رفتن به محتوا

YISAAYA 63

63
Mukama okwagala amawanga
1“Ani ono ava mu Kibuga Bozira
eky'omu nsi Edomu?
Ani ono ayambadde ebyambalo
ebinnyike mu ddagala,
ali mu ngoye ezeekitiibwa
ng'atambuza maanyi ge amangi?”#Laba ne Yis 34:5-17; Yer 49:7-22; Ezek 25:12-14; 35:1-15; Am 1:11-12; Ob 1-14; Mal 1:2-5
“Ye Nze Mukama
alina obuyinza okununula,
era azze okulangirira
obuwanguzi bwange.”
2“Lwaki engoye zo zimyuse
ng'ez'oyo asamba emizabbibu
mu ssogolero?”
3Mukama n'addamu nti:
“Nsambye amawanga
ng'asamba essogolero
obwomu nzekka,
nga mu bantu tewali annyamba.
Ddala nagasamba ne ngalinnyirira
mu busungu bwange n'ekiruyi,
omusaayi gwago ne gummansukira,
engoye zange zonna ne zijjula amabala.#Laba ne Kub 14:20; 19:13,15
4Nasalawo nti ekiseera
eky'okununula abantu bange
n'okubonereza abalabe baabwe, kituuse.
5Bwe namagamaga, neewuunya
okulaba nga tewali annyamba.
Naye obusungu bwange
ne bumpa amaanyi,
ekiruyi kyange
ne kinsobozesa okuwangula.#Laba ne Yis 59:16
6Ne nninnyirira amawanga
mu busungu bwange,
ne ngabetenta mu kiruyi kyange,
ne njiwa ku ttaka omusaayi
ogubawa obulamu.”
Mukama akwatirwa Yisirayeli ekisa
7Ka nnombojje eby'ekisa
Mukama by'akoze.
Ka ntendereze Mukama
olw'ebyo byonna by'atukoledde,
era olw'ekisa ekingi ky'alaze
ab'ennyumba ya Yisirayeli
ne by'abakoledde,
olw'okusaasira kwe
n'olw'ekisa kye ekijjudde
okwagala okungi.
8Mukama yagamba nti: “Mazima bano be bantu bange, abatalifuuka bakuusa.” Kale n'aba Omulokozi waabwe. 9Yabalumirwa mu kubonaabona kwabwe kwonna, Ye yennyini, sso si malayika we, n'abawonya. Mu kwagala kwe ne mu kusaasira kwe, yabanunula, n'abalabiriranga, n'abakwatirangako mu nnaku zaabwe zonna okuva edda. 10Kyokka bo ne bajeema, ne banakuwaza Mwoyo we Omutuukirivu, kyeyava akyuka n'afuuka omulabe waabwe, ye yennyini n'abalwanyisa. 11Awo abantu be ne bajjukira ebyaliwo edda, mu biseera bya Musa, ne bagamba nti: “Mukama ali ludda wa eyabasomosa ennyanja, wamu n'abakulembeze b'abantu be? Ali ludda wa oyo eyateeka Mwoyo we Omutuukirivu wakati mu bo? 12Mukama ali ludda wa eyakozesa obuyinza bwe, n'akola eby'amaanyi ng'ayita mu Musa, n'ayawulamu amazzi g'ennyanja nga balaba, okwekolera erinnya eritalyerabirwa?”#Laba ne Kuv 14:21 13Yabayisa mu nnyanja wakati nga tebeesittala, ng'embalaasi bw'eyita mu ddungu. 14Ng'ente ezitwaliddwa mu kiwonvu ekigimu, ne Mwoyo wa Mukama bwe yawa bw'atyo abantu be okuwummula. Yabakulembera okuweesa erinnya lye ekitiibwa.
Okwegayirira Katonda okusaasira Abayisirayeli
15Ayi Mukama, tutunuulire ng'osinziira mu ggulu, olabe ng'osinziira eyo gy'oli mu butuukirivu bwo ne mu kitiibwa kyo. Obunyiikivu bwo mu kutuyamba buli ludda wa? N'ebikolwa byo eby'amaanyi biri ludda wa? Otuggyeeko okwagala kwo n'okusaasira kwo? 16Ddala Ggwe Kitaffe. Aburahamu jjajjaffe ne bw'aba nga tatumanyi, ne Yisirayeli ng'atwegaana, Ggwe, ayi Mukama, Ggwe Kitaffe, Omununuzi waffe, okuva ddi na ddi. 17Ayi Mukama, lwaki otuleka okuwaba ne tuva mu kkubo ly'otulaga? Lwaki okakanyaza emitima gyaffe ne tukuvaako? Ddayo ku nkola yo ey'edda ku lw'abaweereza bo, abantu ababo ku bubwo, ab'omu bika bya Yisirayeli. 18Ffe ab'eggwanga lyo ettukuvu, ekifo kyo ekitukuvu twakirina kaseera buseera, abalabe baffe ne bakirinnyirira. 19Tufuuse ng'abo b'otobeerangako mufuzi waabwe, ng'abatabeerangako bantu bo.