رفتن به محتوا

YISAAYA 49

49
Yisirayeli ekitangaala ky'amawanga#Laba ne Yis 57:21
1Muwulirize kye ŋŋamba,
mmwe ebizinga,
mutege amatu, mmwe amawanga,
gye muli eyo ewala.
Mukama yampita nga sinnazaalibwa,
yampita erinnya nga nkyali
mu lubuto lwa mmange.#Laba ne Yer 1:5
2Yafuula ebigambo byange
ekitala eky'obwogi,
yankweka mu kisiikirize
ky'omukono gwe.
Yanfuula akasaale akawagale
k'aterese mu nsawo ye.#Laba ne Beb 4:12; Kub 1:16
3Era yaŋŋamba nti:
“Ggwe Yisirayeli,
ggwe muweereza wange
gwe ndiweerwamu ekitiibwa.”
4Naye nze ne ŋŋamba nti:
“Nateganira bwereere,
amaanyi gange gaafa busa.
Kyokka mazima Mukama
ye amanyi ebyange,
era Katonda wange
ye alimpa empeera.”
5Kaakano Mukama alina ky'agamba.
Mukama oyo ye yammumbira
mu lubuto lwa mmange
n'antegeka okuba omuweereza we,
mmukomezeewo ab'ezzadde lya Yakobo:
be bantu be Abayisirayeli,
abaasaasaanyizibwa.
Anfuula waakitiibwa,
era ye Katonda wange,
ensibuko y'amaanyi gange.
6Kale Mukama oyo agamba nti:
“Ggwe eky'okuba omuweereza wange
okuzzaawo ekitiibwa
ky'Ebika by'aba Yakobo,
n'okukomyawo Abayisirayeli
abawonyeewo, tekimala,
naye era ndikufuula
ekitangaala eri amawanga,
nkukozese okununula ensi yonna.”#Laba ne Yis 42:6; Luk 2:32; Bik 13:47; 26:23
7Mukama Omununuzi
era Omutuukirivu wa Yisirayeli
ayogera n'oyo abantu gwe banyooma,
n'amawanga gwe gakyawa,
era omuweereza w'abafuzi.
Amugamba nti:
“Bakabaka balikulaba ne bayimirira
okukussaamu ekitiibwa,
n'abakungu balikulaba
ne bakuvuunamira,
kubanga Mukama omwesigwa,
era Omutuukirivu wa Yisirayeli
ye yakulonda.”
Okuzzaawo Yerusaalemu
8Mukama agamba nti:
“Nakuwuliriza mu kiseera
eky'okusaasiriramu,
ne nkuyamba ku lunaku
olw'okununulirako.
Ndikukuuma ne nkutaasa,
era ndiyita mu ggwe
okukola endagaano
n'abantu bonna.
Olibbulula ensi,
n'oddamu okugaba ebitundu byayo,
ebyalekebwa awo ettayo#Laba ne 2 Kor 6:2
9n'ogamba abasibe nti:
‘Mufulume ekkomera,’
n'abo abali mu kizikiza nti:
‘Mujje mu kitangaala.’
Baliba ng'endiga
ezifuna kye zirya
ne mu makubo mwe ziyita,
era ezirina amalundiro gaazo
ku nsozi nnyingi ezeetadde.
10Tebaalumwenga njala
wadde ennyonta.
Omusana n'olubugumu
tebiibakolenga kabi,
kubanga Oyo abakwatirwa ekisa,
alibakulembera,
n'abatuusa ku nsulo z'amazzi.#Laba ne Kub 7:16-17
11“Ensozi zange zonna
ndizitemamu amakubo,
ne nnima enguudo,
abantu bange mwe balitambulira.
12Mulabe, abantu bange abo
baliva wala:
abamu baliva ebukiikakkono
n'ebugwanjuba,
n'abamu mu nsi y'e Sinimu.”
13Yimba, ggwe eggulu
era sanyuka, ggwe ensi.
Mubaguke muyimbe, mmwe ensozi,
kubanga Mukama agumizza abantu be.
Alikwatirwa ekisa ababe
ababonyaabonyezebwa.
14Naye Ekibuga Siyooni kigamba nti:
“Mukama anjabulidde
era Mukama anneerabidde.
15Omukazi ayinza okwerabira
omwana we ayonka,
n'atakwatirwa kisa
omwana we gw'azaala?
Weewaawo abakazi
bayinza okwerabira abaana baabwe
naye Nze siikwerabirenga ggwe.
16Ggwe ekibuga Siyooni
laba nkoze ekifaananyi kyo
mu bibatu by'emikono gyange,
ebisenge byo biri mu maaso gange bulijjo.
17“Abantu bo abalikuzimba obuggya
banguwa okujja;
abo abaakuzikiriza
ne bakufuula amatongo,
balikuvaamu ne bagenda.
18Yimusa amaaso go
otunule ku njuyi zonna, olabe.
Abo bonna beekuŋŋaanya wamu
ne bajja gy'oli.
Nze Mukama, nga bwe ndi omulamu,
tolirema kubeeyagaliramu
ne weenyumiriza ng'omugole
ayambadde eby'obuyonjo ebiteŋŋeenya.
19“Weewaawo ensi yo yali ezise,
ng'efuuse matongo,
naye kaakano eriba nfunda
etegyamu balijja kugibeeramu.
Era abo abaaleka bakuzikirizza,
balikwesamba ne babeera wala.
20Abantu bo abaazaalirwa
mu buwaŋŋanguse
balikugamba nti:
‘Ensi mwe tuli efunze nnyo,
tuwe we tunaabeera.’
21Olwo n'oyogerera mu mutima gwo,
nti: ‘Ani yanzaalira bano bonna?
Kubanga nafiirwa abaana,
ne nsigalawo bwomu.
Nali mu buwaŋŋanguse
nga mbungeeta eno n'eri.
Kale ani yakuza abaana bano?
Ddala, nasigala bwomu,
bano baali ludda wa?’ ”
22Mukama Afugabyonna agamba nti:
“Ndiwenya ku b'amawanga n'omukono gwange,
ne mbateerawo bbendera yange.
Balireeta batabani bammwe
nga babawambaatidde
mu bifuba byabwe,
ne bawala bammwe balikongojjerwa
ku bibegabega.
23Bakabaka balibalabirira mmwe
nga bakitammwe,
ne bannaabakyala baabwe
ne babalabirira mmwe
nga bannyammwe.
Balivuunama mu maaso gammwe,
ne babeetoowaliza nnyo,
ne bakomba enfuufu
eri wansi w'ebigere byammwe.
Olwo mulimanya nga Nze Mukama,
era nga buli annindirira okumuyamba,
talikwatibwa nsonyi.”
24Ow'amaanyi oyinza okumuggyako omunyago,
oba okuta abawambiddwa omukambwe?
25Kyokka Mukama agamba nti:
“Ekyo kyennyini kye kigenda okubaawo.
Ow'amaanyi be yawamba baliggyibwayo,
n'abo abaanyagibwa ow'entiisa,
baliteebwa.
Ndilwanyisa oyo abalwanyisa mmwe
era ndinunula abaana bammwe.
26Abakujoonyesa ggwe Siyooni,
ndibaleetera okwetta bokka
nga batamidde ettemu n'obusungu.
Olwo abantu bonna balimanya
nga Nze Mukama, Omulokozi,
era Omununuzi wammwe,
nga Nze Katonda ow'amaanyi
owa Yakobo.”