YISAAYA 64
64
1Ha! Singa nno oyasizza eggulu n'okka,
ensozi zandikankanye mu maaso go,
2ng'omuliro bwe gukwata ebisaka,
era nga bwe gweseza amazzi.
Jjangu olage abalabe bo
obuyinza bwo,
amawanga gakankane
mu maaso go.
3Bwe wakola eby'entiisa
bye twali tutasuubira,
wakka, ensozi ne zikankana
mu maaso go.
4Okuva edda n'edda,
abantu tebawulirangayo
era tebalabangayo
wadde okutegeerayo
Katonda omulala, wabula Ggwe
akolera ebyamagero abo
abasuubira mu Ggwe.#Laba ne 1 Kor 2:9
5Osanyukira abo
abasanyuka okukola by'oyagala,
abo abajjukira bw'oyagala bayisenga.
Ffe watusunguwalira,
naye ne twongera bwongezi
okukola ebibi.
Twasigala mu ebyo okuva edda.
Kale ebyo tulibiwona?
6Ffenna tufuuse abatali balongoofu,
n'ebikolwa byaffe byonna ebirungi,
biri ng'ekyambalo ekikongedde ekko.
Ffenna tuli ng'ebikoola ebiwotose,
olw'ebibi byaffe,
era tutwalibwa embuyaga.
7Tewali ajja gy'oli okukwegayirira,
tewali yeeyuna gy'oli omuyambe.
Otwekwese, era otumazeewo
olw'ebibi byaffe.
8Naye ayi Mukama, Ggwe Kitaffe. Ffe tuli bbumba, Ggwe mubumbi waffe, era ffe ffenna Ggwe watutonda. 9Kale totusunguwalira kiyitiridde, ayi Mukama, wadde okutuvunaana ebibi byaffe ennaku zonna. Ffenna nga bw'otulaba, tuli bantu bo. 10Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse ddungu: Siyooni ddungu, Yerusaalemu matongo! 11Essinzizo lyo ettukuvu eddungi bajjajjaffe mwe baakutendererezanga, lyokeddwa omuliro, n'ebifo byaffe byonna ebisanyusa, bifaafaaganye. 12Ayi Mukama, tolina ky'ofaayo ebyo byonna nga bimaze okubaawo? Onoosirika busirisi, n'otuleka tuboneebone nnyo nnyini?
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.