رفتن به محتوا

YISAAYA 5

5
Oluyimba lw'ennimiro y'emizabbibu
1Kaakano ka nnyimbire muganzi wange
oluyimba olufa ku nnimiro ye ey'emizabbibu.
Muganzi wange yalina ennimiro ey'emizabbibu
ku lusozi olugimu ennyo.#Laba ne Mat 21:33; Mak 12:1; Luk 20:9
2Yagikabala bulungi
n'alondalondamu amayinja agaalimu,
n'agisimbamu emizabbibu emirungi ddala.
N'azimba wakati mu yo
omunaala ogw'okukuumiramu,
n'asimamu essogolero.
N'asuubira ng'eneemubalira
emizabbibu emirungi,
kyokka n'emubalira gikaawa
ng'egy'omu nsiko.
3Muganzi wange oyo agamba nti:
“Kale mmwe abatuuze b'omu Yerusaalemu
n'ab'omu Buyudaaya bwonna,
mbasaba musale omusango
wakati wange
n'ennimiro yange ey'emizabbibu.
4Kiki ekirala kye nandikoledde
ennimiro yange eyo ey'emizabbibu
kye saagikolera?
Kale lwaki bwe nasuubira ebale
emizabbibu emirungi,
ate yabala gikaawa
ng'egy'omu nsiko?
5“Kaakano ka mbategeeze
kye nnaakolera ennimiro yange eyo:
nja kuggyawo olukomera lwayo
mmenyewo ekigo ekigikuuma
ebisolo biriiremu era bigirinnyirire.
6Era nja kugizisa:
emizabbibu tegiisalirwenga,
n'omuddo tebaagulimenga.
Erimeramu emyeramannyo n'amaggwa,
era ndiziyiza n'ebire
okugitonnyesangako enkuba.”
7Eggwanga lya Yisirayeli
ye nnimiro y'emizabbibu
eya Mukama Nnannyinimagye,
n'abantu b'omu Buyudaaya,
kye kirime kye yalima ekimusanyusa.
Yabasuubiramu okukola eby'obwenkanya,
naye bo baakola bya butemu.
Yabasuubiramu okukola ebituufu
naye baakola bya kukaabya bantu.
Ebibi abantu bye bakola
8Zibasanze mmwe abagula ennyumba
ne muzongera ku ezo ze mulina,
era abongera ennimiro
ku ezo ze mubadde nazo,
okutuusa lwe munaamalawo buli kafo,
ensi ne mugibeeramu mwekka.
9Mpulidde Mukama Nnannyinimagye ng'agamba nti:
“Ennyumba zino zonna ennyingi,
zirifuuka bifulukwa.
Ezo ennene era ennungi,
tewaliba azibeeramu.
10Ennimiro y'emizabbibu
eya yiika ekkumi,
eneevangamu ekibbo kimu.
N'ekisero ky'ensigo,
kinaavangamu akabbo kamu.”
11Zibasanze abo abazuukuka ku makya
ne bakeera okunoonya
ebyokunywa ebitamiiza.
Banywa omwenge okuzibya obudde,
ne gubalalusa.
12Embaga zaabwe zibaako
ennanga n'entongooli,
ebitaasa n'endere n'omwenge.
Naye tebalowooza ku ebyo
Mukama by'akola
era tebabifaako.
13Kale abantu bange
kyebavudde batwalibwa mu buwaŋŋanguse
olw'obutabaako kye bamanyi.
Abakungu baabwe balifa enjala,
n'abantu baabwe bonna
ne battibwa ennyonta.
14Amagombe kye galiva gabeegomba,
ne gaasamya akamwa okubamira,
abakungu baabwe
n'abantu baabwe abangi
ababadde bakuba embeekuulo
nga basanyuka mu bo,
bonna ne bakkirira omwo.
15Buli muntu aliswazibwa,
n'abeekulumbaza balitoowazibwa.
16Naye Mukama Nnannyinimagye
agulumizibwa mu kusalira
abantu omusango,
era alaga obutuukirivu bwe,
ng'akola ebituufu.
17Endiga ento ziriira mu bifo ebyazika,
nga bwe ziriira mu malundiro;
era ebifo ebyo eby'abagevvu,
abagwira balibyefunira.
18Zibasanze abo abalemwa
okuva mu bibi byabwe,
ne bakulula ebibi
nga bwe bakulula ekigaali
kye basibyemu emiguwa.
19Bagamba nti:
“Mukama ayanguyeeko by'akola tubirabe,
Omutuukirivu wa Yisirayeli
asambyeko, by'ateesa okutuukiriza tubimanye.”
20Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi
n'ekirungi ne bakiyita ekibi;
abateeka ekizikiza
mu kifo ky'ekitangaala,
n'ekitangaala mu kifo ky'ekizikiza,
era abateeka ekikaawa
mu kifo ky'ekiwoomerera,
n'ekiwoomerera mu kifo ky'ekikaawa.
21Zibasanze abo abeemanyi
bwe bali abagezi,
abeetenda obutegeevu.
22Zibasanze abo ab'amaanyi
mu kunywa omwenge,
abazira mu kutabula ebitamiiza.
23Baggya omusango ku babi olw'enguzi,
omutuufu ne batamuwa kimusaanidde.
24Kale ng'omuliro bwe gwokya
ensambu n'essubi ekkalu,
bwe bityo ne bye beesigamyeko
bwe birivunda,
ne bye bakola
bwe birifuumuuka ng'enfuufu,
kubanga baagaana amateeka
ga Mukama Nnannyinimagye;
banyooma ekigambo
ky'Omutuukirivu wa Yisirayeli.
25N'olwekyo Mukama asunguwalidde abantu be,
era agolodde omukono gwe okubabonereza.
Ensozi zijja kukankana,
n'emirambo gy'abo abattiddwa
gisigale ng'ebisasiro mu nguudo.
N'ebyo byonna nga bimaze okubaawo,
era obusungu bwe buliba tebunnaggwaawo.
26Alitemya ku b'omu mawanga agali ewala.
Alibakoowoola okuva mu buli nsonda y'ensi,
ne banguwa mangu okujja.
27Mu bo tewaliba akoowa,
era tewaliba yeesittala kugwa.
Tewaliba abongoota,
wadde eyeebaka.
Enkoba ze beesiba teziriddirira,
wadde obuwuzi bw'engatto okukutuka.
28Obusaale bwabwe bwogi,
n'emitego gyabwo gyonna mireege.
Ebinuulo by'embalaasi zaabwe,
bigumu nga mayinja;
ne nnamuziga z'amagaali gaabwe,
zidduka nga mbuyaga.
29Bawuluguma nga mpologoma
ekutte ensolo gy'eyizze,
n'egyetwalira kyere,
ne watabaawo agiwonya.
30Olunaku olwo bwe lulituuka,
baliwuumira ku Yisirayeli,
ng'ennyanja bwewuuma.
Omuntu bw'alitunuulira ensi eyo,
aliraba kizikiza na buyinike,
ng'ebire biziyizizza
omusana okwaka.