رفتن به محتوا

YISAAYA 59

59
Omulanzi avumirira ebibi by'abantu be
1Muleme kulowooza nga Mukama
ye munafu alemeddwa
okubanunula,
oba nti Mukama kiggala
nga tayinza kubawulira.
2Naye ebibi byammwe bye bibaawula
ku Katonda wammwe,
n'abeekweka, n'atayagala kubawulira.
3Mwogera eby'obulimba,
n'ebikolwa byammwe bijjudde
obukambwe n'obutemu.
4Tewali awaaba oba awoza
bituufu era eby'amazima,
naye mwesigama ku bikyamu
era mwogera bya bulimba.
Mutegeka bya ttima,
ne bivaamu akabi.
5Enkwe ze mukola ziba za kabi
ng'amagi g'omusota ogw'obusagwa.
Eggi ly'oyasa livaamu musota,
era alya ku ggi ng'eryo afa bufi.
Ebikolwa byammwe
biri nga kuluka ngoye
mu lutimbe lwa nnabbubi.
6Naye enkwe ezo teziribaviiramu kalungi.
Ziriba ng'olugoye olukoleddwa
mu wuzi za nnabbubi,
teluliiko kye lugasa.
7Mwanguwa okukola ebibi,
era temulwawo okubituukiriza.
Temusibaamu okutemula
abataliiko musango.
Buli we muyita
muleka muzisizzaawo,
era nga muzikirizzaawo.
Bulijjo mulowooza kukola bibi.#Laba ne Bar 3:15-17
8Temumanyi kiyitibwa mirembe,
era bye mukola tebibaamu mazima.
Mwekubidde amakubo amakyamu,
era buli agayitamu taba mirembe.
Abantu baatula ekibi kyabwe
9Abantu ne bagamba nti:
“Ekyo kye kitugaana okuba
n'amazima era n'obwenkanya.
Tulinda ekitangaala
ne tufuna kizikiza
era ne tutambulira mu kifu.
10Tuwammanta ku bisenge
nga bamuzibe. Twesittala mu
ttuntu ng'ekiro, ne tuba
ng'abali mu nsi y'emagombe.
11“Ffenna tuwuluguma ng'eddubu, ne tuwuubaala nnyo nga bukaamukuukulu. Twegomba Katonda okutuwonya okunyigirizibwa, kyokka tewali kikolebwa; twegomba okununulibwa, kyokka kutwesamba.
12“Ayi Mukama, okusobya kwaffe kweyongedde mu maaso go, era ebibi byaffe bitulumiriza. Naffe ffennyini tulaba okusobya kwaffe, n'ebibi byaffe byonna tubimanyi. 13Tukujeemera ne tukuvaako ggwe Mukama, ne tugaana okukugoberera ggwe Katonda waffe. Twajoonyesa abalala, ne tukujeemera. Ebirowoozo byaffe bikyamu, n'ebigambo bye twogera bya bulimba. 14Tuggyawo obwenkanya, n'ebituufu ne bitubeera wala. Amazima tegasangibwa mu nguudo, n'obwesimbu tebuliiwo. 15Amazima gakendedde mu bantu, era oyo alekayo okukola ebibi atuusibwako emitawaana.”
Mukama ategeka okujuna abantu be.
Mukama yalaba ekyo, n'anyiiga, olw'obutabaawo bwenkanya. 16Yeewuunya okulaba nga tewali muntu n'omu awolereza abanyigirizibwa. N'olwekyo ye yennyini ajja kukozesa obuyinza bwe okujuna abantu be, n'okubatuusa ku buwanguzi.#Laba ne Yis 63:5 17Ajja kwambala obwenkanya ng'ekyambalo eky'ekyuma kye bambala mu kifuba, atikkire ku mutwe gwe enkuufiira ey'obuwanguzi. Ajja kwambala okwagala ennyo okutereeza ebintu byonna, n'okubonereza, era n'okuwoolera eggwanga olw'ebikyamu byonna ebyakolebwa ku bantu be.#Laba ne Beef 6:14,17; 1 Bat 5:8 18Alibonereza abalabe be ng'asinziira ku bye baakola, ng'atwaliramu n'abo abali ewala. 19Okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba balimutya era balitya obuyinza bwe. Alijja ng'omugga ogukulukuta n'amaanyi, ogutwalibwa embuyaga ye yennyini Mukama gy'asindika. 20Mukama agamba abantu be nti: “Ndijja e Siyooni okununula aba Yakobo abakyuka okuva mu bibi byabwe.#Laba ne Bar 11:26 21Ndikola nammwe endagaano. Ntaddewo obuyinza bwange n'ebyo bye njigiriza, bibeerenga nammwe olubeerera. Era okuva kati munaabuuliranga era munaayigirizanga abaana bammwe ne bazzukulu bammwe okumpuliranga emirembe gyonna.”