YISAAYA 57
57
Okusinza ebitali Katonda kuvumirirwa
1Omuntu omulungi afa
ne wabulawo akissaako omwoyo.
Abantu ab'ekisa baggyibwawo
ne wataba akitegeera,
ng'ab'ekisa abo bawonyezeddwa
akabi akagenda okujja.
2Abo abaali abalungi mu bulamu
bwe bafa, bayingira mu mirembe,
ne bawummula we bagalamidde.
3Naye mmwe abalogo,
mmwe abenzi ne bamalaaya,
mujje wano musalirwe omusango.
4Muzannyira ku ani? Ani gwe mwasamiza akamwa ne mwogera ebimusoomoza? Mmwe aboonoonyi era abajjudde obukuusa! 5Mulina amaddu ag'okusinza ebifaananyi wansi wa buli muti, era muttira abaana bammwe mu biwonvu wansi w'enjatika z'enjazi. 6Muggyayo amayinja amaweweevu ne mugasinza nga balubaale. Mugafukira ekiweebwayo eky'ebyokunywa era ne mugaleetera ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke. Muyinza okukola ebyo ne nsanyuka? 7Mwateeka ebitanda byammwe ku nsozi empanvu engulumivu, era eyo gye mwambuka okuwaayo ebitambiro. 8Mukukulira emabega w'enzigi zammwe ebifaananyi ebyenyinyalwa. Mundeka awo, ne mweyambulira omulala atali nze, ne mulinnya naye ekitanda ekigazi, ne mumusasula okwebaka nammwe, ne mumatiza amaddu gammwe. 9Mwesiiga omuzigo n'ebyobuwoowo bingi, ne mugenda okusinza lubaale Moleki. Okuzuula balubaale be munaasinza, mutuma ewala ababaka, ne bakkirira n'emagombe. 10Mufuba ne mutegana okunoonyaayo balubaale abalala, era temuterebuka. Mulowooza ng'ebifaananyi ebyenyinyalwa bibawa amaanyi, n'olwekyo temukoowa.
11Mukama agamba nti: “Balubaale ki abo be mutya bwe mutyo, Nze ne munnimba era ne munneerabirira ddala? Mulekedde awo okunzisaamu ekitiibwa, olw'okuba nga nasirika busirisi ebbanga lyonna? 12Muyinza okulowooza nga bye mukola bituufu era birungi, naye ndyerula empisa zammwe, era ebifaananyi ebyo bye mukoze, tebiribagasa mmwe. 13Bwe mukaaba nga musaba obuyambi, kale ebyo bye mwakuŋŋaanya, bye biba bibawonya. Naye empewo obuwewo eribiggyawo byonna. Kyokka abo abeesiga Nze, ensi be baligibaamu, era be banansinzizanga ku Lusozi Olutukuvu.”
Mukama asuubiza okuyamba n'okuwonya
14Mukama agamba nti: “Mukoleewo ekkubo, mukoleewo ekkubo, mulitereeze. Muggyeewo enkonge mu kkubo ly'abantu bange.
15“Nze nsukkiridde byonna, era ow'olubeerera, Omutuukirivu. Mbeera mu kifo ekyawaggulu era ekitukuvu. Kyokka era mbeera ne mu bantu abeetoowaze era ababoneredde, ndyoke mbazzeemu omutima n'essuubi. 16Nawa abantu bange obulamu, era siribavunaana lugenderezo wadde okubasunguwalira emirembe gyonna, kubanga olwo abantu bange bandifudde, ate Nze Nzennyini be nawa obulamu. 17Nabasunguwalira olw'ebibi byabwe n'olw'omululu gwabwe, ne mbabonereza era ne mbaabulira. Naye ne beeyongera kugenda mu maaso, ne bagugubira mu nneeyisa yaabwe.
18“Ndabye nga bwe bayisa, naye nja kubawonya. Nja kubakulembera, mbaluŋŋamye, mbudeebude abo abakaaba. 19Nze Mukama ŋŋamba nti Nze mpa bonna emirembe, abali okumpi n'abali ewala. Nja kuwonya abantu bange.#Laba ne Beef 2:17 20Naye abantu ababi bali ng'ennyanja esiikuuka, eteyinza kuteeka. Amayengo gaayo gasiikuula ebitosi n'ebisasiro. 21Aboonoonyi tebaba na mirembe.” Katonda wange bw'atyo bw'agamba.#Laba ne Yis 48:22
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.