رفتن به محتوا

YISAAYA 53

53
1Abantu baddamu nti:
“Ani ayinza okukkiriza
bye tuwulidde?
Era ani ayinza okukkiriza
nti ekyo Mukama ye yakikola?#Laba ne Yow 12:38; Bar 10:16
2Ono yakulira mu maaso ga Mukama,
ng'ekisimbe ekigonvu
mu ttaka ekkalu.
Yali taliiko bw'afaanana:
nga si kunyirira,
nti tumutunuleko;
nga si bulungi bwa ndabika,
nti bumwegombesa.
3Yanyoomebwa, n'agaanibwa abantu.
Yajjula ennaku n'obuyinike,
nga tewali ayagala kumutunulako.
Bw'atyo bwe yanyoomebwa,
ne tutamulabamu ka buntu.
4“Mazima yeetikka buyinike bwaffe
era yasitula nnaku yaffe.
Naye ffe twalowooza
nti okubonaabona kwe,
kyali kibonerezo
Katonda ky'amuwadde.#Laba ne Mat 8:17
5Kyokka yateekebwako ebiwundu
lwa kusobya kwaffe,
yabonyaabonyezebwa lwa bibi byaffe.
Yabonerezebwa, ffe tufune emirembe.
Emiggo gye yakubibwa, gye gituwa obulamu.#Laba ne 1 Peet 2:24
6Ffe ffenna twawaba ng'endiga,
buli omu n'akwata lirye,
ekibonerezo ekisaanidde ebibi byaffe,
Mukama n'akiteeka ku ye.#Laba ne 1 Peet 2:25
7“Yajoogebwa, kyokka n'akigumira
mu bwetoowaze,
n'atabaako ky'anyega.
Yasirika ng'endiga
etwalibwa okuttibwa.
Era ng'endiga bw'esirika
nga bagisalako ebyoya,
naye bw'atyo, teyabaako ky'ayogera.#Laba ne Kub 5:6#Laba ne Bik 8:32-33
8Yaggyibwawo n'atwalibwa
n'asalirwa ogw'okufa,
ne watabaawo afaayo
kusala musango gwe
mu bwenkanya.
Yattibwa lwa bibi
bya bantu bange.
9Baamuziika wamu n'ababi,
newaakubadde yali tazzanga musango,
wadde okwogera eky'obukuusa.
Kyokka yabalirwa wamu n'abagagga
mu kufa kwe.”
10Mukama agamba nti:
“Nasiima okumubonyaabonya
n'okumulumya.
Nga bw'awaayo obulamu bwe
okuba ekiweebwayo olw'ebibi,
aliraba ku bamusibukamu,
n'ayongera ebbanga ly'aliwangaala,
era ebyo bye nayagala,
birituukiririzibwa mu ye.
11Aliraba ku ebyo ebiriva
mu kubonaabona kwe,
era birimusanyusa,
n'amanya nga teyabonaabonera bwereere.
Omuweereza wange oyo,
atuukiriza byonna bye ndagira,
alyetikka ekibonerezo ky'ebibi by'abangi,
ne mbasonyiwa olw'okubeera ye.
12Kyendiva mmuwa omugabo
awamu n'abeekitiibwa,
n'agabana omunyago
awamu n'ab'amaanyi;
kubanga yawaayo obulamu bwe
n'abalirwa wamu n'aboonoonyi.
Yetikka ekibi ky'abangi,
n'abasabira ekisonyiwo.”#Laba ne Mak 15:28; Luk 22:37