YISAAYA 62
62
Okugumya Yerusaalemu
1Ku lwa Siyooni sijja kusirika,
ku lwa Yerusaalemu siiwummule
okutuusa nga kinunuddwa,
n'obuwanguzi bwakyo
ne bwaka ng'omumuli.
2Yerusaalemu, amawanga galiraba
bw'onunuddwa,
bakabaka bonna baliraba ekitiibwa kyo.
Olituumibwa erinnya eriggya,
Mukama yennyini ly'alikutuuma.
3Oliba ng'engule ennungi ey'obwakabaka
Mukama Katonda wo
gy'akutte mu ngalo ze.
4Toliddamu gwakubiri
kuyitibwa “Alekeddwawo,”
n'ensi yo teriddamu
kuyitibwa “Eyazika,”
naye oliyitibwa
“Katonda gw'asanyukira,”
n'ensi yo eriyitibwa
“Eyafumbirwa,”
kubanga Mukama akusanyukira
n'ensi yo gw'erifumbirwa.
5Ng'omuvubuka bw'awasa
omuwala embeerera,
ne batabani bo bwe baliwasa;
era ng'omusajja awasa
bw'asanyukira omugole,
bw'atyo ne Katonda wo
bw'alikusanyukira.
6Ntadde abakuumi ku bisenge byo,
ggwe Yerusaalemu.
Tebaasirikenga n'akatono
emisana n'ekiro.
Mmwe abajjukiza Mukama
okutuukiriza bye yasuubiza,
temuwummulanga.
7Temumuganyanga kuwummula
okutuusa lw'alizza Yerusaalemu obuggya,
n'akifuula eky'ettendo mu nsi yonna.
8Mukama alayidde omukono gwe ogwa ddyo,
alayidde obuyinza bwe nti:
“Mazima siriddayo
kuwaayo ŋŋaano yo
kuliibwa balabe bo,
n'abagwira tebalinywa mwenge gwo
gwe wateganira bw'otyo.
9Naye abo abaagikungula, be baligirya,
ne batendereza Mukama;
n'abo abaanoga emizabbibu,
be balinywa omwenge gwagyo
mu mpya z'Ekifo kyange Ekitukuvu.”
10Mmwe abantu b'omu Yerusaalemu
mufulume, mufulume emiryango gy'ekibuga,
mulongooseze abantu ekkubo;
mulime, mulime bulungi oluguudo,
mulumalemu ebiyinjayinja,
muwanikire amawanga akabonero gamanye
11nga Mukama alangirira mu nsi yonna nti:
“Mugambe ab'omu Siyooni
nti Omununuzi wo ajja
ng'ali n'empeera n'omusaala by'aligaba.”#Laba ne Yis 40:10; Kub 22:12
12Muliyitibwa “Bantu batukuvu.”
“Banunule ba Mukama”.
Naawe Yerusaalemu oliyitibwa
“Kibuga Katonda ky'ayagala,”
“Kibuga Ekitaayabulirwa.”
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.