رفتن به محتوا

YISAAYA 50

50
Katonda agumya Yisirayeli
1Mukama agamba nti:
“Ebbaluwa gye nawandiika
okugobera ddala nnyammwe, eruwa?
Oba ali ludda wa ammanja,
gye nabatunda mmwe mube abaddu?
Mwatundibwa lwa bibi byammwe,
era okusobya kwammwe
kwe kwagobya nnyammwe.
2Bwe najja okubawonya
lwaki saasangawo muntu n'omu?
Nayita ne wabulawo ampitaba.
Omukono gwange gwe mumpi
ne gutasobola kubanunula?
Oba mbuliddwa amaanyi
nga sisobola kuwonya?
Mulabe, bwe nkabukira ennyanja, ekala.
Emigga ngifuula eddungu,
ebyennyanja byamu
olw'okubulwa amazzi,
ne bifa era ne biwunya.
3Eggulu nnyinza okuliddugaza,
ne liba nga lye nnyambazza
ebikutiya okukungubaga.”
Obuwulize bw'omuweereza wa Mukama
4Mukama Katonda anjigiriza
bye nnaayogera
okugumya oyo akooye.
Anzuukusa buli nkya,
n'anzigula amatu okuwulira
by'aba agenda okunjigiriza.
5Mukama Afugabyonna anzigudde amatu
ne sijeema kudda nnyuma kumuvaako.
6Nawaayo amabega gange eri abankuba,
n'amatama gange eri abankuunyuula ekirevu.
Saakweka maaso gange abo
abanswaza ne bampandira amalusu.#Laba ne Mat 26:67; Mak 14:65
7Naye obujoozi bwabwe sibufaako,
kubanga Mukama Afugabyonna
ajja kunnyamba.
Nneevaamu ne mbugumira,
nga mmanyi nti sijja kuswala.
8Oyo ampolereza ali kumpi.
Ani alina ky'anvunaana?
Yeesimbewo tuwoze.
Anneesimbyemu ye ani?
Kale asembere we ndi.#Laba ne Bar 8:33-34
9Mukama yennyini Afugabyonna
wuuno ye antaasa,
ate ani alinsalira omusango okunsinga?
Bonna balikaddiwa ng'ekyambalo
ekiriiriddwa ennyenje.
10Buli omu mu mmwe
assaamu Mukama ekitiibwa
era agondera ebigambo by'omuweereza we,
ne bw'atambulira mu kizikiza
nga talina kitangaala,
yeesige Mukama,
era anywerere ku Katonda.
11Mulabe, mmwe mwenna abakola enkwe
okuzikiriza bannammwe,
mmwe mulyezikiriza mwekka
mu nkwe zammwe.
Ekyo Mukama yennyini
ye alikituukiriza,
ne mufiira mu bulumi.