رفتن به محتوا

YISAAYA 58

58
Okusiiba
1Mukama agamba nti:
“Kangula eddoboozi, tolikkakkanya.
Eddoboozi lyo liyimuse
livuge ng'ekkondeere,
obuulire abantu bange
okusobya kwabwe,
otegeeze ab'ennyumba ya Yakobo
ebibi byabwe.
2Bansinza buli lunaku
ne balaga nti baagala
okumanya engeri zange
n'okukwata ebiragiro byange.
Bansaba okubawa amateeka ag'obwenkanya,
era bagamba nti basanyuka
okunsinza, Nze Katonda.
3“Babuuza nti: ‘Lwaki tusiiba,
naye ggwe n'otofanayo?
Lwaki twebonereza,
naye ggwe n'otokissaako mwoyo?’
Nze mbaddamu nti:
‘Mulabe, ku lunaku lwe musiibirako,
mwenoonyeza bibasanyusa
era munyigiriza abakozi bammwe.
4Okusiiba kwammwe kubafuula bakambwe,
ne muyomba era ne mulwana,
ne mukuba ebikonde olw'obusungu.’
“Temulowooza nti munaasiiba mu ngeri ng'eyo, ne muyimusa eddoboozi lyammwe ne liwulirwa mu ggulu. 5Okusiiba kwe njagala bwe kufaanana bwe kutyo? Era olunaku omuntu lwe yeetoowalizaako bwe lubeera bwe lutyo? Okusiiba kwe kukoteka omutwe ng'olumuli bwe lukutama, n'okweyaliirira ebikutiya n'evvu? Ekyo kye muyita okusiiba, era olunaku lwe nsiima?
6“Okusiiba kwe njagala kwe kuno: muggyeewo enjegere n'ebikoligo ebinyigiriza abantu mu butali bwenkanya; musumulule abasibe abanyigirizibwa mubate bagende. Muggyeewo buli ekinyigiriza abantu. 7Abayala mubawe ku mmere yammwe, abaavu abagobaganyizibwa mubasembeze mu maka gammwe. Abo abali obwereere mubagabire ebyokwambala, era muleme kugaana kuyamba bantu bannammwe.#Laba ne Mat 25:34
8“Olwo mulyakaayakana ng'emmambya, era muliwonyezebwa mangu. Ebikolwa byammwe ebirungi binaabakulemberangamu, ekitiibwa kyange Nze Mukama, ne kibabugiriza okubakuuma. 9Olwo bwe munampitanga, Nze Mukama, nnaabayitabanga. Munankoowoolanga, ne mbaddamu nti: ‘Nzuuno!’
“Bwe mulikomya okunyigiriza bantu bannammwe, ne mumalawo okubanyooma n'okuboogerako ebibi, 10abayala ne mubawa emmere, ne muyamba abali mu bwetaavu, olwo ekizikiza n'ekifu ebibeetoolodde mmwe, birifuuka ng'ekitangaala eky'omu ttuntu. 11Era olwo Nze Mukama, nnaabaluŋŋamyanga ennaku zonna, ne mbawa ebirungi ne mu bifo ebikalu, ne mbafuula bagumu ba maanyi. Mulibeeranga ng'ennimiro efukirirwa amazzi, era ng'oluzzi lw'amazzi olutakalira. 12Abantu abasibuka mu mmwe, balizimba buggya ebifo eby'edda ebyayonoonebwa, balizzaawo emisingi egy'emirembe egy'edda ennyo. Munaayitibwanga abantu abazibi b'ebituli, abazza obuggya ebifo eby'okubeeramu.”
Empeera ey'okukuuma Sabbaato
13Mukama agamba nti: “Bwe munaakuumanga Sabbaato ne mutagikolerangako byammwe bye mwagala naye n'eba olunaku lwange olutukuvu, ne mulussaamu ekitiibwa nga mulekayo okulutambulirako eŋŋendo, okulukolerako emirimu, n'okulwogererako ebigambo eby'ekigayaavu, 14olwo mulifuna essanyu erisibuka mu kumpeereza Nze Mukama. Ndibaleetera mmwe okuweebwa ekitiibwa mu nsi yonna, era ndibawa ensi gye nagabira jjajjammwe Yakobo, n'eba obutaka bwammwe. Nze Mukama, njogedde.”