YISAAYA 52
52
Mukama okununula Yerusaalemu
1Situka ggwe Siyooni,
situka oddemu okuba ow'amaanyi.
Ggwe Yerusaalemu Ekibuga Ekitukuvu,
yambala ebyambalo byo eby'obuyonjo,
kubanga tokyaddamu kuyingirwamu
batalina ddiini,
n'abatali balongoofu.#Laba ne Kub 21:2,27
2Situka Yerusaalemu
ove mu nfuufu,
ogyekunkumule,
olyoke otuule.
Weesumulule enjegere
ezikuli mu bulago
ggwe Ekibuga Siyooni ekyawambibwa.
3Mukama agamba nti: “Mwatundibwa awatali asasudde ssente, era mulinunulibwa awatali ssente.” 4Mukama Katonda era agamba nti: “Mu kusooka, abantu bange baagenda okubeerako e Misiri, Abassiriya ne babajoonyesa awatali nsonga. 5Nze Mukama kyenva ŋŋamba nti: ‘Kale wano kiki kye nnaakola kaakano, nga ndaba abantu bange batwalirwa obwereere? Abo ababafuga beewaana, era olunaku lwonna tebalekaayo kunnyooma.#Laba ne Bar 2:24 6Kale abantu bange, balimmanya. Olwo balimanya nga Nze, ddala Nze Nzennyini, Nze njogedde.’ ”
7Nga kisanyusa okulaba omubaka
ng'afaabiina okuyita mu nsozi
okuleeta amawulire amalungi,
amawulire agalangirira emirembe,
era ag'obulokozi n'obuwanguzi!
Omubaka oyo agamba nti:
“Katonda wammwe ye afuga.”#Laba ne Nah 1:15; Bar 10:15; Beef 6:15
8Abakuumi b'ekibuga kyammwe baleekaana,
bayimusa amaloboozi
nga bayimbira wamu;
kubanga balabira ddala
n'amaaso gaabwe
Mukama bw'akomawo e Siyooni
9Mmwe ebifo bya Yerusaalemu
ebibadde bifuuse amatongo,
nammwe mubaguke muyimbe,
kubanga Mukama akubagizza abantu be,
anunudde Yerusaalemu.
10Mukama Katonda waffe
alikozesa obuyinza bwe obutuukiridde
n'alokola abantu be,
ng'ensi yonna yeerolera!
11Mugende, mugende,
muve mu Babilooni.
Temukwata ku kintu na kimu
ekitali kirongoofu,
mmwe abasitula ebikozesebwa
mu Ssinzizo lya Mukama.
Mugende nga muli balongoofu.#Laba ne 2 Kor 6:17
12Temulivaayo nga mubuguutana
wadde okugenda nga mugwirana;
kubanga Mukama alibakulemberamu
era ye omu Katonda wa Yisirayeli
alibavaako emabega okubakuuma.
Okubonaabona kw'Omuweereza wa Mukama
13Mukama agamba nti:
“Mulabe, Omuweereza wange,
byonna by'akola
alibikozesa magezi.
Alituusibwa ku bukulu n'ekitiibwa,
aligulumizibwa nnyo.
14Ng'abangi bwe baamwewuunya
ng'amaaso ge goonooneddwa
okusinga ag'omulala yenna
bwe gaali goonooneddwa,
ng'afuuse muntu atakyafaananika,
15bw'atyo bw'alyewuunyisa amawanga amangi:
bakabaka balibulwa eky'okwogera
ne basamaalirira,
kubanga baliraba ne bategeera
kye batabuulirwanga era kye batawuliranga.”#Laba ne Bar 15:21
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.