YISAAYA 48
48
Katonda ye ategeka ebiriwo n'ebiribaawo
1Muwulire kino
mmwe ab'ennyumba ya Yakobo,
abayitibwa Abayisirayeli,
era abasibuka mu Yuda,
mmwe abalayira erinnya lya Mukama
era aboogera ku Katonda wa Yisirayeli,
sso nga si mu mazima
na mu bwesimbu,
2ne mweyita ba mu Kibuga Ekitukuvu,
abeesiga Katonda wa Yisirayeli,
nga Mukama Nnannyinimagye
lye linnya lye.
3Mukama oyo abagamba mmwe nti:
“Okuva edda n'edda,
nalangirira ebiribaawo.
Nze Nzennyini, Nze nabiranga.
Nabikola mangu, ne bituukirira.
4Kubanga namanya
bwe muli abakakanyavu.
Ensingo yammwe ya binywa bya kyuma,
n'ekyenyi kyammwe kya kikomo.
5Kyennava nnangirira edda
ebiribatuukako gye bujja
ne mbiranga mubimanye
nga tebinnabaawo,
muleme kugamba nti:
‘Ebifaananyi bye tusinza:
ebifaananyi ebyo ebyole n'ebiweese,
bye biragidde ebintu ebyo bibeewo.’
6“Ebyo byonna mwabiwulira,
era mwabiraba, byatuukirira.
Kale temubikkirizza
nti byali bituufu?
Okuva kati nja kubabuulira ebiggya
ebyali bikyakisiddwa,
era bye mutamanyanga.
7Nnaakabitondawo, si bya dda,
era olwaleero
lwe musoose okubiwulirako,
sikulwa nga mugamba
nti mwali mubimanyi.
8Weewaawo mwali temubiwulirangako,
ddala mwali temubimanyanga
era nga temubitegeranga matu,
kubanga namanya
nga temuli beesigwa,
era ng'okuva lwe mwazaalibwa,
mumanyiddwa bwe muli abajeemu.
9“Olw'okukuuma ekitiibwa kyange,
ndiziyiza obusungu bwange,
era ndibagumiikiriza mmwe
ne sibazikiriza.
10Mmwe nabatukuliza mu kubonaabona,
nga ffeeza bw'atukulizibwa
mu kabiga k'omuliro.
11Kye nkola, nkikola ku lwange,
nkikola lwa bulungi bwange,
nneme kuswaza linnya lyange,
wadde okuleka ekitiibwa kyange
okufunibwa omulala.”
Kuuro yalondebwa Katonda
12Mukama agamba nti:
“Muwulirize bye ŋŋamba,
mmwe bazzukulu ba Yakobo,
Abayisirayeli be nayita.
Nze wuuyo asooka
era Nze wuuyo ow'enkomerero.#Laba ne Yis 44:6; Kub 1:17; 22:13
13Nze Nzennyini, mwene,
Nze nateekawo omusingi gw'ensi,
era Nze nabamba eggulu,
nga nkozesa buyinza bwange.
Ensi n'eggulu bwe mbiyita,
bijja okunneeyanjulira.
14“Mukuŋŋaanire wamu
mmwe mwenna, muwulire.
Mu balubaale bonna,
ani yalanga ebyo
nga tebinnabaawo?
Nze Mukama nnonze
omuntu gwe njagala.
Oyo alirumba Babilooni
n'akikolako nga bwe njagala,
n'akuba Abakaludaaya.
15Nze Nzennyini, Nze nayogera,
era Nze namuyita,
ne mmulagira agende;
era olugendo lwe
ne nduwa omukisa.
16“Musembere we ndi
muwulire kino.
Okuviira ddala mu kusooka
n'okutuusa kati
soogereranga mu kyama.
Bye njogedde bituusa ekiseera
ne bibaawo.”
Era kaakano Mukama Afugabyonna
antumye era atumye ne Mwoyo we.
Katonda by'ategekera abantu be
17Mukama Omununuzi wo,
Omutuukirivu wa Yisirayeli,
agamba nti:
“Nze Mukama, Katonda wo,
akuyigiriza eby'okukugasa,
era akukulembera
mu kkubo ly'oba oyitamu.
18“Singa nno wawulira ebiragiro byange!
Wandibadde n'emirembe
egikulukuta ng'omugga,
n'obwesimbu bwo bwandibadde bwa maanyi
ng'amayengo g'ennyanja.
19Ab'ezzadde lyo bandibadde bangi
ng'omusenyu,
abatabalika ng'empeke zaagwo.
Era nandirabye
nga tebazikirira kuggwaawo.”
20Mwanguwe muve e Babilooni,
mudduke muve mu Bakaludaaya!
Mukirangirire buli wantu
nga muleekaana olw'essanyu,
mukibunyise kituuke
ensi yonna gy'ekoma.
Mugambe nti: “Mukama
anunudde omuweereza we Yakobo.”#Laba ne Kub 18:4
21Mukama bwe yayisa
abantu be mu malungu,
tebaalumwa nnyonta.
Yabakulukusiza amazzi
agaava mu lwazi.
Kale yayasa olwazi
amazzi ne gafumbukuka omwo.
22Mukama agamba nti:
“Ababi tebaba na mirembe.”
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.