رفتن به محتوا

YISAAYA 47

47
Okulanga ebirituuka ku Babilooni
1Mukama agamba nti:
“Wanuka ku ntebe y'obwakabaka,
otuule wansi mu nfuufu,
ggwe Babilooni, ekibuga ky'Abakaludaaya!
Wabeerako ng'omuwala embeerera:
ekibuga ekitawangulwa.
Naye abakulaba
tebaliddamu kukutenda bunyirivu.#Laba ne Yis 13:1–14:23; Yer 50:1–51:64
2Dda ku mmengo,
kwata nseeso, ose obuwunga.
Weggyeeko ekiremba ku maaso
fungiza engoye zo,
osomoke emigga.
3Abantu balikulaba
ng'oli bukunya.
Balikulaba ng'otoowaziddwa,
ng'oswadde.
Ndiwoolera eggwanga,
era siribaako
gwe ndiddiramu.”
4Omununuzi waffe
erinnya lye ye Mukama Nnannyinimagye,
Omutuukirivu wa Yisirayeli.
Oyo agamba nti:
5“Tuula ng'osirise,
weewunikire mu kizikiza,
ggwe ekibuga ky'Abakaludaaya!
Kubanga oliba tokyayitibwa
Nnaabakyala w'Obwakabaka obungi.
6Nasunguwalira abantu bange
ne mbayisa ng'abatakyali bange,
ne mbawaayo mu mikono gyo,
n'otobasaasira n'akatono,
n'abakadde n'obassaako
ekikoligo kyo ekizito ennyo.
7Wagamba nti:
‘Ndiba Nnaabakyala
ennaku zonna,’
bino n'otobissaako mwoyo,
era n'oteebuuza gye biriggweera.
8“Kale kaakano wulira kino
ggwe omwagazi w'amasanyu,
atuula n'osalako
n'ogamba nti: ‘Nze ndiwo,
teri mulala wabula nze.
Nze siriba nnamwandu,
era sirimanya kya kufiirwa baana.’#Laba ne Kub 18:7-8
9Naye mbagirawo, bino byombi
birikujjira ku lunaku lumu:
okufiirwa abaana n'obwannamwandu,
wadde obulogo bwo nga bungi butya
n'obusawo bwo bwa maanyi nnyo.
10“Weesigula ebibi by'okola
era n'olowooza nti
tewali akulaba.
Amagezi go n'okumanya kwo
bikuwubisa, n'ogamba nti:
‘Nze ndiwo, teri mulala, wabula nze!’
11Naye olituukibwako akabi
nga tomanyi gye kavudde.
Oligwibwako emitawaana
gy'otoyinza kuziyiza,
era olituuka okuzikirira,
nga tomanyiridde.
12Kale nno kuuma obusawo bwo
n'obulogo bwo obungi,
bwe wateganamu okuva mu buto bwo,
mpozzi wandifunamu omugaso.
Oboolyawo bwandikuyamba
okutiisa abalabe bo.
13Abakuwa amagezi b'olina abangi,
bakutawaanyiza bwereere!
Abeetegereza ebiri ku ggulu,
abasimba emmunyeenye amaaso,
n'abalagula ebiribaawo nga balabira
ku kuboneka kw'omwezi,
kale beesimbewo bakuyambe,
bakubuulire ebirikutuukako.
14“Abo nno, baliba ng'ebisusunku,
era omuliro gulibookya.
Tebaliwona kibabu kya nnimi zaagwo.
Teguliba nga gwa manda,
gwe batuula awo ne boota.
15Bwe batyo bwe baliba abo
be watawaananga nabo,
be wasuubulagananga nabo
okuva mu buto bwo.
Bonna balyekwatira gaabwe,
ne wabulawo akuyamba.”