رفتن به محتوا

YISAAYA 66

66
Mukama ye alisalira bonna omusango
1Mukama agamba nti:
“Eggulu ye ntebe yange ey'obwakabaka,
n'ensi ke katebe
kwe nteeka ebigere byange.
Kale nnyumba ya ngeri ki
gye mulinzimbira?
Era kifo kya ngeri ki
mwe ndiwummulira?#Laba ne Mat 5:34-35; 23:22#Laba ne Bik 7:49-50
2Ebintu byonna okubaawo
nga bwe biriwo,
byonna Nze nabitonda.
Naye omuntu gwe nzisaako omwoyo
ye mwetoowaze era aboneredde,
anzisaamu ekitiibwa
era akola nga bwe ndagira.”
Mukama bw'atyo bw'agamba.
3“Abantu bye baagala,
bye beekolera.
Tebalina bye baggyamu njawulo!
Oli bw'atambira ente,
aba kimu n'oyo atambidde omuntu.
Oyo awaayo ekitambiro
eky'endiga ento,
tabaako njawulo n'oyo amenya
obulago bw'embwa.
Oyo aleeta ekiweebwayo
eky'emmere ey'empeke,
aba kimu n'oyo aleeta
omusaayi gw'embizzi.
Oyo anyookeza obubaane,
abeera kimu n'oyo
asaba ekifaananyi kya lubaale omukisa.
Kye baagala kye beekolera,
era basanyukira ebyenyinyalwa
bye bakola.
4Kale nange ndibatuusaako
ebyo byennyini ebibakosa
era bye batya,
kubanga bwe nakoowoola,
tewaali n'omu yayitaba.
Bwe nayogera, tewaali yafaayo kuwulira,
naye ne bakola bye mbagaana,
ne balondawo ebitansanyusa.”
5Muwulire Mukama ky'agamba
mmwe abassaayo omwoyo
okukola by'alagira:
“Bannammwe ababakyawa
era ababagobaganya mmwe
olw'okuba abeesigwa gye ndi,
babakudaalira nga bagamba nti:
‘Mukama abataase mmwe,
alage bw'ali omukulu,
tulyoke tulabe bwe musanyuka.’
Naye bo bennyini be baliswala.
6Muwulire okuyoogaana
okuva eri mu kibuga,
eddoboozi eriva mu Ssinzizo,
eddoboozi lya Mukama
ng'abonereza abamukyawa.
7“Ekibuga kyange Siyooni
kiri ng'omukazi azaala
nga tannaba kulumwa kuzaala.
Ebisa biba tebinnamuluma,
n'akubawo omwana ow'obulenzi.#Laba ne Kub 12:5
8Ani yali akiwuliddeko ekyo?
Ani yali alabye ekiri ng'ekyo?
Eggwanga litandikawo
mu lunaku lumu,
ne lizaalibwa omulundi gumu?
Ye Siyooni yali kyajje alumwe,
n'azaala abaana be.
9Ndituusa abantu bange
mu kaseera ak'okuzaalibwa,
ne sibaleka kuzaalibwa
ne mbalekayo mu nda?”
Mukama Katonda wammwe
bw'atyo bw'agamba.
10Musanyukire wamu ne Yerusaalemu,
musagambize ku lulwe,
mmwe mwenna abamwagala.
Mwetabe wamu mu ssanyu lye
mmwe mwenna abamulumirwa,
11mulyoke muyonke mukkute
amabeere ge agajjudde;
mulyoke muwulire essanyu
mu kitiibwa kye ekisukkirivu.
12Kubanga Mukama agamba nti:
“Ndijjuza ebirungi mu Yerusaalemu
bikulukute ng'omugga,
n'obugagga bw'amawanga
buliyiika mu kyo
ng'omugga ogwanjaala.
Olwo nammwe muliyisibwa
ng'omwana omuwere
ayonsebwa nnyina: muliwambaatirwa,
ne mubuusibwabuusibwa ku maviivi ge.
13Ndibabudaabudira mmwe mu Yerusaalemu,
nga nnyina w'omwana
bw'abudaabuda omwana we.
14Ekyo mulikiraba ne musanyuka,
ne kibazzaamu amaanyi n'obulamu.
Olwo mulimanya nga Nze Mukama,
nnyamba abo abampulira,
era nsunguwalira abalabe bange.”
15Kale mulabe:
Mukama alijja n'omuliro,
nga yeebagadde amagaali
agali nga kibuyaga
ng'ajja okulaga obusungu bwe
obuliko n'ekiruyi,
n'okubonereza ng'akozesa
ennimi ez'omuliro.
16Kubanga Mukama abantu bonna
alibabonereza na muliro era na kitala,
era b'alitta, baliba bangi.
17Mukama agamba nti:
“Abo abeetukuza ne beerongoosa,
okugenda ku mikolo mu nnimiro
nga basimbye ennyiriri,
ne balya ennyama y'embizzi,
n'emmese, n'ebirala ebyenyinyalwa,
balisaanyizibwawo wamu.
18Nze bye bakola mbimanyi
ne bye balowooza.
Ekiseera kijja kutuuka
lwe ndikuŋŋaanya ab'amawanga gonna
n'aboogera ennimi eza buli ngeri.
Kale bwe balijja,
baliraba ekitiibwa kyange,
19ne mbaako kye ndibakolako.
Abo abaliwonawo ku bo,
ndibatuma mu mawanga,
ne mu bizinga ebiri ewala
gye batawuliranga ttutumu lyange,
wadde okulaba ekitiibwa kyange.
Baligenda e Tarusiisi,
e Puuli n'e Luudi
eri abaleega emitego gy'obusaale;
e Tubali n'e Yavani,
ne balangirira ekitiibwa kyange
mu mawanga ago.
20Balireeta baganda bammwe bonna
nga babaggya mu mawanga gonna,
okubantonera Nze Mukama,
ku Lusozi lwayo Olutukuvu Yerusaalemu.
Balibaleetera ku mbalaasi, ne mu magaali,
ne ku nnyinyo, ne ku nnyumbu,
ne ku nsolo ezidduka embiro,
ng'Abayisirayeli bwe baleeta
ebiweebwayo mu Ssinzizo,
nga biri mu bintu ebirongoofu.
21Abamu ku bo ndibafuula
bakabona n'Abaleevi.”
Mukama bw'atyo bw'agamba.
22“Ng'eggulu eppya n'ensi empya
bye ndikola,
bwe birisigalawo mu maaso gange,
bwe lityo n'ezzadde lyammwe
era n'erinnya lyammwe
bwe lirisigalawo.#Laba ne Yis 65:17; 2 Peet 3:13; Kub 21:1
23Buli omwezi lwe guboneka,
ne ku buli Sabbaato,
abantu bonna banajjanga
okusinza mu maaso gange.”
Mukama bw'atyo bw'agamba.
24“Bwe banaabanga bavaayo,
banaalabanga emirambo
egy'abantu abanjeemera.
Envunyu ezibalya tezirifa,
n'omuliro ogubookya tegulizikizibwa,
era baliba kyenyinyalwa
eri abantu bonna.”#Laba ne Mak 9:48