رفتن به محتوا

YISAAYA 4

4
1Ekiseera ekyo bwe kirituuka, abakazi musanvu balyekwata ku musajja omu, nga bagamba nti: “Ffe tuneenoonyezanga ebyokulya n'ebyokwambala, naye kkiriza tuyitibwenga bakyala bo, otuwonye okuswala olw'obutafumbirwa.”
Yerusaalemu kirizzibwa obuggya
2Ekiseera ekyo bwe kirituuka, ebimera byonna n'emiti, Mukama bye yameza, biriba birungi era byakitiibwa, n'ebibala ebiribala mu nsi biriba birungi era biriwoomera nnyo abo abaliba bawonyeewo mu Yisirayeli. 3Buli aliba asigaddewo mu Siyooni, Katonda gw'aliba alonze okusigala nga mulamu mu Yerusaalemu, aliyitibwa mutukuvu. 4Mukama bw'aliba amaze okukozesa obuyinza bwe okusalira omusango abantu b'omu Yerusaalemu n'okubanaazaako ebibi byabwe, n'okuggya ku Yerusaalemu obutemu obwakikolerwamu. 5Ku Lusozi Siyooni, ne ku bonna abakuŋŋaaniddeko, Mukama alireeta ekire n'omukka emisana, n'okutangalijja kw'omuliro ogubuubuuka ekiro. Ekitiibwa kya Katonda kiribikka ekibuga kyonna, ne kikikuuma.#Laba ne Kuv 13:21; 24:16 6Ekitiibwa ekyo kirisiikiriza ekibuga okukiwonya ebbugumu emisana, ne kikifuula ekifo ekyekusifu, omwekwekebwa okuwona enkuba ne kibuyaga.