YISAAYA 51
51
Ebigambo eby'okugumya Yerusaalemu
1Mukama agamba nti:
“Mumpulire mmwe
abagoberera eby'obutuukirivu;
mmwe abannoonya Nze Mukama.
Mulowooze ku lwazi kwe mwatemebwa,
n'ekirombe ky'amayinja
mwe mwasimibwa.
2Mulowooze ku Aburahamu ne Saara
bajjajjammwe mwe mwasibuka.
Bwe nayita Aburahamu,
teyalina mwana,
kyokka ne mmuwa omukisa
ne mmwaliza ezzadde.”
3“Nja kubudaabuda Siyooni,
n'ebifo byakyo byonna ebyayonoonebwa.
Ebitundu byakyo ebifuuse eddungu
ndibifuula ng'ennimiro y'e Edeni,
ng'ennimiro yange yennyini gye nneerimira.
Essanyu n'okujaganya
bye biribeera eyo,
n'okwebaza, n'amaloboozi ag'okutendereza
4“Muwulirize kye ŋŋamba
mmwe bantu bange.
Mmwe ab'Eggwanga lyange,
muntegere amatu.
Nditeekawo amateeka gange
gayigirize ab'amawanga gonna obwenkanya.
5Ndijja mangu ne mbanunula.
Ekiseera kyange eky'okuwanguliramu kituuse.
Nze Nzennyini Nze ndifuga amawanga,
n'ensi ez'ewala zinnindirira okujja
ng'essuubi lyazo liri mu Nze.
6Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu,
era mutunuulire ensi.
Eggulu lirivaawo ng'omukka,
n'ensi erikaddiwa ng'ekyambalo,
n'abagibeeramu bwe balifa bwe batyo.
Naye obununuzi bwange bwe ndeeta
bunaabeerangawo ennaku zonna,
n'obufuzi bwange obw'obwenkanya
bunaabanga bwa lubeerera.
7“Mmwe abamanyi ekituufu
era abakuuma amateeka gange ku mutima,
muwulirize kye ŋŋamba.
Temutyanga kunyoomebwa bantu,
era temuterebukanga bwe babavumanga;
8kubanga balyonooneka ng'ekyambalo
ekiriiriddwa ennyenje oba enkuyege.
Naye obununuzi bwange
bunaabeerangawo ennaku zonna,
n'obuwanguzi bwange
bwa kubeerangawo emirembe gyonna.”
9Situka ayi Mukama,
situka otuyambe!
Kozesa obuyinza bwo otuwonye.
Bukozese nga bwe wabukozesanga
mu biseera ebyayita,
okuviira ddala mu mirembe egy'edda.
Ggwe watemaatemamu
ekikulejje Rahabu,
n'ofumita ogusota.
10Ye Ggwe eyakaliza ennyanja,
n'ogabanyaamu amazzi gaayo amangi,
n'oteerawo abantu bo abanunuliddwa
ekkubo okusomokeramu.
11Kale n'abo, ayi Mukama, b'onunudde,
balikomawo e Siyooni
nga bajja bayimba olw'essanyu.
Balijaguza ne basagambiza,
era essanyu lyabwe teririggwaawo;
yo ennaku n'okusinda,
biriggweerawo ddala.
12Mukama agamba nti:
“Nze Nzennyini, Nze mbabudaabuda mmwe.
Kale lwaki otya omuntu obuntu
alifa n'aggwaawo ng'omuddo?
13Weerabidde Mukama Omutonzi wo
eyabamba eggulu,
n'ateekawo emisingi gy'ensi?
Bulijjo ozibya obudde ng'otya
obukambwe bw'abakujoonyesa,
abateekateeka okukuzikiriza.
Kale kaakati obukambwe bwabwe
bukyali ludda wa?
14Oyo eyawambibwa era anyigirizibwa
anaatera okuteebwa.
Tajja kufa kaakano kukka magombe,
era tajjanga kubulwa mmere gy'alya.
15“Nze Mukama Katonda wo,
aleetera ennyanja
okusiikuuka amayengo gaayo
ne gawuluguma.
Mukama Nnannyinimagye
lye linnya lyange.
16Nateeka ebigambo byange
mu kamwa ko
era ne nkuwanirira mu mukono gwange.
Nabamba eggulu,
ne nteekawo emisingi gy'ensi,
ne ŋŋamba ab'omu Siyooni nti:
‘Mmwe bantu bange.’ ”
Enkomerero y'okubonaabona kwa Yerusaalemu
17Sisimuka ggwe Yerusaalemu,
zuukuka oyimirire!
Wanywa ekikopo eky'okubonaabona
Mukama mu busungu bwe
kye yakuteeka ku mumwa,
n'okinywa n'okyekatankira
ne kikuleetera okutagatta.#Laba ne Kub 14:10; 16:19
18Mu baana bo bonna be wazaala,
temuli n'omu wa kukukulembera;
mu be weeyolera temuli n'omu
wa kukukwata ku mukono.
19Bino byombi bikuguddeko:
ensi yo eyonooneddwa olutalo,
abantu bo ne bafa enjala.
Ani anaakukubagiza?
Ani anaakubudaabuda?
20Abantu bo bazirise era bagalamidde
mu buli kasonda ka nguudo.
Bali ng'engabi ekwatiddwa
mu kitimba ky'omuyizzi.
Bavuunikiddwa obukambwe bwa Mukama,
obusungu bwe babuwuliddemu omusera!
21Kale mmwe ababonaabona
ne mutagatta
naye nga temunywedde mwenge,
22Mukama Afugabyonna,
era Katonda wammwe
abataasa mmwe abantu be,
agamba nti: “Mbaggyeeko ekikopo
kye nabawa mu busungu bwange.
Temukyaddayo kukinywa
ne kibaleetera okutagatta.
23Ekikopo ekyo ndikikwasa abo
abaababonyaabonya mmwe,
abaabagamba nti: ‘Mweyale wansi
tuyite ku mmwe tugende!’
Nammwe ne muteekawo emigongo gyammwe
gibe ng'ettaka, n'oluguudo
abo abayitawo kwe batambulira.”
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.