YISAAYA 61
61
Amawulire Amalungi ag'okununulibwa
1Mukama Afugabyonna
anzijuzizza Mwoyo we
kubanga Mukama annonze,
n'antuma okubuulira abaavu
amawulire amalungi.
Antumye okujjanjaba
abakoseddwa mu mutima,
okubuulira abawambiddwa,
nti bajja kuteebwa,
n'abasibiddwa nti bajja
kusumululirwa ddala.#Laba ne Mat 11:5; Luk 7:22#Laba ne Luk 4:18-19
2Antumye okulangirira
nti ekiseera kituuse
Mukama akwatirwe abantu be ekisa,
era awangule abalabe baabwe.
Antumye okubudaabuda bonna
abanakuwadde.#Laba ne Mat 5:4
3Abo abanakuwadde mu Siyooni,
antumye okubateerawo n'okubawa
engule mu kifo ky'evvu lye beeyiiridde,
n'okusanyuka mu kifo ky'okunakuwala,
n'oluyimba olw'okutendereza
mu kifo ky'okukungubaga,
balyoke babe ng'emiti
Mukama yennyini gye yasimba,
bakolenga ebituufu,
Mukama alyoke aweebwe ekitiibwa.
4Balizimba buggya ebibuga eby'edda
ebyayonooneka,
balizzaawo ebyali bifuuse amatongo.
Baliddaabiriza ebibuga ebyayonoonebwa
ne bimala emyaka n'emyaka
nga birekeddwa awo ttayo.
5Abagwira be banaaweerezanga mmwe
abantu bange,
be banaalundanga amagana gammwe.
Be banaabalimiranga,
era be banaalabiriranga
emizabbibu gyammwe.
6Naye mmwe munaayitibwanga
bakabona ba Mukama.
Abantu banaabayitanga
baweereza ba Katonda waffe.
Mmwe munaakozesanga
ebyobugagga bw'amawanga,
mubyeyagalirengamu.
7Ebyammwe bikomye
eby'okukwatibwa ensonyi n'okuswazibwa.
Munaaberanga mu nsi yammwe,
obugagga bwammwe
ne bweyongerako emirundi ebiri,
essanyu lyammwe
ne liba lya lubeerera.
8Mukama agamba nti:
“Nze njagala bwenkanya,
ne nkyawa okunyaga
n'okukola ebibi.
Ndiwa abantu bange
empeera yaabwe mu bwenkanya,
era ndikola nabo
endagaano ey'olubeerera.
9Baliba battutumu mu mawanga.
Buli muntu abalaba alimanya
nga be bantu, Nze Mukama,
be mpadde omukisa.”
10Ekibuga Yerusaalemu kigamba nti:
“Nnaasanyuka nnyo olwa Mukama
ne njaganya olwa Katonda wange,
kubanga annyambazizza
ekyambalo eky'obulokozi,
ambisseeko omunagiro
ogw'obutuukirivu.
Neetikkidde engule
ng'oyo awasizza omugole,
era ndi ng'omugole anyumidde
mu byambalo bye eby'obugole.”#Laba ne Kub 21:2
11Ng'ettaka bwe limeza ebimera,
era ng'ennimiro bw'ekuza
ebigisigiddwamu,
bw'atyo ne Mukama Afugabyonna
bw'alinunula abantu be,
ne bafuna ekitiibwa
mu maaso g'amawanga gonna.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.