رفتن به محتوا

YISAAYA 56

56
Abantu ba Mukama baliba ba mawanga gonna
1Mukama agamba nti: “Mukolenga eby'obwenkanya era ebituufu, kubanga nnaatera okubanunula, ndage nga bwe ndi omutuukirivu. 2Ndiwa omukisa abakuuma Sabbaato bulijjo, ne batagikolerako mirimu. Ndiwa omukisa abo abeekuuma ne batakola bibi.”
3Omugwira eyasenga mu bantu ba Mukama, tagambanga nti: “Ddala Mukama ansosola mu bantu be.” N'omulaawe tagambanga nti: “Nze ndi ng'omuti omukalu!” 4Kubanga Mukama agamba nti: “Abalaawe abakuuma Sabbaato zange, abalondawo okukola bye nsiima, ne banywerera ku ndagaano yange, 5abo ndiwa amannya gaabwe okujjukirwanga mu Ssinzizo lyange ne mu bantu bange, ebbanga eggwanvu okusinga lwe bandibadde bazadde abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. Tebalyerabirwa.”
6Abagwira abo abaasenga mu bantu ba Mukama, abamwagala, abamuweereza, abakuuma Sabbaato ze, era abassaayo omwoyo okukuuma endagaano ye, Mukama abagamba nti: 7“Ndibatuusa ku Lusozi lwange olutukuvu, ne mbawa essanyu mu nnyumba yange ey'okusinzizaamu. Ebyabwe ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebitambiro bye baleese, ndibikkiriza ku alutaari yange, kubanga ennyumba yange eneeyitibwanga ennyumba ab'amawanga gonna mwe bajja okunsinziza.”
8Mukama Afugabyonna, era akuŋŋaanya abantu ba Yisirayeli abaawaŋŋangusibwa, agamba nti: “Ndimukuŋŋaanyizaayo n'abalala, ne beeyongera ku babe abaakuŋŋaanyizibwa.”
Enneeyisa y'abakulembeze ba Yisirayeli tesiimibwa
9Mukama agamba nti:
“Mmwe mwenna ebisolo
eby'omu ttale n'eby'omu kibira,
mujje mulye!
10Abakulembeze b'abantu bange, bamuzibe.
Bonna tebaliiko kye bamanyi,
bonna bali ng'embwa ensirusiru
ezitayinza kuboggola.
Bonna bagalamira ne baloota,
ne badda awo mu kubongoota.
11Bali ng'embwa ez'omululu,
ezitakkuta ennaku zonna.
Bonna beemalidde ku byabwe:
buli omu ku bo yeenoonyeza
bya kwefuniramu magoba.
12Omu agamba banne nti:
‘Mujje, ka nkimeyo ku mwenge, tunywe,
twekamirire ebitamiiza.
Olwenkya nalwo lunaaba ng'olwaleero,
era n'okulusinga!’ ”