رفتن به محتوا

YISAAYA 55

55
Mukama akwatirwa bonna ekisa
1Mukama agamba nti:
“Buli muntu alumwa ennyonta
ajje awali amazzi anywe,
nammwe abatalina nsimbi
mujje mugule emmere mulye.
Mujje mugule omwenge n'amata
nga temuliiko kye musasula.#Laba ne Kub 21:6; 22:17
2Lwaki okufulumya ssente
ku ebyo ebitali mmere,
n'okuteganira ebyo
ebitayinza kubakkusa?
Muwulirize bulungi bye ŋŋamba
mulyenga ebirungi, musanyuke.
3“Mutege amatu gammwe
mujje gye ndi muwulire,
mufune obulamu obujjuvu.
Nze ndikola nammwe endagaano ey'olubeerera
ey'okwagala kwange okunywevu
kwe nayagalamu Dawudi.#Laba ne Bik 13:34
4Nayita mu ye okulaga ab'amawanga
obuyinza bwange,
nga mmufudde omukulembeze
era omufuzi w'amawanga ow'oku ntikko.
5Nammwe muliyita eggwanga
lye mwali mutamanyi
era nalyo eryali litabamanyi
ne liddukira gye muli,
ku lwange Mukama, Katonda wammwe,
Omutuukirivu wa Yisirayeli,
kubanga mbagulumizza mmwe.”
6Mudde eri Mukama, ng'akyasangika,
mumwegayirire, nga bw'akyali okumpi.
7Omubi alekeyo empisa ze embi,
n'omwonoonyi akyuse endowooza ye
adde eri Mukama,
Mukama anaamukwatirwa ekisa;
adde eri Katonda waffe,
kubanga wa kisa,
era asonyiyira ddala nnyo.
8Mukama agamba nti:
“Ebirowoozo byange,
tebiri ng'ebirowoozo byammwe;
n'engeri zange,
teziri ng'engeri zammwe.
9Eggulu nga bwe liri waggulu
ewala ennyo n'ensi,
n'engeri zange
bwe ziri bwe zityo
ewala ennyo n'engeri zammwe;
era n'ebirowoozo byange
bwe biri bwe bityo
ewala ennyo n'ebirowoozo byammwe.
10“Ng'enkuba n'omuzira bwe bigwa
okuva mu bbanga
ne bitaddayo waggulu
naye ne bifukirira ettaka,
ne bimeza mu lya ebimera, ne bibala ebibala,
ne biwa omulimi ensigo ey'okusiga
n'emmere ey'okulya,#Laba ne 2 Kor 9:10
11bwe kityo n'ekigambo kye njogera,
bwe kinaabanga.
Tekiddenga gye ndi nga kyereere,
wabula kinaakolanga ebyo bye njagala,
ne kituukiriza bye nkitumye okukola.
12“Muliva mu Babilooni n'essanyu,
mulitwalibwa n'emirembe okuvaayo.
Ensozi n'obusozi birikoleeza oluyimba,
n'emiti girikuba mu ngalo olw'essanyu.
13Emisambya girimera
awabadde emyeramannyo,
n'emimwanyi giridda
mu kifo ky'amatovu.
Ekyo kiriba akabonero ak'olubeerera
akalaga nti ekyo, Nze Mukama, Nze nkikoze.”