaako, Nze Mukama,
abeerabira Olusozi lwange Olutukuvu,
ne mutegekera ebijjulo
Lubaale-Agaba-Emikisa,
ne mujjuliza Lubaale w'Ebigwawo
omwenge omutabule
gwe muteeka mu bikopo byammwe,
12ndibateekerawo ekitala
mwenna mukutame okuttibwa,
kubanga bwe nabayita,
temwayitaba;
bwe nayogera, temwafaayo kuwulira;
naye mwakola bye nabagaana,
mwalondawo ebitansanyusa.
13Kale Nze Mukama Afugabyonna
kyenva ŋŋamba nti
abo abansinza balirya, era balinywa,
naye mmwe mulirumwa enjala n'ennyonta.
Bo balisanyuka, naye mmwe muliswazibwa.
14Abo abakola bye njagala
baliyimba olw'essanyu,
naye mmwe mulikaaba olw'okunakuwala,
ne muwowoggana olw'obulumi.
15Abalondemu bange banaakozesanga
erinnya lyammwe nga bakolima.
Nze Mukama Afugabyonna ndibatta mmwe,
naye ne ntuuma erinnya eriggya
abo abakola bye njagala.
16N'olwekyo, eyeesabira omukisa mu nsi
anaagusabanga Nze,
Katonda ow'amazima.
N'oyo alayira, anaalayiranga Nze,
Katonda ow'amazima,
kubanga emitawaana egy'edda
giriggwaawo,
giryerabirwa, nga sikyagifaako.
Ebitonde ebiggya
17“Nzuuno ntonda eggulu eriggya
n'ensi empya.
Ebintu eby'edda tebirijjukirwa,
wadde okulowoozebwako.#Laba ne Yis 66:22; 2 Peet 3:13; Kub 21:1
18Naye musanyukire
era mujaguze ennaku zonna
mu ekyo kye ntonda;
kubanga Yerusaalemu kye ntonda,
kiriba kya kusanyukiramu,
era abantu baamu,
balijjula essanyu.
19Ndisanyukira Yerusaalemu,
ne njaguza olw'abantu bange.
Tewaliba kukaaba maziga,
wadde okutema emiranga olw'ennaku.#Laba ne Kub 21:4
20Abaana baliba tebakyafa nga bato.
Abantu bonna banaawangaalanga
emyaka gyabwe emijjuvu.
Abawangadde emyaka ekikumi
banaayitibwanga baana bato.
Okufa nga togiwezezza
kanaabanga kabonero ka kukolimirwa.
21Abantu balizimba ennyumba
ne bazibeeramu.
Balisimba ennimiro z'emizabbibu,
ne balya ebibala byamu.
22Amayumba ge balizimba,
tegalisulwamu balala,
ne bye balisimba
tebiririibwa balala.
Ng'emiti bwe giwangaala
emyaka emingi,
n'abantu bange bwe baliwangaala.
Abalondemu bange balirwawo
nga balya ku bibala
ebiva mu ntuuyo zaabwe.
23Emirimu gye balikola,
tegiribafa bwereere,
n'abaana be balizaala,
tebaliba ba kulaba nnaku,
kubanga baliba zzadde ly'abo,
Nze Mukama, be mpadde omukisa,
bo bennyini, wamu n'ezzadde lyabwe.
24Ekiseera ekyo bwe kirituuka,
nnaabayitabanga
nga tebannaba na kumpita;
nnaabaanukulanga
nga tebannaba na kumbuuza.
Banaabanga bakyayogera,
nga Nze nabawulidde dda.
25Omusege n'endiga ento
binaaliiranga wamu,
n'empologoma eneeryanga muddo ng'ente;
n'enfuufu, ye eneebanga
emmere y'omusota.
Ku Lusozi lwange lwonna Olutukuvu,
tekuubenga kya kabi
wadde ekizikiriza.”
Mukama bw'atyo bw'agamba.#Laba ne Yis 11:6-9
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.