رفتن به محتوا

YISAAYA 60

60
Okuzzaawo ekitiibwa kya Yerusaalemu
1Ggwe Yerusaalemu, situka
oyakaayakane ng'enjuba;
kubanga ekitangaala kyo kituuse
n'ekitiibwa kya Mukama
kyakaayakanira ku ggwe.
2Manya ng'ekizikiza
kiribikka ku nsi,
ekizikiza ekikutte
kiribikka ab'amawanga;
naye Mukama alivaayo
ng'enjuba mu ggwe,
n'ekitiibwa kye
kirirabikira mu ggwe.
3Amawanga galijja
eri ekitangaala kyo,
ne bakabaka balisikirizibwa
okwakaayakana kwo.
4Yimusa amaaso go
otunule eno n'eri olabe:
bonna beekuŋŋaanyizza wamu
bajje gy'oli.
Batabani bo baliva ewala ne bajja,
ne bawala bo balisitulibwa
ng'abaana abato.
5Oliraba ekyo n'ojjula essanyu,
olibuguumirira olw'okusanyuka,
kubanga obugagga bw'amawanga
bulireetebwa gy'oli,
era bulikutuukako
nga buyita ku nnyanja.
6Amagana g'eŋŋamiya galikujjulamu
nga gava e Midiyaani n'e Efa,
era galiva n'e Seeba
nga galeeta zaabu n'obubaane.
Abantu balirangirira
amatendo ga Mukama.
7Endiga zonna ez'e Kedari
n'endiga ennume ez'e Nebayooti
zirikuleeterwa, n'ozikozesa ky'oyagala.
Zinaaleetebwanga ku alutaari yange
ne nzikkiriza.
Era Essinzizo lyange
ndyongera okulifuula eryekitiibwa.
8Ebyo biki ebiseeyeeya ng'ebire
era ng'enjiibwa ezikomawo
mu bisu byazo?
9Ebyo bye byombo ebiva
mu nsi ez'ewala,
ebikulembeddwa ebyombo by'e Tarusiisi,
nga bireeta abantu bo
okuva eyo ewala.
Baleese ffeeza waabwe
ne zaabu waabwe,
okussaamu ekitiibwa
Mukama Katonda
Omutuukirivu wa Yisirayeli,
assisaamu abantu be ekitiibwa.
10Mukama agamba Yerusaalemu nti:
“Ab'amawanga amalala
balizimba ebigo byo
ne bakabaka baabwe
balikuweereza.
Nakubonereza nga nkwatiddwa obusungu,
naye kaakano nkuddiddemu
nga nkwatiddwa ekisa.
11Era enzigi zo zinaabanga nzigule bulijjo:
emisana n'ekiro teziggalwengawo,
abantu bakuleeterenga
obugagga bw'amawanga gaabwe,
nga bakabaka baabwe
be bakulembeddemu ennyiriri.#Laba ne Kub 21:25-26
12Kubanga eggwanga n'obwakabaka
ebirigaana okukuweereza,
biriggyibwawo.
Weewaawo amawanga ago
galizikiririzibwa ddala.
13“Emiti n'embaawo ebiva mu Lebanooni
ebisingayo obulungi,
birireetebwa okuzimba obuggya
n'okuwoomya Essinzizo lyange,
n'ekibuga kyange
okukifuula ekyekitiibwa.
14Era abaana b'abo abaakujoonyesanga
balijja ne bakuvuunamira,
n'abo bonna abaakujooganga
balifukamira awo ku bigere byo
ne bakuyita ‘Ekibuga kya Mukama,
Siyooni eky'Omutuukirivu wa Yisirayeli.’#Laba ne Kub 3:9
15“Newaakubadde walekebwawo n'okyayibwa
nga tewali muntu akuyitamu,
ndikufuula waakitiibwa era omulungi,
ekifo eky'essanyu emirembe n'emirembe.
16Amawanga ne bakabaka balikulabirira
nga nnyina w'omwana bw'amulabirira.
Olimanya nga Nze Mukama,
Omulokozi wo era Omununuzi wo,
Ow'amaanyi owa Yakobo.
17“Ndireeta zaabu mu kifo ky'ekikomo,
ne ffeeza mu kifo ky'ekyuma.
Mu kifo ky'omuti ndireeta kikomo,
ne mu kifo ky'amayinja, ndireeta kyuma.
Abakufuga tebaakutulugunyenga,
ndibafuula benkanya era ba mirembe.
18Amaloboozi ag'obukambwe
tegaliddamu kuwulirwa mu nsi yo,
era ensi yo teriddamu kuzika
wadde okuzikirizibwa.
Ebisenge byo olibiyita ‘Buwanguzi,’
n'emiryango gyo ‘Kutendereza.’
19“Toomulisibwenga njuba emisana,
wadde ekitangaala ky'omwezi ekiro.
Nze Mukama, Nze nnaabanga ekitangaala kyo,
ekitangaala ky'ekitiibwa kyange
kye kinaakwakangako.#Laba ne Kub 21:23; 22:5
20Ennaku ez'okukungubaga kwo
ziriba ziweddewo.
Nze Mukama, Nze ndifuuka enjuba yo etegwa,
n'omwezi gwo ogutavaawo
nga nkuwa ekitangaala
ekitaliggwaawo.
21Abantu bo bonna
banaakolanga ebituufu
n'ensi eyo eriba yaabwe
emirembe gyonna.
Baliba ttabi lye nasimba
era omulimu Nze Nzennyini
gwe nakola,
ndyoke mpeebwenga ekitiibwa.
22N'amaka go agasingayo obutono
era agataliiko bwe gali,
galifuuka ggwanga ery'amaanyi.
Nze Mukama ekyo ndikyanguya okubaawo
ng'ekiseera kyakyo kituuse.”